رفتن به محتوا

BARUKU 2

2
1“Mukama kyeyava atuukiriza bye yayogera okututiisa ffe n'abalanzi baffe abaali balamula Yisirayeli, bakabaka baffe n'abalangira baffe n'abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya. 2Ebyakolebwa e Yerusaalemu tebikolebwanga walala ku nsi, Mukama bwe yatuukiriza ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa. 3Ne tutuuka n'okulya batabani baffe ne bawala baffe. 4Mukama n'asaanyaawo abantu baffe, n'atuwaayo okufugibwa abafuzi b'amawanga gonna agatwetoolodde, ne batuvuma era ne batwenyinyala. 5Mu kifo ky'okufuga ne tufugibwa, kubanga twayonoona ne tunyiiza Mukama Katonda waffe nga tugaana okuwulira by'atugamba.
6“Mukama Katonda waffe mutuukirivu, naye ffe ne bajjajjaffe okutuusa kati tukyajjudde okuswala. 7Buli kabi Mukama ke yayogera nti kalitutuukako katutuuseeko. 8Era ne tuteegayirira Mukama buli omu mu ffe alekeyo ebikolwa bye ebibi. 9-10Tetwawulira by'atugamba era tetwakolera ku biragiro bye. Kyeyava atutuusaako ebibonerezo byonna bye yatuteekerateekera.
Basaba okununulibwa
11“Ayi Mukama, ggwe Katonda wa Yisirayeli eyaggya abantu bo e Misiri ng'okola eby'amaanyi, ne weefunira ettutumu erikyaliwo n'okutuusa kati. 12Ayi Mukama Katonda waffe, twayonoona. Tetwali beesigwa, twajeemera ebiragiro byo byonna. 13Naye lekera awo okutusunguwalira, kubanga tusigadde batono mu mawanga mwe watusaasaanyiza. 14Ayi Mukama, wulira okusaba kwaffe n'okwegayirira kwaffe, otuwonye olw'ekitiibwa kyo. Tuwe okusiimibwa abo abaatuleeta mu buwaŋŋanguse, 15ensi yonna eryoke emanye nti ggwe Mukama Katonda waffe, era nti walonda eggwanga Yisirayeli okuba ery'abantu ababo ku bubwo.
16“Ayi Mukama, tutunuulire ng'osinziira mu ggulu. Tega okutu owulire okusaba kwaffe. 17Zibula amaaso go olabe abafu abali emagombe, abatakyalina mukka mu mibiri gyabwe. Tebayinza kukuwa kitiibwa, wadde okwatula nga bw'oli omutuukirivu. 18Naye abalamu be bayinza okukuwa ekitiibwa n'okwatula nga bw'oli omutuukirivu, ne bwe baba nga babonaabona nnyo nga beewese era nga bayongobede, nga balumwa enjala era nga n'amaaso tegakyalaba bulungi.
19“Ayi Mukama Katonda waffe, tukusaba okutukwatirwa ekisa, si lwa birungi bajjajjaffe ne bakabaka baffe bye baakola, 20kubanga watusunguwalira n'otukwatirwa ekiruyi nga bwe wali ogambye okukola ng'oyogerera mu baweereza bo abalanzi, nga bagamba nti: 21‘Mukama agamba nti: Muwete emigongo gyammwe muweereze kabaka wa Babilooniya, lwe mulisigala mu nsi gye nawa bajjajjammwe.#Laba ne Yer 7:34; 27:10-12 22Naye bwe muligaana okugondera bye mbagamba ne mutaweereza kabaka wa Babilooniya, 23ndisirisa amaloboozi g'abasanyuka n'abajaguza, nsirise n'amaloboozi ag'oku mbaga ey'obugole, gaggweerewo ddala mu bibuga bya Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, ensi yonna ebe matongo, nga teriimu bagibeeramu!’
24“Naye tetwakola kye watulagira okuweereza kabaka wa Babilooniya. Kyewava otuukiriza bye wagamba okukola ng'oyogerera mu baweereza bo abalanzi nti amagumba ga bakabaka baffe n'aga bajjajjaffe galiziikulwa mu ntaana, ne gasaasaanyizibwa.#Laba ne Yer 8:1-2 25Era kaakano gaagano gasuuliddwa ebweru, gookebwa omusana emisana, ne gafuuyibwa empewo ekiro. Baafiira mu bulumi bungi nga battibwa enjala, olutalo n'endwadde. 26Olw'ebibi by'abantu ba Yisirayeli ne Buyudaaya, Essinzizo lyo omukoowoolerwa erinnya lyo, walireka libeere mu mbeera embi bw'etyo gye lirimu kati.
27“Naye ayi Mukama Katonda waffe, olw'ekisa kyo n'olw'okusaasira kwo okungi, watuyisa 28nga bwe wasuubiza omuweereza wo Musa ku lunaku lwe wamulagira okuwandiika Amateeka go ng'Abayisirayeli bakuŋŋaanye.#Laba ne Ma 28:58-62 29Wagamba nti: ‘Bwe mutaliwulira bye mbagamba, ekibiina kino ekinene ndikikendeeza ne musigala batono mu mawanga mwe ndibasaasaanyiza. 30Mmanyi nga temulimpulira, kubanga muli bantu bakakanyavu. Naye bwe muliwaŋŋangusibwa mu nsi endala, lwe mulitegeera 31ne mumanya nti nze Mukama Katonda wammwe. Olwo ndibawa omutima omugonvu n'amatu agawulira, 32munzijuukirire era muntenderereze mu nsi gye muzaayiddemu. 33Mulirekera awo okuba abakakanyavu era ababi, kubanga mulijjukira ekyatuuka ku bajjajjammwe bwe baayonoona ne bannyiiza. 34Olwo ndibakomyawo mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka ne Yakobo, eddemu okuba eyammwe. Ndibawa okwala ne mutaddayo kuba ba munaganwa. 35Ndikola nammwe endagaano ey'olubeerera. Ndiba Katonda wammwe, ne muba bantu bange. Abantu bange Abayisirayeli siriddayo kubaggya mu nsi yaabwe gye nabawa!’#Laba ne Yer 32:38-40