رفتن به محتوا

SIRAKI 2

2
Okwesiga Mukama
1Mwana wange, oba nga weewaddeyo okuweereza Mukama, weeteekereteekere okugezebwa. 2Beera n'omutima omwesimbu era guma. Beera mukkakkamu mu biseera eby'akabi. 3Nywerera ku Mukama obutamuviirako ddala, lw'oliweebwa ekitiibwa ku nkomerero y'obulamu bwo. 4Kkiriza byonna ebikutuukako, ne bw'otoowazibwa, beera mugumiikiriza. 5Kubanga zaabu agerezebwa mu muliro, abantu abasiimibwa bagerezebwa mu kabiga ka kutoowazibwa.#Laba ne Mag 3:5-6; 1 Peet 1:7#Laba ne Mag 6:18; Yow 14:15,21,23 6Weesige Mukama, anaakuyambanga. Beera mwesimbu mu mpisa zo, era suubiranga mu ye.
7Mmwe abatya Mukama mumulinde abakwatirwe ekisa. Temumuvaako sikulwa nga mugwa. 8Mmwe abatya Mukama mumwesige, temulirema kufuna mpeera. 9Mmwe abatya Mukama musuubire okufuna ebirungi, okukwatirwa ekisa, n'okufuna essanyu eritaggwaawo.
10Mulowooze ku bantu ab'emirembe egy'edda. Ani yali yeesize Mukama n'aswazibwa? Mukama yali ayabulidde ani amwesiga? Wadde ani yali asabye Mukama n'atafiibwako? 11Mukama wa kisa era atukuuma mu biseera ebizibu.
12Zaakulaba ab'emitima emikuusa, n'abakola ebibi n'aboonoonyi ab'enkulubbirye. 13Zibasanze abaterebuka, abateesiga Katonda, kubanga talibakuuma. 14Zibasanze abatanywera, Mukama bw'alijja okubalamula, balikola batya?
15Abatya Mukama tebajeemera biragiro bye, era abamwagala empisa zaabwe ziba nga bw'ayagala zibeere. 16Abatya Mukama beewaayo okukola by'asiima, era abamwagala bakuuma amateeka ge. 17Abatya Mukama balongoosa emitima gyabwe, era beetoowaza mu maaso ge, ne bagamba nti: 18“Tweteeke mu mikono gya Mukama, naye si mu mikono gya boonoonyi, kubanga gy'akoma okuba omukulu, gy'akoma n'okuba omusaasizi.”