YOWEELI 3
3
Mukama asalira amawanga omusango
1Mukama agamba nti: “Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo, ndizzaawo emikisa gya Buyudaaya ne Yerusaalemu. 2Ndikuŋŋaanya ab'amawanga gonna, ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yehosafaati, era nga bali eyo, ndibasalira omusango olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayeli, kubanga baabasaasaanya mu mawanga, ne bagabana Yisirayeli ensi yange. 3Baakubira abantu bange akalulu okubagabana. Baatunda abalenzi okusasulira abakazi bamalaaya, ne batunda abawala okugula omwenge, era ne bagunywa.
4“Mwagala kunkola ki mmwe Tiiro ne Sidoni, n'ebitundu byonna ebya Filistiya? Mulina kye mwagala okunneesasuza? Bwe muba mwagala okunneesasuza, nange ndyanguwa mangu okubeesasuza,#Laba ne Yis 14:29-31; 23:1-18; Yer 47:1-7; Ezek 25:15–28:26; Am 1:6-10; Zef 2:4-7; Zek 9:1-7; Mat 11:21-22; Luk 10:13-14 5kubanga mututte ffeeza wange ne zaabu wange, era mututte mu masabo gammwe ebintu byange ebirungi era eby'omuwendo. 6Abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu mwabaggya mu nsi yaabwe, ne mubatwala ewala, ne mubatunda mu Bayonaani. 7Naye kaakano nja kubakumamu omuliro, baveeyo gye mwabatunda, nammwe ndyoke mbakole ekyo kye mwabakola. 8Nja kuleka batabani bammwe ne bawala bammwe batundibwe mu bantu b'omu Buyudaaya, era nabo babatunde mu bantu b'e Seeba, eggwanga eriri ewala. Nze Mukama, Nze njogedde.
9“Mulangirire kino mu mawanga,
mutegeke olutalo.
Muyite abasajja ab'amaanyi,
abaserikale bonna
beesowoleyo bajje.
10Enkumbi zammwe
muziweeseemu ebitala,
n'ebiwabyo byammwe
mubiweeseemu amafumu.
N'omunafu agambe nti
‘Nja kulwana.’#Laba ne Yis 2:4; Mi 4:3
11Mwanguwe mujje mmwe,
ab'amawanga gonna ageetooloddewo,
mukuŋŋaanire eyo mu kiwonvu.”
Serengesa eyo, ayi Mukama,
abasajja bo ab'amaanyi.
12“Ab'amawanga gonna basituke
baserengete mu kiwonvu kya Yehosafaati,
kubanga eyo gye ndituula
okusala omusango
gw'amawanga gonna
ageetooloddewo.
13Boonoonye nnyo!
Mubasale n'ebiwabyo
ng'eŋŋaano etuuse okukungulwa,
mubasogole ng'emizabbibu
egijjudde mu ssogolero ne libooga.”#Laba ne Kub 14:14-16,19-20; 19:15
14Abantu enkumi n'enkumi
bali mu kiwonvu
eky'okusalirwamu omusango,
kubanga eyo olunaku lwa Mukama
lunaatera okutuuka.
15Enjuba n'omwezi
biriko ekizikiza,
n'emmunyeenye zireseeyo okwaka.
Katonda aliwa abantu be omukisa
16Mukama awulugumira mu Siyooni,
eddoboozi lye
libwatukira mu Yerusaalemu,
eggulu n'ensi ne bikankana.
Naye Mukama ye aliba
ekiddukiro ky'abantu be,
ekigo ekitaasa Abayisirayeli.#Laba ne Am 1:2
17“Kale olwo mulimanya
nga Nze Mukama, Katonda wammwe,
abeera mu Siyooni,
olusozi lwange olutukuvu.
Yerusaalemu kiriba kibuga kitukuvu,
tewaliba bagwira bakiwangula nate.
18“Mu nnaku ezo,
ennimiro z'emizabbibu
ziribikka ensozi,
n'ente ez'amata
ziriba ku buli kasozi.
Amazzi galijjula mu bugga bwonna
obw'omu Buyudaaya.
N'ensulo y'amazzi erikulukuta
okuva mu Ssinzizo lya Mukama,
n'efukirira ekiwonvu Sittimu.
19“Misiri erifuuka matongo,
ne Edomu erifuuka ddungu,
kubanga abantu b'omu nsi ezo
baalumba Buyudaaya,
ne batta abantu baamu
abatalina musango.
20Naye Buyudaaya ne Yerusaalemu
binaabeerangamu abantu ennaku zonna.
21Ndiwoolera eggwanga olw'abo abattibwa,
siritaliza bazzizza musango,
kubanga nze Mukama,
nja kubeeranga ku Siyooni.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.