رفتن به محتوا

ZABBULI 2

2
Omusiige wa Mukama
1Lwaki amawanga geegugunga,
n'abantu ne balowooza ebitaliimu?#Laba ne Bik 4:25-26
2Bakabaka b'ensi baateekateeka,
n'abafuzi bateeseza wamu
okulwanyisa Mukama n'omusiige we#Laba ne Bik 4:25-26
3nga bagamba nti:
“Ka tukutule enjegere zaabwe,
tweggyeko ekikoligo kyabwe.”
4Mukama ng'ali waggulu abasunga
era abasekerera.
5Olwo n'abagamba ng'asunguwadde,
n'abatiisa ng'aswakidde nti:
6“Ku lusozi lwange olutukuvu Siyooni,
nateekako kabaka.”
7“Nja kulangirira ekiragiro kya Mukama.
Mukama yagamba nti:
‘Oli mwana wange,
olwaleero nkuzadde.#Laba ne Bik 13:33; Beb 1:5; 5:5
8Nsaba, nze ndikuwa amawanga gonna
n'ensi yonna, bibe bibyo.
9Olibimenya n'omuggo ogw'ekikomo,
olibyasaayasa ng'entamu y'omubumbi.’ ”#Laba ne Kub 2:26-27; 12:5; 19:15
10Kale kaakano bakabaka mugeziwale,
abafuzi b'ensi muyige.
11Muweereze Mukama nga mutya.
Mumusseemu ekitiibwa nga mukankana,
12sikulwa ng'asunguwala ne muzikirira.
Obusungu bwe tebulwa kusituka.
Ba mukisa abo bonna abamweyuna.