YOSWA 9
9
Abagibiyoni balimba Yoswa
1Awo obuwanguzi bwa Yoswa ne buwulirwa mu bakabaka bonna ab'omu bugwanjuba bwa Yorudaani, mu nsozi ne mu nsenyi, ne ku lubalama lwonna olw'Ennyanja Eyaawakati, okutuukira ddala ku Lusozi Lebanooni. Abo be bakabaka b'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abakanaani, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi. 2Bonna ne bakuŋŋaanira wamu okulwanyisa Yoswa n'Abayisirayeli.
3Naye abatuuze b'e Gibiyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku Yeriko ne ku Ayi, 4ne basala amagezi. Ne bagenda ne basiba ebyokulya. Ne bateeka ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'ensawo z'omwenge ez'amaliba enkadde ezikubiddwamu ebiraka. 5Ne bambala engoye ezikaddiye, n'engatto ezikaddiye era ezikubiddwamu ebiraka. N'emmere yaabwe yonna ey'entanda yali ekaliridde, ng'ekutte n'obukuku. 6Ne bajja mu lusiisira e Gilugaali, ne bagamba Yoswa n'Abayisirayeli nti: “Tuvudde mu nsi ya wala. Twagala mukole naffe endagaano ey'okutabagana.”
7Abayisirayeli ne bagamba Abahiivi abo nti: “Bwe muba nga muli ba kumpi naffe, kale tunaakola tutya nammwe endagaano ey'okutabagana?”#Laba ne Kuv 23:32; 34:12; Ma 7:2
8Ne bagamba Yoswa nti: “Tuli baddu bo.” Yoswa n'ababuuza nti: “Mmwe baani? Era muva wa?” 9Ne bamuddamu nti: “Ffe abaddu bo tuvudde mu nsi ya wala nnyo okujja wano, kubanga twawulira ku Mukama, Katonda wo. Twawulira ettutumu lye ne byonna bye yakola mu Misiri, 10ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abaamori, abaali mu buvanjuba bwa Yorudaani: Sihoni, kabaka w'e Hesubooni, ne Ogi, kabaka w'e Basani, eyali mu Asitarooti.#Laba ne Kubal 21:21-35 11Abakulembeze baffe n'abantu bonna abali mu nsi yaffe, baatugamba okusibira olugendo luno entanda n'okujja okubasisinkana mmwe, tubategeeze nga tuli baddu bammwe, n'okubasaba mukole naffe endagaano ey'okutabagana. 12Emmere yaffe yiino. Twagisiba entanda nga tukyali ka, ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli. Naye kaakano, yiino ekaliridde, era ekutte obukuku. 13N'ensawo ez'omwenge zino ez'amaliba, twazijjuza nga mpya. Naye mulabe! Ziizino ziyuliseyulise! N'ebyambalo byaffe bino n'engatto zaffe, bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo.”
14Abayisirayeli ne balya ku ntanda yaabwe, naye ne bateebuuza ku Mukama. 15Yoswa n'akola n'abantu b'e Gibiyoni endagaano ey'okutabagana, n'abalagaanya obutabatta. Abakulembeze b'ekibiina ky'Abayisirayeli ne babalayirira okukuuma endagaano eyo.
16Bwe waayitawo ennaku ssatu nga bamaze okukola endagaano eyo, Abayisirayeli ne bawulira ng'abantu abo baliraanwa baabwe ab'okumpi ddala. 17Abayisirayeli ne batambula, era mu nnaku ssatu ne batuuka mu bibuga byabwe Gibiyoni ne Kefira, ne Beetoti ne Kiriyati Yeyariimu. 18Naye Abayisirayeli ne batabatta, kubanga abakulembeze baabwe baali babalayiridde Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulembeze.
19Naye abakulembeze bonna ne babaddamu nti: “Abantu bano twabalayirira Mukama Katonda wa Yisirayeli. Kale kaakano tetuyinza kubakolako kabi. 20Kye tunaabakolera kwe kubaleka nga balamu, Mukama aleme kutusunguwalira olw'ekirayiro kye twabalayirira.” 21Abakulembeze era ne bagamba nti: “Mubaleke nga balamu, basennyerenga enku era basenerenga amazzi ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.”
22Yoswa n'atumya abantu b'e Gibiyoni, n'ababuuza nti: “Lwaki mwatulimba nga mugamba nti muli ba wala nnyo, sso ate nga muli ba wano kumpi? 23Kale kaakano mukolimiddwa. Abantu bammwe banaabanga baddu bulijjo, abanaasennyeranga enku era abanaaseneranga amazzi Ennyumba ya Katonda wange.”
24Ne bamuddamu nti: “Ssebo, ekyo twakikola, kubanga ffe abaddu bo, twawulira nti ddala kituufu nga Mukama, Katonda yalagira omuweereza we Musa okubawa mmwe ensi eno yonna, n'okutta abantu bonna abagirimu nga mujja. Bwe mwajja, ne tutya nnyo nti mujja kututta, kyetwava tukola ekyo. 25Kaakano tuli mu mikono gyo. Tukole kyonna ky'olaba nga kirungi era nga kye kituufu.” 26Era Yoswa kye yakola kwe kubakuuma, n'ataganya Bayisirayeli kubatta. 27Wabula okuva olwo n'abalagira okusennyeranga enku n'okukimiranga amazzi Abayisirayeli ne alutaari ya Mukama, mu kifo Mukama ky'anaasiimanga. Ogwo gwe mulimu gwe bakyakola ne kaakano.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.