رفتن به محتوا

YOBU 3

3
Yobu akolimira olunaku lwe yazaalirwako
1Ebyo bwe byaggwa, Yobu n'atandika okwogera, n'akolimira olunaku lwe yazaalirwako.#Laba ne Yer 20:14-18 2Yobu n'agamba nti:
3“Olunaku kwe nazaalirwako luzikirire,
n'ekiro ekyagamba nti omwana
ow'obulenzi ali mu lubuto.
4Lube lwa kizikiza olunaku olwo;
Katonda mu ggulu alwerabire,
n'enjuba ereme okwakirako.
5Ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte
biruyite olwabyo.
Ekire kirubikke.
Lutiisibwe ebyo byonna
ebiddugaza obudde.
6Ekiro ekyo kivumbagirwe
ekizikiza ekikutte.
Kiggyibwe mu nnaku z'omwaka;
kireme na kubalirwa mu mwezi.
7Ddala ekiro ekyo
kibe kya bugumba;
kireme kuwulirwamu basanyuka.
8Kikolimirwe abo,
abakolimira obudde;
era abasobola okusaggula goonya.#3:8 goonya: Abamu balowooza nti yali Lukwata oba ogusolo ogw'omu nnyanja ogwali gufaanana ng'ogusota, nga gunene nnyo. Laba ne 7:12; 41:2; ne Zab. 74:14; 104:26 ne Yis. 27:1.
9Emmunyeenye z'amakya gaakyo
zireme okulabikako.
Ekitangaala kye kisuubira, kibule,
kireme kulaba ku mmambya.
10Kubanga mmange
tekyamufuula mugumba,
ne kireka ndabe
ennaku eno endaaza!
11Lwaki saafiirawo nga nzaalwa,
olwava mu nda ya mmange
ne nzisa ogusembayo?
12Lwaki nalererwa ku maviivi?
N'amabeere lwaki gannyonsa?
13Kubanga bwe nandifudde
nandisirise;
nandyebase, nandiwummudde
14wamu ne bassekabaka
n'abafuzi b'ensi,
abeezimbira obuggya
embiri mu matongo.
15Nandyebase wamu n'abalangira
abajjuza ennyumba zaabwe
zaabu ne ffeeza.
16Singa naggyibwawo ng'omusowole,
oba okuziikibwa ng'omwana
azaalibwa ng'afudde,
atalaba ku kitangaala.
17Eyo mu ntaana ababi,
bakoma okuteganya abantu,
era eyo, abalungi gye bawummulira.
18Eyo n'abasibe bassa ku mukka;
ne batawulira abatulugunya.
19Omuto n'omukulu bali eyo;
n'omuddu tafugibwa mukama we.
20“Abantu abali mu nnaku
balabira ki ekitangaala?
N'abo ababonaabona
babeerera ki abalamu?
21Beegomba okufa, ne kubeesamba;
ne bakunoonya okukira abawuukuula
obugagga obukwekeddwa.#Laba ne Kub 9:6
22Basanyuka nnyo nnyini
ne bajaguza bwe bafa,
ne bateekebwa mu ntaana.
23Omuntu akwekeddwa ekkubo lye
Katonda gw'akolako olukomera?
24Kubanga okusinda ye mmere yange;
okusindogoma okwange tekukoma.
25Kye ntya kye kinzijira,
n'ekinkanga kye kingwira.
26Siweerako, sirina mirembe,
siwummula,
Mitawaana gye gijja!”