2 SAMWELI 5
5
Dawudi afuuka kabaka wa Yisirayeli ne Buyudaaya
(Laba ne 1 Byom 11:1-9; 14:1-7)
1Awo ab'omu Bika bya Yisirayeli byonna ne bajja eri Dawudi mu Heburooni ne bamugamba nti: “Tuli baaluganda era ba musaayi gumu naawe. 2Mu biro eby'edda Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Abayisirayeli mu ntabaalo. Mukama n'akugamba nti: ‘Ggwe onookulemberanga abantu bange Abayisirayeli, era ggwe onoobanga omufuzi wa Yisirayeli.’ ” 3Awo abakulembeze ba Yisirayeli bonna ne bajja mu Heburooni eri kabaka. Dawudi n'akolerayo nabo endagaano mu maaso ga Mukama, ne bamufukako omuzigo, n'afuuka kabaka wa Yisirayeli. 4Dawudi we yafuukira kabaka wa Yisirayeli, yali aweza emyaka amakumi asatu, n'afuga Yisirayeli emyaka amakumi ana.#Laba ne 1 Bassek 2:11; 1 Byom 3:4; 29:27 5Mu Heburooni n'afugirayo Yuda emyaka musanvu n'emyezi mukaaga, ate mu Yerusaalemu n'afugirayo Yisirayeli yonna ne Yuda emyaka amakumi asatu mu esatu.
Dawudi awangula Yerusaalemu
6Awo kabaka ne basajja be ne bagenda e Yerusaalemu okulwanyisa Abayebusi abatuuze baayo. Abayebusi abo ne balowooza nti Dawudi tayinza kuwangula n'ayingira kibuga ekyo. Kyebaava bamugamba nti: “Toliyingira mu kibuga kino kubanga ne bamuzibe n'abalema basobola okukuziyiza.”#Laba ne Yos 15:63; Balam 1:21 7Kyokka Dawudi n'awamba ekigo ky'e Siyooni, ne kifuuka Ekibuga kya Dawudi.
8Ku lunaku olwo Dawudi n'agamba basajja be nti: “Buli ayagala okutta Abayebusi, ayambukire mu mukutu gw'amazzi atte bamuzibe n'abalema abo Dawudi b'akyawa.” Kyebava bagamba nti: “Bamuzibe n'abalema tebayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama.”
9Dawudi bwe yamala okuwamba ekigo, n'akibeeramu era n'akituuma erinnya: “Ekibuga kya Dawudi.” N'azimba mu kifo ekyo okwetoolooza, ng'atandikira mu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo, n'okudda munda. 10Dawudi ne yeeyongeranga okuba omukulu, kubanga Mukama Katonda Nnannyinimagye yali wamu naye.
11Awo Hiraamu kabaka w'e Tiiro n'atumira Dawudi ababaka, n'amuweereza emiti egy'emivule, n'ababazzi, n'abazimbi b'amayinja bazimbire Dawudi olubiri. 12Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Yisirayeli, era ng'agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Abayisirayeli.
13Awo Dawudi bwe yamala okuva mu Heburooni n'abeerera ddala mu Yerusaalemu, ne yeeyongera okuwasa abakazi. N'azaala abaana abalala bangi ab'obulenzi n'ab'obuwala. 14Gano ge mannya g'abaana, be yazaalira mu Yerusaalemu: Sammuwa, ne Sobabu, ne Natani, ne Solomooni, ne 15Yibari, ne Elisuuwa, ne Nefegi, ne Yafiya 16ne Elisaama ne Eliyaada ne Elifeleti.
Abafilistiya bawangulwa
(Laba ne 1 Byom 14:8-17)
17Abafilistiya bwe baawulira nti Dawudi afukiddwako omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli, bonna ne bagenda bamuyigge. Dawudi bwe yakiwulira, ne yeekweka mu mpuku. 18Abafilistiya ne batuuka mu kiwonvu ky'e Refayiimu ne bakibuna kyonna. 19Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Ŋŋende nnumbe Abafilistiya? Ononsobozesa okubawangula?”
Mukama n'addamu nti: “Genda. Ddala nja kukusobozesa okubawangula.”
20Awo Dawudi n'agenda e Baali-Peraziimu n'awangulirayo Abafilistiya, n'agamba nti: “Mukama amenye abalabe bange, ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gumenya embibiro.” Ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Baali-Peraziimu.#5:20 Baali-Peraziimu: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Mukama amenya.” 21Abafilistiya bwe badduka, baalekayo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi ne basajja be ne babitwala.
22Awo Abafilistiya ne bakomawo nate ne babuna mu kiwonvu kye Refayiimu. 23Era Dawudi n'addamu okubuuza Mukama. Mukama n'amuddamu nti: “Tobalumbira wano. Weetooloole odde emabega waabwe, obalumbe ng'osinziira mu maaso g'emitugunda. 24Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka obalumba kubanga nze Mukama nnaaba nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafilistiya.” 25Dawudi n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'agenda ng'atta Abafilistiya okuva e Geba okutuuka e Gezeri.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.