2 SAMWELI 14
14
Yowaabu ateekateeka okudda kw'Abusaalomu
1Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'amanya nga kabaka alumirwa Abusaalomu. 2Bw'atyo Yowaabu n'atumya omukazi omugezi e Tekowa. Bwe yatuuka n'amugamba nti: “Weefuule afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okukungubaga, era teweesiiga wadde akazigo, obeere ng'amaze ebbanga eddene ng'okungubagira omufu. 3Awo olyoke ogende eri kabaka omugambe bye nnaakugamba okwogera.” Awo Yowaabu n'amugamba by'anaayogera.
4Awo omukazi ow'e Tekowa n'agenda eri kabaka, n'avuunama okumuwa ekitiibwa. N'amugamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnyamba!”
5Kabaka n'amubuuza nti: “Obadde otya?” Omukazi n'amuddamu nti: “Zansanga dda! Ndi mukazi nnamwandu, baze yafa. Nze omuweereza wo 6nalina batabani bange babiri, ne balwanira ku ttale nga tewali abataasa, omu n'akuba munne n'amutta. 7Kaakano ab'ekika bonna bannyimukiddemu nze omuweereza wo. Baŋŋamba nti: ‘Waayo oyo eyatta muganda we, tumutte olw'okutta muganda we, bwe tutyo tutte n'omusika.’ Kale bwe banaamutta, nnaaba nsigaliddewo nga sirina mwana, era banaaba bazikirizza erinnya lya baze, nga talinaawo zzadde lisigaddewo ku nsi.”
8Kabaka n'agamba omukazi oyo nti: “Ddayo ewuwo, nja kulagira, ensonga zo zikolebweko.”
9Omukazi oyo ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti: “Mukama wange, ayi kabaka, omusango gubeere ku nze ne ku b'ennyumba ya kitange. Ggwe, ayi kabaka, n'entebe yo ey'obwakabaka, obe nga toliiko musango.”
10Kabaka n'amuddamu nti: “Buli akutiisatiisa mundeetere, tagenda kuddamu kukutawaanya.”
11Omukazi n'agamba nti: “Nkwegayiridde, ayi kabaka, ojjukire Mukama Katonda wo, omuntu oyo omuwoolezi w'eggwanga ery'okuyiwa omusaayi, aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange.”
Kabaka n'agamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba wadde oluviiri n'olumu olwa mutabani wo, oluligwa wansi.”
12Omukazi n'amugamba nti: “Mukama wange, kabaka, nkwegayiridde nzikiriza nze omuweereza wo, mbeeko ekirala kye nkubuulira.”
Kabaka n'amugamba nti: “Yogera.”
13Omukazi n'agamba nti: “Kale lwaki wateeseza abantu ba Katonda ekintu ekifaanana bwe kityo? Weesingisa wekka omusango mu ekyo ky'ova okwogera, ayi kabaka, bw'ogaana okukomyaawo mutabani wo eyagobebwa. 14Ffenna tuli ba kufa, era tuli ng'amazzi agayiise ku ttaka agatayinza kuyoolebwa. Era ne Katonda, omuntu bw'afa, tamukomyawo mu bulamu. Kyokka kabaka asobola okusala amagezi n'akomyawo oyo eyagobebwa, aleme okusigala mu buwaŋŋanguse. 15Kale nno, Mukama wange kabaka, kubanga abantu bantiisizzatiisizza kyenvudde nzija nze omuweereza wo njogereko naawe, nga nsuubira nti ayi kabaka, nze omuweereza wo, ononkolera kye nkusaba. 16Ddala ayi kabaka, ojja kuwulira, omponye oyo ayagala okunzikiriza nze ne mutabani wange, atuggye mu butaka bwaffe Katonda bwe yatuwa. 17Awo nze omuweereza wo ne ŋŋamba nti ekigambo kyo mukama wange kabaka, kinampa emirembe, kubanga ggwe kabaka oli nga malayika wa Katonda, asobola okwawula ekirungi n'ekibi. Mukama Katonda wo abeere naawe!”#Laba ne 2 Sam 19:27
18Awo kabaka, n'agamba omukazi nti: “Tobaako ky'onkisa ku kye ŋŋenda okukubuuza.”
Omukazi n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, mbuuza.”
19Kabaka n'amubuuza nti: “Yowaabu yateesezza naawe mu bino byonna?”
Omukazi n'addamu nti: “Nga bw'oli omulamu, ayi mukama wange kabaka, tewali ayinza kubuzaabuza okweggya ku ekyo, ayi mukama wange kabaka ky'oyogedde, kubanga omuweereza wo Yowaabu ye yandagidde era ye yaŋŋambye ebyo byonna bye njogedde nze omuweereza wo. 20Olw'okwagala okukyusa ebiriwo, omuweereza wo Yowaabu kye yavudde akola bw'atyo. Era ggwe Mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.”
21Awo kabaka n'agamba Yowaabu nti: “Kaakano nzikirizza. Genda okomyewo omuvubuka oyo Abusaalomu.”
22Awo Yowaabu n'avuunama okussaamu kabaka ekitiibwa, n'amwebaza ng'agamba nti: “Kaakano nze omuweereza wo ntegedde ng'onjagala ayi mukama wange kabaka, kubanga ayi kabaka okkirizza nze omuweereza wo kye nkusabye.” 23Yowaabu n'asituka n'agenda e Gesuri, n'akomyawo Abusaalomu mu Yerusaalemu. 24Awo kabaka n'agamba nti: “Agende mu nnyumba eyiye, era aleme okujjanga mu maaso gange.” Awo Abusaalomu n'abeera mu nnyumba eyiye, n'atajjanga mu maaso ga kabaka.
Abusaalomu atabagana ne Dawudi
25Mu Yisirayeli yonna, temwali muntu mulungi mu ndabika ye nga Abusaalomu. Okuva wansi ku bigere bye okutuuka ku mutwe gwe ku bwetikkiro, teyaliiko kamogo. 26Buli nkomerero ya mwaka, Abusaalomu yasalanga enviiri ku mutwe gwe, kubanga zaamuzitoowereranga. Bwe yazisalanga, n'azipima, zaawezanga kilo bbiri mu bipimo bya kabaka. 27Abusaalomu yalina batabani be basatu ne muwala we omu gwe bayita Tamari eyali omukazi omulungi ennyo mu ndabika ye.
28Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri mu Yerusaalemu, nga talabaganye na kabaka. 29Awo Abusaalomu n'atumira Yowaabu, amutume eri kabaka, kyokka Yowaabu n'atakkiriza kujja gy'ali. Abusaalomu n'amutumya omulundi ogwokubiri, era Yowaabu n'agaana okujja. 30Awo Abusaalomu n'agamba abaweereza be nti: “Mugende mwokye omusiri gwa Yowaabu ogw'eŋŋaano oguliraanye n'ogwange.” Ne bagenda ne bagwokya.
31Awo Yowaabu n'asituka n'agenda ewa Abusaalomu, n'amubuuza nti: “Lwaki abaweereza bo bookezza omusiri gwange?”
32Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti: “Laba nakutumira nga ŋŋamba nti: ‘Jjangu wano, nkutume eri kabaka okumubuuza nti naviira ki e Gesuri? Waakiri nandisigadde eyo n'okutuusa kati. Kale kaakano ka ŋŋende ndabe kabaka. Era oba nga nnina omusango, anzite.’ ”
33Awo Yowaabu n'agenda eri kabaka n'amubuulira. Abusaalomu n'ajja eri kabaka, n'avuunama mu maaso ge. Kabaka n'anywegera Abusaalomu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.