BARUKU 3
3
1“Ayi Mukama Omuyinzawaabyonna, Katonda wa Yisirayeli, tukukaabirira n'emitima egijjudde obuyinike era n'emyoyo egimenyese. 2Tuwulire ayi Mukama otukwatirwe ekisa, kubanga twayonoona mu maaso go. 3Ggwe otuula ku ntebe yo ey'obwakabaka emirembe gyonna, naye ffe tuzikirira ennaku zonna. 4Ayi Mukama Omuyinzawaabyonna, Katonda wa Yisirayeli, wulira okusaba kwaffe. Abafu tetulina kye tubasinza. Bajjajjaffe baayonoona ne bakunyiiza ggwe Mukama Katonda waabwe. Baagaana okukuwulira, kyetwava tubonaabona olw'ebibi byabwe. 5Weerabire ebibi bajjajjaffe bye baakola, kaakano ojjukire obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo, 6kubanga ggwe Mukama Katonda waffe, era tukutendereza ayi Mukama. 7Emitima gyaffe ogijjuzza okukutya, tusobole okukukoowoola. Ffe twagala okukutenderereza eno gye tuzaayidde nga tweggye ku bibi bya bajjajjaffe. 8Tuutuno tukyazaayidde gye watusaasaanyiza tuvumibwe era tukolimirwe. Otubonereza olw'ebibi bya bajjajjaffe abaakujeemera, ayi Mukama Katonda waffe.”
Okutendereza Amagezi
9Yisirayeli wuliriza ebiragiro ebireeta obulamu,
tega amatu, oyige amagezi.#Laba ne Nge 4:20-22
10Lwaki, Yisirayeli oli mu nsi y'abalabe bo?
Lwaki okaddiyidde mu nsi eteri yiyo?
11Oyonoonese ng'abafudde,
obalirwa mu bali emagombe?
12Ggwe walekawo ensibuko y'Amagezi.
13Singa wakola Katonda by'ayagala,
wandibadde n'emirembe ennaku zonna.
14Yiga awali obwegendereza
n'awali amaanyi n'okutegeera,
omanye awali obuwangaazi n'obulamu
n'awali ekitangaala ekikuluŋŋamya
era n'emirembe.
15Naye ani yali azudde ekitebe ky'Amagezi,
wadde eyayingira etterekero lyago?#Laba ne Yob 28:12,20
16Kale baluwa abakulu b'amawanga
n'abafuzi b'ebisolo ku nsi?
17Baluwa abeewummuza
nga bayigga ebisolo n'ebinyonyi,
n'abeekuŋŋaanyiza zaabu ne ffeeza
abantu gwe beesiga
era gwe bafaabiinira okufuna?
18Baluwa abaategana nga beeraliikirira
ne bafuna ensimbi,
naye bye baakola nga tebikyalabika?
19Baggwaawo abo, bali magombe.
Balala be baddawo mu bifo byabwe.
20Abato baazaalibwa ne baba mu nsi eno,
naye nabo tebaazuula kkubo lya Magezi.
Tebaagatuukako,
wadde okumanyayo gye gali.
21N'abaana baabwe baawaba,
tebaalaba kkubo lyago.
22Ab'omu Kanaani tebagawulirangako
ab'omu Yidumeya tebagalabangako,
23newaakubadde nga baaganoonya nnyo.
Abasuubuzi b'e Mirani ne Temani
n'abo abanyumya engero ennyingi,
teri n'omu yali alabye Magezi.
24Ayi Yisirayeli,
nga wagazi nnyo Katonda w'abeera!
Ng'obufuzi bwe busangibwa wonna!
25Bugazi nnyo tebulina kikomo,
tewali na ngeri gye bupimibwamu.
26Eyo ye waabeeranga abasajja abawagguufu
abamanyifu mu biseera eby'edda,
abaali batawunyikamu mu kulwana.#Laba ne Nta 6:4; Mag 14:6
27Naye Mukama teyabeerondera kubeera babe,
wadde okubalaga ekkubo ly'Amagezi.
28Ne bafa ne baggwaawo,
kubanga tebaalina magezi.
Baazikirira lwa kuba basiru.
29Ani yali alinnye mu ggulu okuggyayo Amagezi,
n'agaleetera ku bire?
30Ani yali asomose ennyanja okugazuula
n'agaleeta ne zaabu ow'omuwendo?
31Tewali yali azuudde kkubo
erigatuukako gye gali.
32Naye Katonda amanyi byonna,
yekka ye amanyi Amagezi.
Olw'okutegeera kwe yagazuula.
Ye yanyweza ensi ebeerewo ennaku zonna,
n'agijjuza ebisolo ebya buli ngeri.
33Alagira ekitangaala ne kigenda gy'akitumye,
akiyita ne kimuwulira nga kikankana.
34Yayita emmunyeenye
ne zimuddamu amangwago.
Zaakisa ssanyu mu bifo byazo
okusanyusa eyazitonda.
35Oyo ye Katonda waffe,
teri mulala ali nga ye.
36Ye yazuula ekkubo ly'Amagezi
n'aliyigiriza Yisirayeli
omuweereza we gw'ayagala.
37Okuva olwo Amagezi
ne galabika ku nsi,
ne gabeera mu bantu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.