رفتن به محتوا

2 SAMWELI 2

2
Dawudi afuulibwa kabaka wa Buyudaaya
1Ebyo bwe byaggwa, Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Ŋŋende mbeere mu kimu ku bibuga bya Yuda?”
Mukama n'addamu nti: “Genda.”
Dawudi n'abuuza nti: “Mu kibuga ki?”
Mukama n'addamu nti: “Mu Heburooni.” 2Awo Dawudi n'agenda mu Heburooni wamu ne bakazi be bombi: Ahinowamu gwe yaggya e Yezireeli, ne Abigayili nnamwandu wa Nabali, ow'e Karumeeli.#Laba ne 1 Sam 25:42-43 3Dawudi n'atwala basajja be wamu n'abantu baabwe ne babeera mu bibuga ebyetoolodde Heburooni. 4Awo abasajja b'omu Kika kya Yuda ne bajja mu Heburooni, ne bafuka omuzigo ku Dawudi okuba kabaka waabwe.
Ne babuulira Dawudi nti ab'omu Yabesi eky'omu Gileyaadi be baaziika Sawulo.#Laba ne 1 Sam 31:11-13 5Awo Dawudi n'abatumira ababaka ng'agamba nti: “Mukama abawe omukisa, olw'ekikolwa eky'ekisa kye mwakolera mukama wammwe Sawulo okumuziika. 6Era nno Mukama abakwatirwenga ekisa era abe wa mazima gye muli. Era nange ŋŋenda kubayisa bulungi olw'ekyo kye mwakola. 7Kale mugume era mube bazira, kubanga newaakubadde mukama wammwe Sawulo afudde, naye ab'omu Kika kya Yuda banfuseeko omuzigo okuba kabaka waabwe.”
Yisiboseti afuulibwa kabaka wa Yisirayeli
8Abuneeri mutabani wa Neeri omuduumizi w'eggye lya Sawulo yali adduse ne mutabani wa Sawulo gwe bayita Yisiboseti, nga bagenze e Mahanayimu, emitala w'omugga Yorudaani. 9Eyo Abuneeri gye yafuulira Yisiboseti kabaka wa Gileyaadi, owa Abasuuri, owa Yezireeli, owa Efurayimu, owa Benyamiini era owa Yisirayeli yonna. 10Yisiboseti mutabani wa Sawulo yali aweza emyaka amakumi ana we yafuulirwa kabaka wa Yisirayeli, era yafugira emyaka ebiri.
Naye ab'Ekika kya Yuda ne baagoberera Dawudi. 11Dawudi n'afugira mu Heburooni ab'Ekika kya Yuda okumala emyaka musanvu n'ekitundu.
Olutalo wakati wa Yisirayeli ne Yuda
12Awo Abuneeri mutabani wa Neeri, n'abaweereza ba Yisiboseti mutabani wa Sawulo, ne bava e Mahanayimu ne bagenda e Gibiyoni. 13Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne babasisinkana ku kidiba ky'e Gibiyoni. Ebibinja byombi ne batuula, ekimu ku ludda olumu olw'ekidiba, n'ekirala ku ludda olulala. 14Abuneeri n'agamba Yowaabu nti: “Ka abavubuka bajje okuva ku buli ludda, balwanire mu maaso gaffe.”
Yowaabu n'addamu nti: “Kale bajje.”
15Awo ne beesowolayo abavubuka kkumi na babiri aba Yisiboseti mutabani wa Sawulo ab'Ekika kya Benyamiini, n'abavubuka kkumi na babiri aba Dawudi. 16Buli omu n'akwata ow'oku ludda olulala ku mutwe, n'amufumita ekitala mu mbiriizi, ne bagwira wamu. Awo ekifo ekyo ekiri mu Gibiyoni kyebaava bakiyita, “Ennimiro y'Ebitala.”#2:16 Ennimiro y'Ebitala: Mu Lwebureeyi “Helu-kati-hazzuriimu”.
17Awo olutalo olw'amaanyi ne lubalukawo ku lunaku olwo, basajja ba Dawudi ne bawangula Abuneeri n'Abayisirayeli. 18Batabani ba Zeruyiya abasatu: Yowaabu, Abisaayi, ne Asayeeli, nabo baaliyo. Asayeeli eyaddukanga embiro ng'empeewo, 19n'asituka n'awondera Abuneeri awatali kuwunjawunja. 20Abuneeri bwe yatunula emabega n'agamba nti: “Asayeeli ggwe wuuyo?”
Asayeeli n'amuddamu nti: “Nze nzuuno.”
21Abuneeri n'agamba nti: “Lekera awo okumpondera! Kyukira ku mukono gwo ogwa ddyo oba ogwa kkono okwate omu ku bavubuka, weenyagire by'alina.” Naye Asayeeli n'ayongera bwongezi okumuwondera. 22Abuneeri n'addamu nate okugamba Asayeeli nti: “Lekera awo okumpondera! Lwaki ompaliriza okukutta? Nnaalabika ntya mu maaso ga muganda wo Yowaabu nga nkusse?” 23Naye Asayeeli era n'ayongera okumuwondera. Awo Abuneeri n'afumita Asayeeli omuwunda gw'effumu lye, ne limuyita mu lubuto ne ligguka emabega. Asayeeli n'agwa n'afiirawo amangwago. Awo buli muntu eyatuukanga mu kifo ekyo Asayeeli mwe yafiira ng'ayimirira.
24Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri. Awo enjuba ng'egolooba, ne batuuka ku lusozi lw'e Amma oluli mu maaso ga Giya, ku luguudo olugenda mu ddungu ly'e Gibiyoni. 25Awo Ababenyamiini ne bakuŋŋaanira awali Abuneeri, ne bongera okwenyweza nga bali wamu ku ntikko y'olusozi. 26Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'amugamba nti: “Tunaalwana kutuusa ddi? Tomanyi nga ku nkomerero tewali kirungi kinaavaamu, okuggyako obulumi obwereere? Tuli bannansi bannammwe, oliragira ddi basajja bo okukoma okutuwondera?”
27Yowaabu n'addamu nti: “Mu mazima ga Katonda omulamu, singa towanjaze, basajja bange babadde bakyakuwondera okutuusa enkeera.” 28Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere okulabula basajja be ne balekera awo okuwondera Abayisirayeli. Awo olutalo ne lulyoka luggwa.
29Abuneeri ne basajja be ne batambula ekiro kyonna nga bayita mu kiwonvu kya Yorudaani, ne basomoka Omugga Yorudaani, ne batambula mu budde obw'enkya bwonna#2:29 Mu budde obw'enkya bwonna: Mu Lwebureeyi “Bithron,” era ekiyinza okutegeeza Olukonko, oba omuwaatwa ne bagguka nate e Mahanayimu.
30Awo Yowaabu bwe yakomawo ng'ava okuwondera Abuneeri, n'akuŋŋaanya basajja be bonna, n'asanga nga kubulako kkumi na mwenda nga tobaliddeemu Asayeeli. 31Abaweereza ba Dawudi batta ebikumi bisatu mu nkaaga ku ba Abuneeri, abasibuka mu Kika kya Benyamiini. 32Yowaabu ne basajja be, ne batwala omulambo gwa Asayeeli, ne baguziika ku kiggya ky'ewaabwe e Betilehemu. Yowaabu ne basajja be ne batambula ekiro kyonna, era obudde okukya nga batuuse mu Heburooni.