رفتن به محتوا

2 SAMWELI 1

1
Dawudi amanya okufa kwa Sawulo
1Awo Sawulo ng'amaze okufa, Dawudi n'akomawo e Zikulagi ng'amaze okutta Abameleki, era n'abeera eyo okumala ennaku bbiri. 2Ku lunaku olwokusatu omusajja n'atuuka, ng'ava mu lusiisira lwa Sawulo. Olw'okulaga obunakuwavu, yali ayuzizza ebyambalo bye era nga yeesiize ettaka mu mutwe. N'agenda eri Dawudi, n'avuunama ng'amussaamu ekitiibwa. 3Dawudi n'amubuuza nti: “Ova wa?”
N'addamu nti: “Nziruse mu lusiisira lw'Abayisirayeli.”
4Dawudi n'amugamba nti: “Mbuulira bwe byabadde.” N'amugamba nti: “Eggye lyaffe lidduse mu lutalo era abantu baffe bangi battiddwa. Sawulo ne mutabani we Yonataani bafudde.”
5Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti: “Omanyi otya nga Sawulo ne mutabani we Yonataani bafudde?”
6Omulenzi n'amuddamu nti: “Nabadde ku lusozi Gilubowa ne ndaba Sawulo nga yeewaniridde ku ffumu lye. Era ne ndaba ab'amagaali n'abeebagadde embalaasi, nga bamufumbiikiriza.#Laba ne 1 Sam 31:1-6; 1 Byom 10:1-6 7Awo bwe yakyuse n'andaba, n'ampita, ne mpitaba nti: ‘Wangi ssebo.’ 8N'ambuuza nti: ‘Ggwe ani?’ Ne mmuddamu nti: ‘Ndi Mwamaleki.’ 9N'alyoka andagira nti: ‘Jjangu wano onzite! Ntuukiddwako ebisago bya maanyi, sijja kuwona.’ 10Awo ne ŋŋenda w'ali ne mmutta, kubanga nategeeredde ddala nti bw'anaagwa taaleme kufa. Ne mmuggyako engule ku mutwe n'ekikomo ku mukono, era ssebo biibino mbireese gy'oli.”
11Awo Dawudi n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne basajja be bonna ne bakola bwe batyo. 12Ne bakungubaga, ne bakaaba amaziga, ne batalya mmere olunaku lwonna, olw'okubeera Sawulo ne mutabani we Yonataani, n'olw'abantu ba Mukama Abayisirayeli kubanga battibwa mu lutalo.
13Dawudi n'abuuza omuvubuka eyamuleetera amawulire ago nti: “Ggwe oli wa wa?”
N'amuddamu nti: “Ndi mwana wa Mwamaleki omutuuze.”
14Dawudi n'amubuuza nti: “Oyinza otya obutatya kuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako omuzigo?” 15Awo Dawudi n'ayita omu ku balenzi, n'amugamba nti: “Mutte!” Omuvubuka n'akuba Omwamaleki, n'amutta. 16Dawudi n'agamba Omwamaleki nti: “Kino ggwe okyereetedde, era weesalidde wekka omusango ng'ogamba nti: ‘Nze nzise oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.’ ”
Dawudi akungubagira Sawulo ne Yonataani
17Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne mutabani we Yonataani mu luyimba olw'okukungubaga. 18N'alagira oluyimba olwo oluyitibwa Omutego luyigirizibwe abantu b'omu Buyudaaya, era luwandiikiddwa mu kitabo kya Yasari.#Laba ne Yos 10:13
19“Abakuweesa ekitiibwa, ggwe Yisirayeli
battiddwa ku busozi bwo!
Abazira baffe bagudde!
20Temukibuulirako b'e Gaati,
era temukirangirira
mu nguudo z'e Asukelooni,
sikulwa ng'abakazi Abafilistiya,
bawala b'abatali bakomole,
basanyuka ne bajaguza.
21“Mmwe ensozi ze Gilubowa,
muleme kutonnyebwangako
nkuba wadde omusulo,
wadde okubaako ennimiro
ezikungulwa,
kubanga engabo z'abazira,
ku mmwe kwe zisuuliddwa,
n'engabo ya Sawulo
tekyafukibwako muzigo.
22Akasaale ka Yonataani
n'ekitala kya Sawulo
byali tebitya wa maanyi,
nga tebitaliza mulabe.
23“Sawulo ne Yonataani
abaayagalana mu bulamu,
tebaayawukana mu kufa.
Banguwa okusinga empungu,
ba maanyi okukira empologoma.
24“Abakazi Abayisirayeli
mukungubagire Sawulo!
Yabambaza engoye ennungi,
n'abawunda ne zaabu.
25“Abalwanyi abazira bagudde
battiddwa mu lutalo!
Yonataani agalamidde
gy'attiddwa mu nsozi.
26“Nkukaabira Yonataani
muganda wange!
Nga twali baamukwano nnyo.
Okwagala kwe wanjagalamu
kwali kwa kitalo
nga kusinga okw'abakazi.
27“Abalwanyi ab'amaanyi bagudde.
Ebyokulwanyisa byabwe
bigudde awo ttayo.”