YOWEELI 2
2
Enzige ziranga olunaku lwa Mukama
1Mufuuwe eŋŋombe mu Siyooni,
mukube enduulu
ku lusozi lwange olutukuvu.
Abatuuze b'omu Buyudaaya
bonna bakankane,
kubanga olunaku lwa Mukama lujja,
lunaatera okutuuka.
2Luliba lunaku lwa kifu n'ekikome,
era lwa bire n'ekizikiza ekikutte.
Eggye eddene ery'enzige lijja,
nga liri ng'ekizikiza
ekibikka ensozi.
Tewabangawo zizenkana bungi,
era teziribaawo nate emirembe gyonna.
3We zirya ebimera
waba ng'omuliro we gwokezza.
Mu maaso gye ziraga,
ensi eri ng'Ennimiro ya Edeni.
Naye emabega gye ziva,
lye ddungu ejjereere.
Tezirina kye zitaliza.
4Zifaanana ng'embalaasi,
zidduka ng'embalaasi ez'omu lutalo.#Laba ne Kub 9:7-9
5Zibuukira ku ntikko z'ensozi,
nga ziwuuma ng'amagaali.
Zitulika ng'ekisambu
ekyokebwa omuliro.
Zisimbye ennyiriri
ng'eggye ery'amaanyi
eryetegese okulwana.
6Abantu bakwatibwa entiisa
nga zisembera.
Amaaso ga buli omu gafuuka ebbala.
7Zirumba ng'abalwanyi,
zirinnya ebigo ng'abaserikale.
Zitambulira mu kkubo lyazo,
tewali n'emu eva ku mugendo.
8Tewali eziyiza ginnaayo kugenda,
buli emu etambulira mu kkubo lyayo.
Ziwaguza awali abakuumi
ne watabaawo aziziyiza.
9Zifubutuka ne zizinda ekibuga.
Ziwalampa ebibuga ne zirinnya,
ne zituuka ku nnyumba
ne ziyingirira mu madirisa ng'ababbi.
10Ensi ekankana nga zisembera,
eggulu lujugumira.
Enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza,
n'emmunyeenye zirekayo okwaka.#Laba ne Kub 8:12
11Mukama aduumira eggye lye.
Ebibinja ebimuwulira
bingi nnyo era bya maanyi.
Olunaku lwa Mukama lukulu,
era lwa ntiisa nnyo!
Ani ayinza okulugumira?#Laba ne Kub 6:17
Okuyita abantu okwenenya
12Mukama agamba nti:
“Naye ne kaakano,
mwenenyereze ddala,
mudde gye ndi nga musiiba,
nga mukaaba amaziga.
13Emitima gyammwe egimenyese
gye giba giraga bwe muboneredde.
Okuyuza ebyambalo byammwe tekumala.”
Mudde eri Mukama, Katonda wammwe,
kubanga wa kisa
era ajjudde okusaasira.
Alwawo okusunguwala,
akwatirwa nnyo ekisa,
era addiramu aboonoonyi.
14Oboolyawo Mukama, Katonda wammwe,
anaakyusa ekirowoozo kye
n'abaddiramu,
n'aleka ng'abawadde omukisa,
ne mubaza ebibala,
ne musobola okumutonera ebirabo
eby'emmere ey'empeke n'ebyokunywa.
15Mufuuyire eŋŋombe mu Siyooni,
mulangirire okusiiba,
era muyite olukuŋŋaana.
16Mukuŋŋaanye abantu
mulangirire olukuŋŋaana olutukuvu.
Mukuŋŋaanye abakadde,
muleete abaana abato,
n'abawere abayonka.
N'abagole abaakafumbiriganwa,
bave mu bisenge byabwe bajje.
17Bakabona abaweereza Mukama
bakaabe amaziga
nga bali wakati w'omulyango
gw'Essinzizo ne alutaari
bagambe nti:
“Saasira abantu bo, ayi Mukama!
Totuleka kunyoomebwa
na kusekererwa ba mawanga malala
nga bagamba nti:
‘Katonda wammwe ali ludda wa?’ ”
Katonda addiza ensi obugimu
18Awo Mukama n'alumirwa ensi ye,
era n'asaasira abantu be.
19N'addamu abantu be n'agamba nti:
“Kaakano nja kubawa eŋŋaano
n'omwenge ogw'emizabbibu,
n'omuzigo ogw'emizayiti,
ebijja okubakkusa.
Era sikyabaleka kunyoomebwa
ba mawanga abalala.
20Nja kubaggyako eggye ery'enzige
eryava mu bukiikakkono.
Ezimu nja kuzigobera mu ddungu:
ebibinja ebikulembeddemu
mbigobere mu Nnyanja Enfu.
N'ebibinja ebisembayo emabega
mbigobere mu Nnyanja Eyaawakati.
Emirambo gyazo
gijja kuwunya ekivundu.
Nja kuzisaanyaawo
olwa byonna bye zikoze.
21“Totya ggwe ensi,
sanyuka era ojaguze
olw'ebikulu Mukama by'akoze.
22“Temutya mmwe ensolo ez'omu ttale,
kubanga omuddo ogw'omu ttale gumeze,
emiti gibaze ebibala,
emitiini n'emizayiti
gibaze ebibala bingi.
23Musanyuke mmwe abantu ba Siyooni,
mujaguze olw'ebyo
Mukama, Katonda wammwe by'abakoledde,
kubanga abawa enkuba esooka
mu kipimo ekituufu.
Abatonnyeseza enkuba nnyingi:
esooka n'eyo ejja oluvannyuma,
nga bwe yagibatonnyesezanga edda.
24Amawuuliro galijjula eŋŋaano,
n'amasogolero galibooga
omwenge ogw'emizabbibu
n'omuzigo ogw'emizayiti.
25Ndibaddizaawo bye mwafiirwa
ebyaliibwa ebibinja by'enzige
ez'eggye eddene,
lye nasindika okubalumba.
26Kale munaafunanga ebyokulya bingi,
munaalyanga ne mukkuta,
ne mutendereza Mukama, Katonda wammwe,
abakoledde ebyewuunyisa.
Abantu bange tebaliddayo kunyoomebwa.
27Olwo mmwe Abayisirayeli lwe mulimanya
nga ndi wakati mu mmwe,
era nga nze Mukama, Katonda wammwe,
era tewali mulala.
Abantu bange tebaliddayo kunyoomebwa.
Olunaku lwa Mukama
28“Oluvannyuma,
ndigabira bonna mwoyo wange.
Batabani bammwe ne bawala bammwe
baliranga ebirijja.
N'abakadde mu mmwe
baliroota ebirooto.
Abavubuka bammwe balirabikirwa.#Laba ne Bik 2:17-21
29Era mu nnaku ezo,
abaddu n'abazaana
ndibagabira mwoyo wange.
30“Ndiraga ebyamagero
ku ggulu ne ku nsi.
Walibaawo omusaayi n'omuliro,
n'empagi ez'omukka.
31Enjuba erifuuka ekizikiza,
n'omwezi gulimyuka ng'omusaayi.
Ebyo bye birikulembera
olunaku lwa Mukama
olukulu era olw'entiisa.#Laba ne Mat 24:29; Mak 13:24-25; Luk 21:25; Kub 6:12-13
32Era buli alikoowoola Mukama
alirokolebwa,
kubanga ku Lusozi Siyooni
ne mu Yerusaalemu,
walibaawo abaliwona
nga Mukama bwe yagamba.
Era mu baliwonawo,
walibaawo Mukama b'ayita.”#Laba ne Bar 10:13
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.