DANIYELI 7
7
DANIYELI ANYUMYA BYE YALABA MU KULABIKIRWA
(7:1–12:3)
Ebisolo ebina Daniyeli bye yalaba mu kulabikirwa
1Mu mwaka ogw'olubereberye nga Belusazzari ye kabaka w'e Babilooni, Daniyeli n'aloota ekirooto. Ng'ali mu kirooto ekyo, n'abaako kye yalabikirwa mu mutwe gwe, nga yeebase mu kitanda kye. N'awandiika ekirooto ekyo, ng'anyumya bye yalaba. 2Yanyumya nti: Mu kulabikirwa kwange ekiro, nalaba embuyaga eyali ekunta okuva ku njuyi zonna ennya, ng'esiikuula ennyanja ennene. 3Ebisolo bina ebinene ne bibbulukuka nga biva mu nnyanja eyo ennene, buli kimu nga tekifaanana kinnewaakyo.#Laba ne Kub 13:1; 17:8 4Ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, naye nga kirina ebiwaawaatiro ng'empungu. Bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byakyo ne bimaanyibwako.#Laba ne Kub 13:2
5Ne wavaayo ekisolo ekyokubiri ekyali kifaanana ng'eddubu, ng'oluuyi lwakyo olumu lusituseemu.#7:5 Ng'oluuyi lwakyo olumu lusituseemu: Oba “Nga kiyimiridde ku magulu gaakyo ag'emabega.” Kyali kikutte embiriizi ssatu mu kamwa kaakyo, nga kizirumizza mannyo. Ne bakigamba nti: “Situka olye ennyama nnyingi.”
6Bwe nali nga nkyatunula, ne wavaayo ekisolo ekirala. Kyali kifaanana ng'engo, naye nga ku mabega gaakyo, kyalina ebiwaawaatiro bina, ebyali bifaanana ng'ebiwaawaatiro by'ekinyonyi. Era kyalina emitwe ena. Ekisolo ekyo ne kiweebwa obuyinza okufuga.
7Ebyo bwe byaggwa, era mu kulabikirwa okw'ekiro, ne ndaba ekisolo ekyokuna eky'entiisa n'ekikangabwa, era eky'amaanyi amayitirivu. Kyalina amannyo manene ate nga ga kyuma, ge kyaliisanga ne kibwebwena bye kisangirizza. Ne kirinnyirira n'ebigere byakyo buli ekiba kifisseewo. Era obutafaanana bisolo birala byonna ebyakisooka, kyalina amayembe kkumi.#Laba ne Kub 12:3; 13:1 8Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ne ndaba ejjembe eddala ettono eryamera mu go, ne likuuliramu ddala amayembe amalala asatu, ku gali agaalisookawo. Ejjembe lino lyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwewaana.#Laba ne Kub 13:5-6
Daniyeli alabikirwa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda
9Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula. Ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ze nga njeru ng'ebyoya by'endiga. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga z'entebe eyo zaali muliro ogwaka.#Laba ne Kub 20:4; 1:14 10Omugga ogw'omuliro ne gukulukuta nga guva w'ali. Abantu enkumi n'enkumi baali awo okumuweereza, n'emitwalo n'emitwalo baayimirira mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.#Laba ne Kub 5:11; 20:12
11Bwe nali nga nkyatunula, ne mpulira era ebigambo eby'okwewaana, ejjembe ettono bye lyayogera. Bwe nali nkyatunula, ekisolo ekyokuna ne kittibwa, omulambo gwakyo ne gusuulibwa mu muliro, ne gwokebwa, ne guzikirizibwa. 12N'obuyinza bw'ebisolo ebirala ne bubiggyibwako, wabula ne bikkirizibwa okusigala nga biramu okumala ekiseera ekigere.
13Mu kulabikirwa kwe nafuna ekiro, nalaba eyafaanana ng'Omuntu, n'ajja n'ebire, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, ne bamwanjula mu maaso ge.#Laba ne Mat 24:30; 26:64; Mak 13:26; 14:62; Luk 21:27; Kub 1:7,13; 14:14 14Eyafaanana ng'Omuntu, n'aweebwa obuyinza, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu ab'ebika byonna n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna bamuweerezenga. Obuyinza bwe bwa mirembe gyonna, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.#Laba ne Kub 11:15
Amakulu g'ebyo Daniyeli bye yalaba mu kulabikirwa
15Nze Daniyeli ne nnakuwala mu mutima gwange, era ebyo bye nalaba mu kulabikirwa, ne bintiisa. 16Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde awo, ne mmubuuza ekituufu ekifa ku ebyo byonna. Awo n'antegeeza amakulu gaabyo. 17N'antegeeza amakulu g'ebyo byonna bye nalabikirwa nti: “Ebisolo ebyo ebinene ebina, be bakabaka bana abalibeerawo mu nsi. 18Kyokka abantu abatukuvu b'Oyo Atenkanika, baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna.”#Laba ne Kub 22:5
19Awo ne njagala okumanya ekituufu ekifa ku kisolo ekyo ekyokuna, ekyali ekyawufu ku ebyo ebirala byonna, eky'entiisa ennyo, amannyo gaakyo nga ga kyuma, n'enjala zaakyo nga za kikomo, era ekyalya ne kibwebwena bye kyasangiriza, ne kirinnyirira n'ebigere byakyo buli ekyafikkawo. 20Era ne njagala okumanya ekituufu, ekifa ku mayembe ekkumi, agaali ku mutwe gwakyo, n'ejjembe eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu. Eryo lye jjembe eryalina amaaso n'akamwa akaayogera eby'okwewaana, era eryalabika okuba eggumu okusinga gannewaalyo.
21“Bwe nali nga nkyatunuulidde ejjembe eryo, ne lirwana n'abatukuvu ba Katonda, ne libawangula,#Laba ne Kub 13:7 22okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala omusango, abantu ba Atenkanika ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu be abo ne baweebwa obwakabaka.”#Laba ne Kub 20:4
23Awo n'aŋŋamba nti:
“Ekisolo ekyokuna,
buliba bwakabaka
obwokuna ku nsi,
obutafaanana bulala bwonna,
era obulifuga ensi zonna,
obulizisambirira,
ne buzimenyaamenya.
24Ate amayembe ago ekkumi
agaava mu bwakabaka buno,
be bakabaka ekkumi abalisitukawo
ne bafuga obwakabaka obwo.
Walisitukawo omulala alibaddirira.
Ye aliba wa njawulo ku abo,
era aliggyawo bakabaka basatu.#Laba ne Kub 17:12
25Alyogera bubi ku Oyo Atenkanika,
era aliyigganya abatukuvu ba Atenkanika.
Aligezaako okukyusa
ennaku enkulu n'amateeka,
era alifugira abatukuvu ba Katonda
okutuusa ekiseera, n'ebiseera,
n'ekitundu ky'ekiseera#7:25 ekiseera, n'ebiseera, n'ekitundu ky'ekiseera: Oba emyaka esatu n'ekitundu.
lwe biriggwaako.#Laba ne Kub 12:14; 13:5-6
26Naye walibaawo okutuula mu mbuga
okusala omusango,
obufuzi bwe ne bumuggyibwako,
ne busaanyizibwawo.
27Olwo obwakabaka, n'obufuzi,
n'ekitiibwa eky'obwakabaka
bwonna ku nsi,
biriweebwa abatukuvu ba Atenkanika.
Obwakabaka bw'Atenkanika
buliba bwa lubeerera,
n'amatwale gonna galimuweereza,
era galimugondera.”#Laba ne Kub 20:4; 22:5
28Ebigambo ebyo, awo we byakoma. Era nze Daniyeli, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ndabika. Naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.