رفتن به محتوا

2 SAMWELI 4

4
Okutemulwa kwa Yisiboseti
1Awo Yisiboseti mutabani wa Sawulo bwe yawulira nti Abuneeri bamuttidde mu Heburooni, n'atya nnyo, n'abantu b'omu Yisirayeli bonna ne beeraliikirira. 2Yisiboseti yalina abakungu be babiri, abaakuliranga entabaalo, ng'omu erinnya lye Baana, n'owookubiri nga ye Rekabu, batabani ba Rimmoni Omubeeroti, ow'omu Kika kya Benyamiini. (Beeroti kibalibwa mu kitundu kya Benyamiini. 3Abatuuze abaasooka okukibeeramu baali baddukidde mu Gittayiimu, gye babeera n'okutuusa kati).
4Yonataani mutabani wa Sawulo yalina mutabani we eyalemala amagulu, erinnya lye Mefiboseti. Omwana oyo yalina emyaka etaano egy'obukulu Sawulo ne Yonataani we baafiira. Omuntu bwe yava e Yezireeli n'abika Sawulo ne Yonataani, omulezi w'omwana oyo Mefiboseti n'amusitula n'adduka. Naye olw'okuba yali mu bwangu, omwana yamusimattukako n'agwa n'alemala.#Laba ne 2 Sam 9:3
5Awo Rekabu ne Baana batabani ba Rimmoni Omubeeroti ne bagenda, ne batuuka mu nnyumba ya Yisiboseti ku ssaawa nga mukaaga ez'omu ttuntu, ne basanga nga Yisiboseti awumuddeko. 6Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Rekabu ne muganda we Baana ne badduka. 7Baayingira mu nnyumba nga Yisiboseti yeebase ku kitanda mu kisenge mw'asula, ne bamufumita, ne bamutta. Ne bamutemako omutwe, ne bagutwala. Ne batambula ekiro kyonna, nga bayita mu kiwonvu kya Yorudaani. 8Omutwe gwa Yisiboseti ne bagutwalira Dawudi mu Heburooni, ne bamugamba nti: “Omutwe gwa Yisiboseti mutabani w'omulabe wo Sawulo, eyali agezaako okukutta, guuguno! Olwaleero Mukama awooledde eggwanga ku lulwo ku Sawulo ne ku zzadde lye.”
9Dawudi n'abaddamu nti: “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna! 10Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka namukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye namuwa olw'amawulire ge ago!#Laba ne 2 Sam 1:1-16 11Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Siisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Yisiboseti, ne mbasaanyaawo ku nsi kuno?” 12Dawudi n'alagira balenzi be, ne batta Rekabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba ky'omu Heburooni. Ne batwala omutwe gwa Yisiboseti, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri mu Heburooni.