رفتن به محتوا

2 SAMWELI 13

13
Amunooni ne Tamari
1Abusaalomu mutabani wa Dawudi, yalina mwannyina omulungi ennyo erinnya lye Tamari. Bwe waayitawo ebbanga, Amunooni, nga naye mutabani wa Dawudi, ne yeegomba Tamari. 2Amunooni n'anyolwa, n'okulwala n'alwala olw'okwagala ennyo mwannyina Tamari. Kubanga Tamari yali tannamanya musajja, Amunooni n'alaba nga kizibu okumufuna#13:2 Kizibu okumufuna: Abawala embeerera baakuumibwanga nnyo baleme kubeeranga na basajja.. 3Kyokka Amunooni yalina mukwano gwe erinnya lye Yonadaabu, mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi. Yonadaabu oyo yali musajja mugerengetanya nnyo. 4N'agamba Amunooni nti: “Omulangira, lwaki weeyongera okukogga buli lunaku? Tombuulira?” Amunooni n'amugamba nti: “Neegomba Tamari, mwannyina muganda wange Abusaalomu.” 5Yonadaabu n'amugamba nti: “Galamira ku kitanda kyo, weefuule omulwadde, kitaawo bw'anajja okukulaba omugambe nti: ‘Nkwegayiridde, kkiriza mwannyinaze Tamari ajje ampe akokulya, nkalye, era akateekereteekere mu maaso gange, nkalabe, ye yennyini akampe nkalye.’ ” 6Amunooni n'agalamira ku kitanda kye, ne yeefuula omulwadde.
Kabaka bwe yajja okumulaba, Amunooni n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, kkiriza mwannyinaze Tamari ajje anteekereteekere obugaati bubiri mu maaso gange, ye yennyini abumpe mbulye.”
7Awo Dawudi n'atumira Tamari eka ng'agamba nti: “Genda mu nnyumba ya mwannyoko Amunooni, omuteekereteekereyo akokulya.” 8Tamari n'agenda mu nnyumba mwannyina Amunooni mwe yali ng'agalamidde. N'addira obutta, n'abukanda, n'akolamu emigaati, nga Amunooni amutaddeko abiri, n'agifumba. 9N'akwata kye yagifumbiramu, n'agimujjulira. Kyokka Amunooni n'agaana okulya era n'agamba nti: “Gobawo bonna bave we ndi!” Bonna ne bava w'ali. 10Amunooni n'agamba Tamari nti: “Leeta ebyokulya mu kisenge obimpeere eno.” Tamari emigaati gy'afumbye, n'agitwala mu kisenge eri Amunooni mwannyina. 11Awo bwe yagimusembereza alye, n'amukwata, n'amugamba nti: “Mwannyinaze jjangu weebake nange.”
12Tamari n'amuddamu nti: “Nedda mwannyinaze, tonkwata, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Yisirayeli. Tokola kintu kino eky'obugwenyufu. 13Kale nze ndiraga wa nga mmaze okuwemuka bwe nti? Oliba omu ku bagwenyufu ab'omu Yisirayeli. Kale nno nkwegayiridde, ekyo kyogere ne kabaka, tajja kukunnyima.” 14Naye Amunooni n'atamuwuliriza, era kubanga yamusinza amaanyi, n'amukwata lwa mpaka, ne yeebaka naye.
15Awo Amunooni n'akyawa Tamari ebitakyayika. Engeri gye yamukyawamu yasinga okwegomba kwe yamwegombamu. Amunooni n'amugamba nti: “Situka ogende!”
16Naye Tamari n'amuddamu nti: “Nedda, eky'okunsindiikiriza kibi nnyo n'okusinga ky'osoose okukola.” 17Naye Amunooni n'atamuwuliriza. N'ayita omuweereza we n'amugamba nti: “Omukazi ono muggye mu maaso gange omufulumye ebweru omuggalireyo.” 18Tamari yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi, kubanga abambejja abatannamanya musajja bwe batyo bwe baayambalanga. Awo omuweereza wa Amunooni n'afulumya Tamari, n'amusibira ebweru. 19Tamari n'ateeka evvu mu mutwe gwe, n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde, ne yeetikka emikono gye ku mutwe, n'agenda ng'akaaba. 20Abusaalomu mwannyina n'amubuuza nti: “Amunooni mwannyoko abadde naawe? Wabula kaakano sirika, mwannyinaze, oyo mwannyoko, era kino kireme kukunakuwaza nnyo.” Tamari n'abeera mu nnyumba ya Abusaalomu mwannyina, kyokka ng'asigadde mu bbanga.
21Kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo. 22Abusaalomu n'akyawa Amunooni kubanga yali akutte Tamari mwannyina, kyokka Abusaalomu n'atayogera na Amunooni kigambo na kimu, newaakubadde ekirungi, wadde ekibi.
Abusaalomu atta Amunooni
23Nga wayiseewo emyaka ebiri, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalihazori okumpi ne Efurayimu, n'ayita abalangira bonna babeereyo. 24Era Abusaalomu n'agenda eri kabaka n'amugamba nti: “Mukama wange, nnina abasala ebyoya by'endiga. Nkusaba ojje n'abaweereza bo mugende wamu nange.”
25Kabaka n'agamba Abusaalomu nti: “Nedda, mwana wange, tetujja kugenda ffenna tuleme kukuzitoowerera.” Abusaalomu n'amwetayirira, kyokka Kabaka Dawudi n'agaana okugenda, wabula n'amusabira omukisa.
26Abusaalomu n'amugamba nti: “Kale nno nkwegayiridde kkiriza muganda wange Amunooni, agende naffe.” Kabaka n'amubuuza nti: “Lwaki agenda naawe?” 27Kyokka Abusaalomu n'amwetayirira okutuusa lwe yakkiriza Amunooni n'abalangira abalala bonna okugenda naye.
28Awo Abusaalomu n'alagira abaweereza be nti: “Mutunuulire Amunooni, bwe mumulaba ng'atamidde omwenge, era ne mbagamba nti: ‘Mukube Amunooni mumutte,’ temutya kubanga nze nnaaba mbalagidde. Mugume mube bazira.” 29Abaweereza ne bakola nga Abusaalomu bwe yabalagira, ne batta Amunooni. Abalangira bonna abaasigalawo ne basituka ne beebagala ennyumbu zaabwe ne badduka.
30Baba bakyali mu kkubo, olugambo ne lutuuka ku Dawudi nga lugamba nti: “Abusaalomu asse abalangira bonna, obutalekaawo n'omu!” 31Awo kabaka n'asituka n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agalamira ku ttaka. Abaweereza abaali naye nabo ne bayuza ebyambalo byabwe. 32Yonadaabu, mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'agamba nti: “Mukama wange, leka kulowooza nti basse abaana bo bonna ab'obulenzi, ayi kabaka. Amunooni yekka ye afudde, kubanga Abusaalomu yalabika ng'amaliridde okumutta, okuviira ddala ku lunaku lwe yakwata mwannyina Tamari. 33Kale nno mukama wange kabaka, eky'okugamba nti batabani bo bonna bafudde lema na kukirowoozaako. Amunooni yekka ye afudde.”
34Abusaalomu n'adduka. Omuserikale eyali ku gw'okukuuma bwe yayimusa amaaso, n'alengera abantu bangi nga bajja, nga bakutte ekkubo ery'oku lusozi emabega we. 35Awo Yonadaabu n'agamba kabaka nti: “Ssaabasajja, batabani bo baabo bajja. Nga nze omuweereza wo bwe nnaakamala okwogera, bwe kityo bwe kiri.” 36Nga kyajje amale okwogera ebyo, abalangira ne batuuka, ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. Era ne kabaka n'abaweereza be bonna, ne bakaaba nnyo amaziga.
37Abusaalomu n'addukira ewa kabaka w'e Gesuri, gwe bayita Talumayi mutabani wa Ammihudi. Dawudi n'akungubagira mutabani we Amunooni buli lunaku.#Laba ne 2 Sam 3:3 38Abusaalomu bwe yadduka n'agenda e Gesuri, yabeerayo okumala emyaka esatu. 39Kabaka bwe yamala okukungubagira Amunooni, n'alumirwa mutabani we Abusaalomu.