رفتن به محتوا

ZABBULI 3

3
Okwesiga Mukama mu buzibu
1Ayi Mukama, abalabe bange
nga beeyongedde obungi!
Bangi abasituka okunnumba.#Laba ne 2 Sam 15:13–17:22
2Bangi abanjogerako nti:
“Katonda taamuyambe.”
3Naye ayi Mukama,
ggwe ngabo enkuuma.
Ggwe nneenyumiririzaamu,
ggwe ompanirira.
4Nkoowoola Mukama, n'anziramu
ng'asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
5Ngalamira ne neebaka, ne nzuukuka,
kubanga Mukama ankuuma.
6Sitya nkumi na nkumi z'abalabe
abanneetooloola okunnumba.
7Ayi Mukama, jjangu ondokole,
ayi Katonda wange!
Ggwe okuba abalabe bange
empi ku ttama,
n'omenya amannyo g'aboonoonyi.
8Mukama, era ggwe olokola,
n'owa abantu bo omukisa.