2 SAMWELI 23
23
Ebigambo bya Dawudi ebyasembayo
1Bino bye bigambo bya Dawudi ebyasembayo, kwe kwogera kwa Dawudi mutabani wa Yesse, kwe kwogera kw'omusajja Katonda gwe yagulumiza. Katonda wa Yakobo yamufukako omuzigo. Ye muyimbi ow'eggono owa Zabbuli za Yisirayeli.
2Mwoyo wa Mukama ayogerera mu nze;
ekigambo kye kiri ku lulimi lwange.
3Katonda wa Yisirayeli yayogera,
omukuumi wa Yisirayeli yaŋŋamba
nti: “Oyo afugisa abantu amazima,
afuga ng'atya Katonda,
4ali ng'akasana k'oku makya
ak'enjuba ng'evaayo
akaaka ku ggulu okutali bire;
ne katangalijja ku muddo
enkuba ng'ekedde.”
5Era bwe lityo ezzadde lyange
bwe liri ne Katonda,
kubanga yakola nange
endagaano ey'olubeerera,
eteredde mu byonna
era enkakafu.
Byonna eby'okunnyamba
era ne bye neegomba
ajja kubituukiriza.
6Naye abatatya Katonda bonna,
baliba ng'amaggwa agasindiikirizibwa,
agatayinza kukwatibwa na ngalo.
7Naye omuntu agakwasaako
kyuma na lunyago lwa ffumu,
ne gookerwa awo,
obutasigalawo na limu.
Abasajja ba Dawudi ab'amaanyi
(Laba ne 1 Byom 11:10-41)
8Gano ge mannya g'abasajja ab'amaanyi Dawudi be yalina: asooka ye Yosebu Basseebeti ow'e Takemoni, omukulu w'Abasatu. Yali ayitibwa Adino#23:8 Adino: Mu Lwebureeyi litegeeza “Kuwunda”. Omwezeni kubanga yalwana n'abasajja lunaana, n'abatta lumu.
9Owookubiri ku basatu abo ab'amaanyi ye Eleyazaari, mutabani wa Dodo, Dodo mutabani wa Ahohi. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafilistiya abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abayisirayeli bonna ne badduka. 10Naye ye n'asituka n'atta Abafilistiya, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo, Abayisirayeli ne bakomawo awali Eleyazaari, lwa kunyaga bunyazi.
11Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omuharari. Awo Abafilistiya baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjudde ebijanjaalo, Abayisirayeli ne badduka Abafilistiya abo. 12Kyokka ye Samma n'ayimirira wakati mu musiri, n'agukuuma, n'atta Abafilistiya. Mukama n'awa Yisirayeli obuwanguzi obw'amaanyi.
13Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu, ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adullamu, mu kiseera eky'amakungula ng'ekibinja ky'Abafilistiya kisiisidde mu kiwonvu ky'e Refayiimu. 14Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo ekigumu, n'ekibinja ky'Abafilistiya nga kiri Betilehemu. 15Dawudi n'alumwa nnyo ennyonta, n'agamba nti: “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunywa agava mu luzzi olw'e Betilehemu, oluli ku wankaaki!” 16Awo abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu lusiisira lw'Abafilistiya, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Betilehemu, oluli ku wankaaki, ne bagaleetera Dawudi. Kyokka n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama. 17N'agamba nti: “Kikafuuwe, ayi Mukama, nze okunywa amazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima!” Kyeyava agaana okuganywako.
Ebyo abasajja abasatu ab'amaanyi bye baakola.
18Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja amakumi asatu#23:18 amakumi asatu: Bwe kityo bwe kiri mu Biwandiiko ebimu eby'edda. Mu Lwebureeyi kiri: ABASATU. ab'amaanyi. Yagalula effumu lye okulwana n'abasajja ebikumi bisatu n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu makumi asatu. 19Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu.
20Benaaya mutabani wa Yehoyaada ow'e Kabuzeeli naye yali musajja muzira. Yakola ebikolwa eby'amaanyi. Yatta abasajja Abamowaabu babiri ab'amaanyi ng'empologoma, era olumu mu biseera eby'omuzira yakka mu bunnya n'atta empologoma. 21Era yatta omusajja Omumisiri eyali ow'ekiwago, eyalina effumu. Benaaya yagenda gy'ali ng'alina muggo, n'asika effumu ly'Omumisiri n'alimufumisa, n'amutta. 22Ebyo Benaaya mutabani wa Yehoyaada bye yakola, n'aba n'erinnya mu abo amakumi asatu. 23Yasinga ekitiibwa abo amakumi asatu, kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be.
Abalala ku basajja amakumi asatu be bano: 24Asaheeli muganda wa Yowaabu, Eluhanani, mutabani wa Dodo ow'e Betilehemu, Samma Omuharodi, 25Elika Omuharodi, 26Helezi Omupaluti, Yira mutabani wa Yikkesi Omutekowa, 27Abiyezeeri Omwanetooti ne Mebunnayi Omuhusati; 28Zalumoni Omwahohi, Maharaayi Omunetofa, 29Helebu mutabani wa Baana Omunetofa, Yittayi mutabani wa Ribayi ow'e Gibeya eky'Ababenyamiini, Benaaya Omupiratoni; 30Hiddayi ow'oku bugga bw'e Gaasi, 31Abiyaluboni Omwarubati, Azumaveti Omubaruhumi, 32Eliyaaba Omusaalubooni; batabani ba Yaseni: Yonataani, 33Samma Omuharari, Ahiyaamu mutabani wa Sarari Omuharari, 34Elifeleti mutabani wa Ahasubayi ow'e Maaka, Eliyaamu mutabani wa Ahitofeeli ow'e Giilo, 35Heziro ow'e Karumeeli, Paarayi Omwarubi, 36Yigali mutabani wa Natani ow'e Zoba, Bani Omugaadi, 37Zeleki Omwammoni, Naharayi Omubeeroti eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya; 38Yira Omuyituri, Garebu Omuhiiti, 39ne Wuriya Omuhiiti. Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.