YOBU 2
2
Sitaani asaba Katonda okubonyaabonya Yobu
1Awo olunaku lwali lumu nate, bannaggulu ne bajja okweyanjula mu maaso ga Mukama. Ne Sitaani n'ajjira mu bo okweyanjula mu maaso ga Mukama. 2Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?”
Sitaani n'addamu Mukama nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n'okugitambulatambulamu.” 3Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali amwenkana ku nsi. Omusajja oyo ye muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, anzisaamu ekitiibwa, era nga yeewala okukola ebibi. Era akyanywezezza obwesigwa bwe, newaakubadde nga wanzikirizisa okumuzikiririza obwereere.”
4Sitaani n'addamu Mukama nti: “Ekikwata ku lususu kye kikosa omuntu. Byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe. 5Naye kaakano golola omukono gwo, okwate ku magumba ge ne ku mubiri gwe, ajja kukuvuma ng'olaba.”
6Mukama n'agamba Sitaani nti: “Kale, ali mu buyinza bwo. Kyokka mulekere obulamu.”
7Awo Sitaani n'ava awali Mukama n'agenda, n'alwaza Yobu amayute amabi ennyo omubiri gwonna, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere. 8Yobu n'akwatanga oluggyo okweyaguza. N'atuulanga mu vvu. 9Awo mukazi we n'amugamba nti: “Era okyakuuma obwesigwa bwo? Wegaane Katonda, ofe.” 10Kyokka Yobu n'amugamba nti: “Oyogera ng'abakazi abasirusiru bwe boogera. Katonda by'atuwa, tunaayanirizanga bisanyusa byokka, ne tutayaniriza binyiga?” Mu ebyo byonna ebyagwawo Yobu teyayogera bubi ku Katonda.
Mikwano gya Yobu bajja gy'ali okumukubagiza
11Awo mikwano gya Yobu basatu: Elifaazi Omutemani, Biludaadi Omusuuhi, ne Zafari Omunaamati, bwe baawulira emitawaana gyonna egimujjidde, bonsatule ne basalawo buli omu okuva ewuwe, ne bajja okumukaabirako n'okumukubagiza. 12Bwe baamulengera, ne balaba nga takyafaananika. Ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. Ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala. Ne beeyiira enfuufu mu mitwe, era nga bwe bagimansa waggulu. 13Ne batuula wamu naye ku ttaka emisana n'ekiro, okumala ennaku musanvu, nga tewali ayogera naye kigambo, kubanga baalaba okubonaabona okungi kwe yalimu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.