رفتن به محتوا

2 SAMWELI 22

22
Oluyimba lwa Dawudi olw'obuwanguzi
(Laba ne Zab 18)
1Awo Dawudi n'ayimbira Mukama oluyimba luno, ku lunaku Mukama lwe yamuwonya Sawulo n'abalabe be abalala bonna. Yagamba nti:
2Mukama lwe lwazi lwange,
ekigo kyange ekigumu
era ye andokola.
3Katonda ge maanyi gange;
ye gwe nneesiga.
Ye ngabo yange,
era ye andokola.
Gwe munaala gwange omuwanvu,
era ekiddukiro kyange.
Omulokozi wange,
ggwe omponya abakambwe.
4Nkoowoola Mukama
agwanira okutenderezebwa.
Bwe ntyo, nnaawona
abalabe bange.
5Nali neetooloddwa akabi ak'okufa,
amayengo ag'okuzikirira ne ganjiikako.
6Emiguwa egy'emagombe gyanneetooloola,
emitego gy'olumbe ne gintaayiza.
7Mu buyinike bwange nakoowoola Mukama,
ne mpita Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange,
n'awuliriza okukaaba kwange.
8Ensi yayuuguuma, n'ekankana.
Emisingi gy'eggulu gyajugumira,
ne ginyeenyezebwa,
kubanga Katonda asunguwadde.
9Omukka gwanyooka mu nnyindo ze.
Omuliro ogwava mu kamwa ke
ne gwokya,
ne gukoleeza amanda.
10Yakutamya eggulu n'akka,
ekizikiza ekikutte ennyo
nga kiri wansi w'ebigere bye.
11Yeebagala Kerubi n'abuuka,
n'alabikira ku biwaawaatiro by'embuyaga.
12Yeebikka ekizikiza,
ebire ebikutte, ebijjudde amazzi,
ne bimwetooloola.
13Amanda ag'omuliro
ne gava mu kumyansa.
14Mukama yabwatukira mu ggulu,
eddoboozi ly'Atenkanika ne liwulirwa.
15Yalasa obusaale n'abasaasaanya,
yaweereza okumyansa, n'abagoba.
16Mukama bwe yakayuka
era bwe yafuuwa omukka
ogw'omu nnyindo ze,
entobo y'ennyanja n'erabika,
n'emisingi gy'ensi ne gyeyerula.
17Mukama yasinziira waggulu
n'ankwata,
n'anzigya mu mazzi amangi.
18Yamponya abalabe bange ab'amaanyi,
n'abo abankyawa, abansinza amaanyi.
19Bannumba nga ndi mu buzibu,
naye Mukama ye yankuuma.
20Yantuusa mu kifo ekigazi
n'amponya, kubanga yanjagala.
21Mukama yampa empeera,
kubanga nali mwenkanya.
Yansasula
kubanga nakola ebirungi.
22Nawulira amateeka ga Mukama,
ne siva ku Katonda wange nga nkola ekibi.
23Nakwata ebiragiro bye byonna,
era sivanga ku mateeka ge.
24Era saalina musango mu maaso ge,
nneekuuma ne sikola kibi.
25Mukama kyavudde ampa empeera,
kubanga ndi mwenkanya,
era sirina musango mu maaso ge.
26Oli wa kisa eri ab'ekisa,
oli wa mazima eri ab'amazima.
27Oli mulongoofu eri abalongoofu,
naye oli mukambwe eri ababi.
28Olokola abo ababonyaabonyezebwa,
naye otunuulira abeekulumbaza,
obatoowaze.
29Ayi Mukama ggwe ompa
ekitangaala,
n'ongobako ekizikiza.
30Ggwe onnyamba okulumba eggye.
Ayi Katonda wange,
ggwe ompa amaanyi
okubuuka ekigo.
31Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira,
ebyo by'asuubiza byesigibwa.
Ye ataasa bonna abamwesiga.
32Mukama ye Katonda yekka;
Katonda waffe,
ye yekka atutaasa.
33Katonda kye kigo kyange ekigumu,
ye andagirira ekkubo eritaliimu kabi.
34Ebigere byange abinyweza
okutambula ng'ennangaazi.
Ankuumira waggulu ku bifo ebigulumivu.#Laba ne Hab 3:19
35Anjigiriza okulwana,
ne nsobola okuleega omutego ogw'ekikomo.
36Ayi Mukama, onkuuma era ondokola,
era obukkakkamu bwo bungulumizza.
37Wagaziya ekkubo
mwe ntambulira,
ebigere byange
ne bitaseerera.
38Nawondera abalabe bange ne mbazikiriza,
era saakyuka
nga tebannasaanyizibwawo.
39Mbazikirizza
ne mbafumitira ddala,
ne batayinza kuyimuka.
Bagudde wansi
w'ebigere byange.
40Wampa amaanyi okulwana olutalo,
n'owangula abannumba.
41Waleetera abalabe bange okunziruka,
abo abankyawa ne mbazikiriza.
42Baanoonya ow'okubayamba,
ne wataba abawonya.
Baakoowoola Mukama,
kyokka n'atabaddamu.
43Ne mbasekulasekula
ne bafuuka ng'enfuufu.
Nabalinnyirira ng'ebisooto
eby'omu nguudo,
ne mbasaasaanya.
44Omponyezza okwegugunga kw'abantu bange,
n'onfuula omufuzi w'amawanga.
Abantu be simanyanga,
balimpeereza.
45Ab'amawanga amalala
balinjeemulukukira.
Oluliwulira ebigambo byange,
baliŋŋondera.
46Baliggwaamu amaanyi,
era baliva mu bifo byabwe
bye beekwekamu,
ne bajja nga bakankana.
47Mukama mulamu!
Oyo antaasa, atenderezebwe!
Era Katonda andokola,
agulumizibwe!
48Ye Katonda awoolera eggwanga
ku lwange,
n'awangula amawanga ngafuge.
49Anzigya mu mikono
gy'abalabe bange.
Weewaawo, ayi Mukama,
ongulumiza okusinga abannumba,
omponya abantu abajjudde obukambwe.
50Kyennaava nkutenda mu mawanga,
ayi Mukama,
ne nnyimba okukutendereza.#Laba ne Bar 15:9
51Katonda gw'awadde obwakabaka,
amuwa obuwanguzi obw'amaanyi.
Akwatirwa ekisa omusiige we Dawudi,
n'ezzadde lye emirembe gyonna.