ENGERO 5
5
Okulabula ku bwenzi
1Mwana wange,
ssaayo omwoyo,
owulirize amagezi gange
n'okwetegereza kwange,
2olyoke omanyenga
engeri y'okuyisaamu,
era ebigambo byo
biryoke biragenga
ng'oliko ky'omanyi.
3Emimwa gya muka bandi,
gyandikuwoomera
ng'omubisi gw'enjuki,
n'ebigambo by'ayogera
ne bisinga omuzigo gw'emizayiti
okuweweera,
4naye mu nkomerero,
akuleka ng'okaayirirwa
ng'oli ng'alidde omususa,
era ng'obalagalwa obulumi.
5Akuserengesa mu kufa,
n'ekkubo ly'akukwasa,
likkirira magombe.
6Tali mu kkubo lya bulamu,
alivuddemu nga ye takimanyi!
7Kale baana bange, mumpulirenga,
era temuvanga ku bye ŋŋamba.
8Omukazi ng'oyo, omwewalanga,
n'oluggi lw'ennyumba ye
tolusembereranga.
9Bw'otomwewala, abalala
balitwala ekitiibwa kyo,
n'ottibwa abakambwe
ng'okyali muvubuka.
10Abagwira balyefunira by'okoleredde,
bye wateganira bifuuke bya balala!
11Olifa ng'onakuwadde,
ng'owedde ku magumba, okenenye.
12Olyevuma ng'ogamba nti:
“Lwaki nakyawa okubuulirirwa,
ne nnyoomanga okunenyezebwa?
13Saawulirizanga bayigiriza bange,
sassangayo mwoyo ku bye baŋŋamba.
14Mbuzeeko katono nneesange
nga nswadde awali abakuŋŋaanye!”
15Mukazi wo ye ali ng'oluzzi
olw'amazzi amayonjo.
Nywanga amazzi ag'omu luzzi olulwo,
amazzi agakulukuta,
ag'omu luzzi olwo.
16Lwaki ensulo zo
okusaasaanyizibwa eno n'eri,
mukoka n'akulukutira mu nguudo?
17Amazzi ag'omu luzzi olwo
gabe gago wekka#5:17 gabe gago…wamu naawe: Oba “…ge gago, era totabagananga na bantu balala.”
sso si ga balala wamu naawe.
18Ensulo yo ebeerenga n'omukisa,
era osanyukenga n'omukazi
gwe wawasa mu buvubuka bwo,
19omulungi ng'ennangaazi,
omubalagavu ng'empeewo.
Akusanyusenga ennaku zonna,
bulijjo osanyusibwenga okwagala kwe.
20Kale lwaki ggwe mwana wange,
okusanyukiranga muk'omulala,
n'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
21Mukama by'okola abiraba,
era yeetegereza buli kkubo ly'okwata.
22Ebibi by'omuntu omubi miguwa,
egimusiba nga ye ye agyerangidde.
23Obutayiga bulimutta,
aliwaba agwe mu ntaana,
olw'obusiru bwe obungi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.