رفتن به محتوا

DANIYELI 6

6
Olukwe olw'okumenyawo Daniyeli
1Dariyo n'asalawo okuteekawo abafuzi b'amasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwe bwonna, 2nga balabirirwa abakulu basatu, omu ku basatu abo nga ye Daniyeli. Kabaka Dariyo n'alagira abafuzi b'amasaza abo, banjulirenga abakulu abasatu omusolo, kabaka aleme kufiirwa. 3Daniyeli n'asukkuluma ku bakulu banne ababiri, ne ku b'amasaza, olw'omutima omulungi gwe yalina, era kabaka yali alowooza okumuwa obwa Katikkiro mu bwakabaka bwonna. 4Bakulu banne, n'ab'amasaza, ne bafuba okunoonya ekikyamu, mu ngeri Daniyeli gye yali alabiriramu obwakabaka, naye ne batakizuula, kubanga Daniyeli yali mwesigwa, nga talina kikyamu na kimu wadde eky'obukumpanya kyonna ky'akola. 5Awo abasajja abo ne bagamba nti: “Tetujja kuzuula kikyamu kya kuwawaabira Daniyeli, okuggyako nga tumuwawaabira bifa ku mateeka ga Lubaale we.”
6Awo abakulu abo n'ab'amasaza ne bajja eri kabaka nga bali wamu, ne bamugamba nti: “Kabaka Dariyo, wangaala! 7Abakulu bonsatule mu bwakabaka, n'abamyuka baabwe, n'ab'amasaza, n'abakungu, n'ab'amagombolola, bateesezza ne bassa kimu nti ggwe, ayi Ssaabasajja, oteekewo etteeka n'ekiragiro ekinywevu nti okumala ennaku amakumi asatu, omuntu anaabaako ky'asaba lubaale, oba ky'asaba omuntu omulala yenna atali ggwe, ayi Ssaabasajja, asuulibwe mu bunnya omuli empologoma. 8Kale kaakano, ayi Ssaabasajja, teekawo ekiragiro ekyo, oteeke omukono gwo ku kiwandiiko kyakyo kibe ekitayinza kukyusibwa, nga bwe kiri mu mateeka g'Abameedi n'Abaperusi agatajjulukuka.” 9Awo Kabaka Dariyo n'ateeka omukono gwe ku kiwandiiko ky'ekiragiro ekyo.
10Daniyeli bwe yamanya ng'ekiragiro kiteekeddwako omukono, n'addayo mu nnyumba ye. Amadirisa gaayo, mu kisenge kye ekya waggulu, gaggulanga nga goolekedde Yerusaalemu. N'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, era n'atendereza Katonda we, nga bwe yakolanga edda.
11Awo abasajja abo ne bajja nga bali wamu, ne basanga Daniyeli ng'asinza, era nga yeegayirira Katonda we, nga bwe yakolanga edda. 12Ne balyoka bagenda eri kabaka, ne boogera ku kiragiro kye yakola. Ne bagamba nti: “Tewateeka omukono gwo ku kiragiro ekigamba nti okumala ennaku amakumi asatu, buli anaabaako ky'asaba lubaale, oba omuntu omulala yenna atali ggwe, ayi Ssaabasajja, alisuulibwa mu bunnya omuli empologoma?”
Kabaka n'addamu nti: “Ddala bwe kiri era ekiragiro ekyo kyakakasibwa ng'amateeka g'Abameedi n'Abaperusi bwe gali, agatajjulukuka.”
13Awo ne bagamba kabaka nti: “Daniyeli, omu ku baanyagibwa mu Buyudaaya, akunyooma ggwe, ayi Ssaabasajja, wamu n'ekiragiro kye wassaako omukono gwo, era aliko by'asaba Lubaale we emirundi esatu buli lunaku.”
14Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo, n'anakuwala nnyo, n'alumirwa Daniyeli, n'ayagala okumuwonya. N'amala olunaku lwonna ng'asala amagezi okumuwonya. 15Abasajja abo, era ne baddayo eri kabaka, ne bamugamba nti: “Ayi Ssaabasajja, kimanye nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewaabenga kiragiro wadde etteeka erimala okukakasibwa kabaka, eriyinza okukyusibwa.”
16Awo kabaka n'alagira ne baleeta Daniyeli, ne bamusuula mu bunnya omuli empologoma. Kabaka n'agamba Daniyeli nti: “Lubaale wo gw'osinza bulijjo, akuwonye.” 17Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'obunnya, kabaka n'aliteekako akabonero ke ak'envumbo, wamu n'akabonero k'abakungu be, waleme kubaawo kikyusibwa ku kibonerezo kya Daniyeli. 18Kabaka n'addayo mu lubiri lwe. Ekiro ekyo n'atalya ku mmere era n'atakkiriza kumuleetera bivuga eby'okumusanyusa, era n'ateebaka ku tulo.
19Kabaka yazuukuka ku makya nnyo, era obudde bwe bwali busaasaana, n'ayanguwako, n'agenda ku bunnya omuli empologoma. 20Bwe yatuuka ku bunnya, n'akoowoola Daniyeli mu ddoboozi ery'ennaku nti: “Ggwe Daniyeli, omuweereza wa Lubaale Nnannyinibulamu, Lubaale wo gw'osinza bulijjo yasobodde okukuwonya empologoma?”
21Daniyeli n'addamu nti: “Ayi Ssaabasajja, wangaala! 22Katonda wange yatumye malayika, we n'aziba emimwa gy'empologoma, ne zitankolako kabi, kubanga mu maaso ge siriiko kye nasobya, era ne mu maaso go, ayi Ssaabasajja, siriiko kabi ke nakola.”
23Kabaka n'asanyuka nnyo nnyini, n'alagira baggye Daniyeli mu bunnya. Ne bamuggyayo, ne balaba nga taliiko kabi n'akatono, kubanga yali yeesize Katonda we. 24Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja bali abaaloopa Daniyeli, ne babasuula mu bunnya omuli empologoma, bo, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe. Empologoma ne zibavumbagira nga tebannaba na kutuukira ddala wansi mu bunnya, ne zibabwebwena amagumba.
25Awo Kabaka Dariyo n'awandiikira abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna ab'omu nsi yonna nti: “Emirembe gyeyongere okuba nammwe. 26Nteeka etteeka nti mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange, abantu bonna batyenga, era bassengamu ekitiibwa Lubaale wa Daniyeli:
kubanga Oyo ye Lubaale Nnannyinibulamu,
anaafuganga,
omunywevu emirembe gyonna.
Obwakabaka bwe, bwe butalizikirizibwa,
n'obuyinza bwe tebuliggwaawo.
27Awonya era n'alokola,
akola ebyewuunyo n'ebyamagero
mu ggulu era ne mu nsi.
Awonyezza Daniyeli
okuttibwa empologoma.”
28Bw'atyo Daniyeli oyo n'aba bulungi mu mulembe gwa Dariyo, n'ogwa Kuuro Omuperusi.