رفتن به محتوا

YOSWA 10

10
Abaamori bawangulwa
1Awo Adonizedeki kabaka w'e Yerusaalemu#10:1 Yerusaalemu: Mu kiseera ekyo Yerusaalemu kyali kibuga kya Bayebusi., n'awulira nga Yoswa awambye era ng'asaanyirizzaawo ddala Ayi, n'atta ne kabaka waakyo, nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waakyo. Era n'awulira ng'ab'e Gibiyoni bakoze endagaano ey'okutabagana n'Abayisirayeli, era nga babeera mu bo. 2Abantu b'e Yerusaalemu ne batya nnyo, kubanga Gibiyoni kyali kibuga kinene, ng'ekibuga ekirala kyonna ekyalimu kabaka. Kyali kinene okusinga Ayi, n'abantu baayo nga balwanyi ba maanyi. 3Awo Adonizedeki n'atumira Kabaka Hohamu ow'e Heburooni ne Kabaka Piramu ow'e Yarumuti, ne Kabaka Yafiya ow'e Lakisi, ne Kabaka Debiri ow'e Egulooni nti: 4“Mujje munnyambe okulumba Gibiyoni, kubanga abantu baakyo bakoze endagaano ey'okutabagana ne Yoswa n'Abayisirayeli.”
5Bakabaka bano abataano ab'Abaamori: ow'e Yerusaalemu n'ow'e Heburooni, n'ow'e Yerumuti, n'ow'e Lakisi, n'ow'e Egulooni, ne beegatta wamu ne batwala amagye gaabwe gonna, ne basiisira okwebungulula Gibiyoni, ne bakirwanyisa.
6Awo ab'e Gibiyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Gilugaali nti: “Toyabulira baddu bo. Jjangu mangu gye tuli, otudduukirire, otuwonye! Bakabaka bonna ab'Abaamori ababeera mu nsi ey'ensozi beetabye wamu ne batulumba.”
7Awo Yoswa n'ava e Gilugaali n'eggye lye lyonna, omuli n'abalwanyi bonna ab'amaanyi. 8Mukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya, kubanga mmaze okubateeka mu mikono gyo. Tewaabe n'omu mu bo anaasobola kukwesimbako.” 9Ekiro kyonna Yoswa n'atambula n'eggye lye, okuva e Gilugaali, n'azinduukiriza Abaamori nga tebamanyi. 10Mukama n'akuba Abaamori entiisa, nga balabye Abayisirayeli. Abayisirayeli ne babattamu bangi nnyo e Gibiyoni, ne babawondera mu kkubo eryambuka e Betooroni, ne babakuba okutuusiza ddala e Azeka ne Makkeda. 11Awo Abaamori bwe baali nga badduka Abayisirayeli, Mukama n'atonnyesa amayinja amanene ag'omuzira, ne gabakuba. Abattibwa amayinja ago ag'omuzira, ne basinga obungi abo abattibwa Abayisirayeli.
12Ku lunaku Mukama lwe yaweerako Abayisirayeli okuwangula Abaamori, Yoswa n'ayogera ne Mukama mu maaso g'Abayisirayeli, n'agamba nti:
“Ggwe enjuba,
yimirira waggulu wa Gibiyoni.
Naawe omwezi,
yimirira waggulu w'Ekiwonvu Ayalooni.”
13Enjuba n'eyimirira,
omwezi ne gulinda,
okutuusa eggwanga lwe lyamala
okuwangula abalabe baalyo.#Laba ne 2 Sam 1:18
Kino kyawandiikibwa
mu Kitabo kya Yasari.
Enjuba yalindira ku ggulu wakati,
n'etayanguyiriza kugwa,
okumala ng'olunaku lulamba.
14Tebangawo lunaku,
era tewaliba lulala
olwenkana ng'olwo,
Mukama okuwulira omuntu:
kubanga Mukama
yalwanirira Yisirayeli!
15Ebyo bwe byaggwa, Yoswa n'akomawo n'Abayisirayeli bonna mu lusiisira e Gilugaali.
Yoswa awamba bakabaka abataano ab'Abaamori
16Awo bakabaka abo abataano ab'Abaamori ne badduka, ne beekweka mu mpuku e Makkeda. 17Ne wabaawo abaabuulira Yoswa nti: “Bakabaka tubalabye nga beekwese mu mpuku e Makkeda.” 18Yoswa n'agamba nti: “Muyiringise amayinja amanene mugateeke mu mulyango gw'empuku, muteekewo n'abakuumi. 19Naye mmwe temusigala awo. Muwondere abalabe bammwe, mubakube nga mubava emabega. Temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe. Mukama abawadde mmwe okubawangula.”
20Awo Yoswa n'Abayisirayeli ne bamaliriza okutta abantu abangi ennyo kumpi okubamalirawo ddala, mu bibuga ebiriko ebigo. 21Olwo Abayisirayeli bonna ne bakomawo mirembe mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda. Tewali muntu n'omu mu nsi eyo eyaguma wadde okwogera obubi ku Bayisirayeli.
22Awo Yoswa n'agamba nti: “Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano, mubandeetere.” 23Ne baggulawo empuku, ne baggyamu bakabaka abataano: ow'e Yerusaalemu, n'ow'e Heburooni, n'ow'e Yarumuti, n'ow'e Lakisi, n'ow'e Egulooni. 24Ne babaleeta eri Yoswa. Yoswa n'ayita abasajja Abayisirayeli bonna, n'agamba abakulembeze b'abalwanyi abaagenda naye nti: “Mujje mulinnye ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano.” Ne bajja, ne balinnya ebigere byabwe mu bulago bwa bakabaka abo. 25Awo Yoswa n'agamba abakulembeze nti: “Temutya, era temuggwaamu maanyi, era mugume omwoyo, kubanga kino Mukama ky'agenda okukola ku balabe bammwe bonna be munaalwanyisa.” 26Awo Yoswa n'atta bakabaka abo, emirambo gyabwe n'agiwanika ku miti etaano, ne gibeerayo okutuusa olweggulo. 27Enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne baggyayo emirambo gyabwe, ne gisuulibwa mu mpuku mwe baali beekwese okusooka, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, agakyaliwo n'okutuusa kati.
Yoswa awamba ebitundu ebirala eby'Abaamori
28Ku lunaku olwo, Yoswa n'alumba era n'awamba Makkeda ne kabaka waamu. N'atta buli muntu eyakirimu, obutalekaawo n'omu. N'akola ku kabaka w'e Makkeda nga bwe yakola ku kabaka w'e Yeriko.
29Awo Yoswa n'ava mu Makkeda ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Labuna n'akirumba. 30Mukama n'awa Abayisirayeli nakyo okukiwangula ne kabaka waamu. Ne batta abaakirimu bonna, obutataliza n'omu. Ne bakola ku kabaka waamu nga bwe baakola ku kabaka w'e Yeriko.
31Yoswa n'ava mu Libuna ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Lakisi, n'akyebungulula. 32Mukama n'awa Abayisirayeli okuwangula Lakisi ku lunaku olwokubiri. Nga bwe baakola e Libuna, ne batta abantu bonna abaakirimu, nga tebataliza n'omu. 33Kabaka Horamu ow'e Gezeri n'ajja okuyamba Lakisi. Kyokka Yoswa n'amuwangula ye n'abantu be, n'atalekaawo n'omu nga mulamu.
34Awo Yoswa n'ava mu Lakisi ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Egulooni, n'asiisira okukyebungulula, n'akirwanyisa. 35Ne bakiwamba ku lunaku olwo lwe lumu, ne batta abantu bonna abaakirimu, nga tebataliza n'omu, mu ngeri ye emu nga bwe baakola e Lakisi.
36Awo Yoswa n'ava mu Egulooni ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Heburooni, n'akirwanyisa. 37Ne bakiwamba, ne batta kabaka waamu n'abantu bonna abaakirimu, n'abaali mu bubuga bwakyo bwonna, nga tebataliza muntu n'omu, mu ngeri ye emu nga bwe baakola mu Egulooni. Yoswa n'akizikiririza ddala, n'atalekaamu muntu n'omu nga mulamu.
38Yoswa n'akomawo n'eggye lye lyonna e Debiri, n'akirwanyisa. 39N'akiwamba ne kabaka waamu, n'obubuga bwakyo bwonna. Ne batta abaayo bonna, obutalekaawo n'omu. Yoswa n'akola ku Debiri ne kabaka wamu nga bwe yakola ku Heburooni ne Libuna ne bakabaka baamu.
40Yoswa n'awangula ensi eyo yonna, ekitundu eky'ensozi, n'ekitundu eky'omu bukiikaddyo, n'eky'ensenyi, n'eky'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna. N'atta abaayo bonna, nga Mukama, Katonda wa Yisirayeli bwe yalagira, n'atatalizaawo n'omu. 41Yoswa n'abawangula okuva e Kadesibaruneya, okutuuka e Gaaza, n'ensi yonna ey'e Goseni, okutuukira ddala e Gibiyoni. 42Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abawangula omulundi gumu, kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli yalwanirira Yisirayeli 43Awo Yoswa n'akomawo n'eggye lyonna mu lusiisira e Gilugaali.