رفتن به محتوا

OKUKUNGUBAGA 3

3
Okubonerezebwa, okwenenya n'okusuubira
1Ndi muntu eyabonaabona
olw'okubonerezebwa Mukama.
2Yantambuliza mu kizikiza,
omutali katangaala.
3Tata kumbonereza
olunaku lwonna.
4Ankaddiyizza omubiri n'olususu,
ammenyeemenye amagumba.
5Ansibidde mu kkomera,
omuli obuyinike n'obulumi.
6Antadde mu kizikiza
ng'abo abaafa edda.
7Antaddeko olukomera
sirina bwe ntoloka.
Ansibye ku lujegere olunene.
8Ne bwe neekubira ku nduulu
okumusaba annyambe,
bye nsaba abiziimuula.
9Akomedde amakubo gange
ng'agazimbamu ebisenge
eby'amayinja amaase.
10Anfuukidde eddubu eteega,
anfubutukidde ng'empologoma.
11Angobye n'ankwatira
ku mabbali g'ekkubo.
Antaaguddetaagudde
n'andeka awo!
12Anaanudde omutego gwe
n'andeegamu akasaale ke.
13Afumise obusaale bwe
mu mubiri gwange.
14Abantu bonna bansekerera,
era bannyimba olunaku lwonna.
15Anzikusizza obubalagaze,
annyiyizza ebikaawa.
16Ammekesezza oluyinjayinja,
anjiye evvu mu maaso.
17Mbuliddwako emirembe,
neerabidde essanyu bwe lifaanana.
18Awo ne ŋŋamba nti:
“Nzigweddemu amaanyi,
n'essuubi mu Mukama libuze!
19“Okulowooza ku bulumi
ne ku kubungeeta,
binkaayirira ng'omususa.
20Era mbirowoozaako lunye
ne sirema kwennyamira.
21Naye ate nziramu essuubi,
bwe nzijukira kino nti
22olw'okusaasirwa Mukama
tetusaanyizibwawo,
kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23Kibeera kiggya buli nkya.
Kigumu nnyo kyesigika.
24Mukama bwe bugagga bwange
Kyenva nsuubira mu ye.
25“Mukama mulungi
eri buli amwesiga.
26Kirungi omuntu agumiikirizenga
asuubire era alindirire
Mukama okumulokola.
27Era kirungi omuntu okuva obuto
ng'ayize obugumiikiriza.
28“Omuntu ng'abonaabona
kirungi atuuleko yekka asirike,
29agonde yeetoowaze,
wandiba nga wakyaliwo essuubi.
30Ne bw'avumwa n'akubibwa,
abigumira byonna.
31“Mukama ajjudde ekisa
tatusuulirira lubeerera.
32Newaakubadde atuleetera okunakuwala
naye atukwatirwa ekisa,
kubanga okwagala kwe kungi.
33Ky'agenderera si kulumya
na kubonyaabonya bantu.
34“Okulinnyirira abasibe
mu makomera gonna,
35abantu okummibwa ebyabwe
ebyabaweebwa Omutonzi,
36n'okusaliriza mu misango,
ebyo Mukama tabisiima.
37“Ani aliko ky'atuukiriza
Mukama nga takkirizza?
38Ka kibe kirungi oba kibi,
Lugaba amala kukkiriza.
39Omuntu akyali omulamu, yeemulugunyiza
ki bw'abonerezebwa olw'ebibi bye?
40“Twekebere tulabe empisa zaffe,
tukyuke tudde eri Mukama.
41Tuyimuse emitima n'emikono gyaffe
eri Katonda mu ggulu
tugambe nti:
42‘Tukoze ebibi era tujeemye,
era ggwe totusonyiye.’
43“Otusibidde obusungu n'otuyigganya,
n'otutta nga tosaasira.
44Weebisseeko ekire,
okusaba kwaffe
kuleme kukutuukako.
45Otufudde ntuumu ya busa
na bisasiro
mu bantu bonna ku nsi.
46“Tunyoomebwa ne tuvumibwa
abalabe baffe bonna.
47Entiisa n'okunyagibwa bitutuuseeko
tuli mu kabi ka kuzikirira.
48Amaaso gange gakulukusa
emigga gy'amaziga
olw'okuzikirizibwa kw'abantu bange.
49“Amaziga gange ganaakulukuta
mu ngezi etakalira,
50okutuusa Mukama mu ggulu
lw'anaatunulako wansi n'atulaba.
51Omutima gwange gwennyamira
olw'ebyo ebituuse ku bantu
ab'omu kibuga kyaffe.
52“Abalabe bange banjizze
ng'abayigga ekinyonyi,
awatali kye bannanga.
53Bankutte ndi mulamu,
ne bansuula mu bunnya,
ne basaanikirako ejjinja.
54Amazzi gaakulukuta,
nga gayita ku mutwe gwange
ne ŋŋamba nti: ‘Nfudde biwedde!’
55“Nakukoowoola, ayi Mukama,
nga nsinziira ku ntobo y'obunnya.
56Nasaba owulire bwe nkaaba,
era n'owulira.
57Wanziramu n'oŋŋamba nti:
‘Totya!’
58“Wanziruukirira, ayi Mukama,
n'owonya obulamu bwange.
59Nsalira omusango nsinge,
olabye okujoogebwa kwange.
60Olabye bwe bampalana,
n'enkwe zonna ze bansalira.
61“Owulidde bwe banvuma, ayi Mukama,
n'enkwe zonna ze bansalira.
62Banjogerako olunaku lwonna,
ne banteesaako.
63Laba, bannyimba
nga banjeeyereza
buli we babeera.
64“Ayi Mukama, babonereze,
olw'ebyo bye bakoze.
65Bakolimire,
obakakanyaze emitima.
66Bayigganye, ayi Mukama,
obasaanyeewo wansi w'eggulu lyo.”