رفتن به محتوا

OKUKUNGUBAGA 2

2
Mukama abonereza Yerusaalemu
1Mukama mu busungu bwe
abisse ekire ku Siyooni.
Obulungi bwa Yisirayeli obwawaggulu
Mukama abusudde wansi.
Ku lunaku olw'obusungu bwe,
tafudde wadde ku Ssinzizo lye.
2Mukama azikirizza awatali kisa
ebyalo by'omu Buyudaaya byonna.
Mu busungu bwe obungi,
amenyeewo ebigo ebigumu
ebikuuma ab'omu Buyudaaya.
Aswazizza obwakabaka obwo
n'abakungu baamu.
3Amazeewo amaanyi ga Yisirayeli,
ng'aliko ekiruyi.
Yagaana okutukwatirako
nga tuzindiddwa abalabe.
Yatusunguwalira ng'omuliro
ogwaka ennyo ne gwokya buli kimu.
4Yatuleegamu obusaale bwe ng'omulabe.
Bonna abaatusanyusanga yabatta.
Wano mu Yerusaalemu tuwulidde
obukambwe bw'obusungu bwe!
5Mukama yeefudde ng'omulabe
n'azikiriza Yisirayeli.
Embiri n'ebigo ebigumu
ebyo alese nga matongo.
Atuusizza ku b'omu Buyudaaya
obulumi obutalojjeka!
6Amenyeewo Essinzizo
mwe twamusinzizanga.
Akomezza ennaku enkulu ne Sabbaato,
asunguwalidde kabaka ne bakabona.
7Mukama yesammudde alutaari ye
era atamiddwa ekifo kye ekitukuvu.
Abalabe abakkirizza okumenya
ebisenge by'ennyumba zaamu.
Bawangudde ne baleekaanira
mwe twasinzizanga nga tusanyuka.
8Mukama yamalirira okuzikiriza
ebisenge bya Siyooni.
Yapima nga bwe binaamenyebwa,
n'atayimiriza ba kubizikiriza.
Eminaala n'ebisenge
bigudde wamu mu matongo.
9Emiryango gyakyo
gibulidde mu ttaka.
Ebisiba byagyo bimenyeddwa.
Kabaka waakyo n'abakungu be
bali mu busibe.
Amateeka tegakyayigirizibwa.
Abalanzi baakyo
Mukama takyaliko ky'abalaga.
10Abantu abakulu mu Yerusaalemu
batuula ku ttaka nga basirise,
nga beesiize enfuufu ku mitwe
era nga beesibye ebikutiya.
Abawala abato bakoteka mitwe.
11Amaaso gange galiko ekifu
olw'okukaaba amaziga.
Omutima gwange munakuwavu,
olw'okuzikirira kw'abantu bange.
Abaana abato n'abayonka
bazirikira mu nguudo z'ekibuga.
12Bakaabirira bannyaabwe
nga balumwa enjala n'ennyonta.
Bazirikira mu nguudo z'ekibuga
ng'abafumitiddwa ebiwundu,
olwo ne batondokera mu
mikono gya bannyaabwe.
13Leero ŋŋambe ntya, ggwe Yerusaalemu!
Nnaakukubagiza ntya?
Nkugeraageranye ku ani?
Ani yali abonyeebonye nga ggwe?
Obuyinike bwo tebukoma,
buli nga nnyanja!
Essuubi lyo linaava wa?
14Abalanzi bo baakulimbalimbanga
ne batakulaganga bibi byo.
Ne bakulowoozesanga nti
teweetaaga kwenenya.
15Bonna abayitawo bakusunga.
Banyeenya emitwe gyabwe
ne basekerera Yerusaalemu nti:
“Kino kye kibuga nno
kye baayitanga ekirungi ennyo,
ekitenderezebwa ensi yonna?”
16Abalabe bo bonna
bakwogezaako bukyayi.
Beesooza ne baluma obujiji,
ne bagamba nti: “Tukizikirizza!
Luno lwe lunaku
lwe twalindiriranga!”
17Mukama akoze kye yateesa,
atuzikirizza awatali kisa
nga bwe yatulabula edda.
Awadde abalabe baffe
okutweyagalirako,
ng'abatuusa ku buwanguzi.
18Ayi Yerusaalemu
ebisenge byo byennyini
bikaabirire Mukama!
Amaziga go gakulukute ng'emigga
ekiro n'emisana!
Towummula n'akatono,
wadde okusumagirako.
19Zuukuka emirundi mingi
mu kiro kyonna,
weegayirire Mukama.
Fukumula ebikuli ku mutima,
osabire abaana bo abato obulamu
abakufiirako enjala
buli w'oyita mu nguudo.
20Tunula olabe ayi Mukama,
abo b'obonereza bw'otyo.
Ddala abakazi abazadde balye
abaana baabwe be balera?
Era bakabona n'abalanzi
battirwe mu Ssinzizo mwennyini?
21Abavubuka n'abakadde
balambaalidde mu nguudo.
Abalenzi era n'abawala
battiddwa mu lutalo.
Obasse n'otosaasirako
ku lunaku lw'obusungu bwo.
22Oyise abalabe bange
okuva ku njuyi zonna
bajje beekole ekigenyi!
Tewali yawonawo
wadde eyasigalawo
ku lunaku lw'obusungu bwo.
Batta abaana bange
be nalera nga mbaagala nnyo!