ENGERO 6
6
Akabi mu kweyimirira abalala
1Mwana wange, bwe weeyimirira munno,
n'omuteerawo akabega,
2weesiba mu by'oyogera,
ng'akamwa ko lye kkomera.
3Kale nno mwana wange,
kola kino weewonye,
kubanga oli mu buyinza bwa mulala:
genda gy'ali weetoowaze,
omwegayirire akuddiremu.
4Tomalanga kwebaka ku tulo,
na kudda ku bbali owummuleko.
5Weewonye ng'empeewo
edduka omuyizzi,
era ng'ekinyonyi ekyetakkuluza
mu mikono gy'omutezi.
Okwewala obugayaavu
6Kale ggwe omugayaavu,
genda olabe enkuyege,
weetegereze enkola yaazo,
oziyigireko amagezi.
7Tezirina mukulembeze,
newaakubadde omulabirizi,
wadde omufuzi,
8naye zeeterekera akamere
nga bakungula ebirimwa.
9Kale ggwe omugayaavu,
olyebakanga kutuusa ddi?
Olizuukuka ddi mu tulo two?
10Owoza: “Ka ngira neebakamu,
nfunye ku mikono,
ngalamiremu katono!”#Laba ne Nge 24:33-34
11Naye ng'oli mu kubongoota,
obwavu bulikwesibako,
n'ebyetaago bikuzinde ggwe,
ng'omutemu azze n'ebissi.
12Omuntu omubi entagasa,
agenda abungeesa obulimba.
13Atemya ku maaso,
aseesa ebigere,
n'awenya n'emikono gye.
14Mu ndowooza ye enkyamu,
ateesa kukola bya ffujjo!
Asiga bya bukyayi mu balala.
15Kyaliva agwa ku kibabu
ky'aliba talindiridde.
Alimenyekawo mangu,
nga tewali w'awonera.
16Waliwo ebintu mukaaga,
oba nga musanvu
Mukama by'akyawa,
mazima bye yeenyinyala:
17entunula ey'amalala,
olulimi olulimba,
emikono egitta
abatalina musango;
18omutima oguteesa eby'enkwe,
ebigere ebiwenyuka
okukola ebitajja nsa;
19omujulizi awa
obujulizi obw'obulimba,
n'omuntu asiga mu banne
ebireeta okuyombagana.
Okwewala omukazi malaaya
20Mwana wange, kwatanga ebyo
kitaawo by'akulagira,
era okolenga ebyo
nnyoko by'akuyigiriza.
21Bikuumenga bulijjo
mu mutima gwo,
era obyesibenga mu bulago.
22Binaakuluŋŋamyanga ng'otambula.
Binaakukuumanga nga weebase,
byogerenga naawe ng'ozuukuse,
23kubanga ekiragiro, ttaala,
okuyigiriza, kitangaala,
n'amateeka agakangavvula,
lye kkubo erituusa mu bulamu.
24Obikuumanga, olyoke owonenga
omukazi ow'empisa embi,
n'akalimi ka muk'omusajja
akasikiriza.
25Teweegombanga
bulungi bwe mu mutima gwo,
n'ebisige by'amaaso ge
biremenga kukusikiriza.
26Omukazi malaaya
akunoonyaako nsimbi
egula kaakulya;
naye omukazi muk'omusajja,
aleetera bulamu bwo
bwennyini okuzikirira.
27Omuntu ayinza okuwambaatira
omuliro mu kifuba kye,
ebyambalo bye ne bitaggya?
28Oba omuntu ayinza okulinnya
ku manda agookya,
ebigere bye ne bitababuka?
29Bwe kityo bwe kiri ne ku muntu
eyeebaka ne muka munne:
mazima buli akikola,
talirema kubonerezebwa.
30Abantu tebanyooma omubbi
abbye emmere ng'alumwa enjala?
31Era bwe baba bamukutte,
aliwa emirundi musanvu,
awaayo buli ky'alina mu maka ge.
32Kyokka ayenda ku muka bandi,
aba talina magezi.
Oyo akikola, azikiriza
bulamu bwe bwennyini.
33Alinyoomebwa n'akubibwa,
n'okuswala kwe tekulikoma,
34kubanga obuggya butaamuusa
omusajja nnyini mukazi,
n'atabaako gw'addiramu
mu kuwoolera eggwanga.
35Talibaako ky'akkiriza
nti okiwaayo weenunule.
N'ebirabo byo ebingi,
tebirimunyiigulula.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.