رفتن به محتوا

2 BASSEKABAKA 3

3
Olutalo wakati wa Yisirayeli ne Mowaabu
1Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana nga Yehosafaati ye kabaka wa Buyudaaya, Yehoraamu mutabani wa Ahabu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi n'ebiri. 2N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, wabula teyali mubi kwenkana kitaawe, wadde okwenkana Yezebeeli nnyina, kubanga yamenyawo empagi ya lubaale Baali, kitaawe gye yakola. 3Kyokka, ne Yehoraamu, okufaanana nga Yerobowaamu, mutabani wa Nebaati, n'akola ebibi ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, era n'atabivaamu.
4Meesa kabaka wa Mowaabu yali mulunzi wa ndiga. Buli mwaka yawangayo eri kabaka wa Yisirayeli omusolo gwa ndiga ento emitwalo kkumi, n'ebyoya by'endiga ebyavanga ku ndiga ennume emitwalo kkumi. 5Kyokka Kabaka Ahabu, kabaka wa Yisirayeli, bwe yakisa omukono, Meesa kabaka wa Mowaabu n'ajeemera kabaka wa Yisirayeli. 6Kabaka Yehoraamu n'ava mu Samariya, n'akuŋŋaanya eggye lye mu Yisirayeli yonna. 7N'atumira Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'agamba nti: “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Ononneegattako mu lutalo okumulwanyisa?”
Kabaka Yehosafaati n'addamu nti: “Weewaawo, nja kukwegattako. Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.” 8N'ababuuza nti: “Tunaakwata kkubo ki okulumba?” Yehoraamu n'addamu nti: “Kkubo ery'omu ddungu lya Edomu.”
9Awo kabaka wa Yisirayeli n'agenda wamu ne kabaka wa Buyudaaya, ne kabaka wa Edomu. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu nga bagenda beetooloola. Ne wataba mazzi ga kuwa ggye wadde ensolo ze baali nazo. 10Kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Zitusanze! Mukama atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu okutugabula mu mikono gya Mowaabu.”
11Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'abuuza nti: “Tewali wano mulanzi wa Mukama gwe tuyinza kuyitamu okwebuuza ku Mukama?” Omu ku bakungu ba kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Elisa mutabani wa Saafati eyali omuweereza wa Eliya, w'ali wano.”
12Kabaka Yehosafaati n'agamba nti: “Katonda ayogera ng'ayita mu oyo.” Awo Kabaka owa Yisirayeli, ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, ne kabaka wa Edomu ne bagenda eri Elisa.
13Elisa n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nnina nkolagana ki naawe? Genda mu balaguzi ba kitaawo, ne mu balaguzi ba nnyoko.”
Kyokka kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Nedda, sijja kugenda eyo, kubanga Mukama ye ayise bakabaka bano abasatu okubawaayo mu mikono gya Mowaabu.”
14Elisa n'agamba nti: “Mu mazima ga Katonda Nnannyinimagye era omulamu, gwe mpeereza, ddala singa si kafansonyi ke nkwatirwa Yehosafaati, kabaka wa Buyudaaya, sandikufuddeko, era sandikulabye. 15Naye kaakano, ndeetera omukubi w'ennanga.” Omukubi w'ennanga bwe yakuba, amaanyi ga Mukama ne gajja ku Elisa. 16N'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Ekiwonvu ekikalu nja kukijjuza enzizi z'amazzi.’ ” 17Mukama ayongera n'agamba nti: “Temujja kulaba ku mbuyaga, era temujja kulaba ku nkuba. Naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi, munywe mmwe n'ensolo zammwe. 18Ate nno ekyo kitono nnyo mu maaso ga Mukama. Era ajja kuwaayo Abamowaabu mu mikono gyammwe. 19Mujja kumenya buli kibuga ekiriko ekigo ekigumu, na buli kibuga ekirabika obulungi, ne mutema buli muti omulungi, ne muziba enzizi zonna ez'amazzi, era ne mujjuza amayinja mu buli musiri omulungi mugwonoone.”
20Enkeera, mu kiseera eky'okuwaayo ekitambiro, baalabira awo ng'amazzi gajja nga gava ku ludda lwa Edomu, amazzi ne gajjula mu kitundu ekyo kyonna.
21Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka abasatu bazze okubalwanyisa, ne bakuŋŋaanya bonna abakulu n'abato abaali bayinza okubagalira ebyokulwanyisa, ne baleetebwa ku nsalo. 22Abamowaabu bwe baagolokoka enkeera mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi agaboolekedde, ne balaba nga gamyuse ng'omusaayi. 23Ne bagamba nti: “Guno musaayi! Mazima bakabaka baalwanaganye, abantu baabwe bonna ne battiŋŋana. Abange Abamowaabu, mugire tugende ku munyago!” 24Naye bwe baatuuka ku lusiisira lwa Yisirayeli, Abayisirayeli ne basituka ne bakuba Abamowaabu ne babatwala misinde. Abamowaabu ne badduka, Abayisirayeli ne babawondera okubatuusiza ddala mu nsi yaabwe nga bagenda babatta. 25Abayisirayeli ne bazikiriza ebibuga, buli omu n'akasuka ejjinja mu bulime obulungi okutuusa nga babujjuzza amayinja. Ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi. Mu Kiruhareseti mwokka mwe baaleka amayinja gaamu, kyokka ab'envuumuulo ne bakyetooloola, ne bakiwangula.
26Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng'olutalo lumugendedde bubi, n'atwala abasajja lusanvu abalwanyisa ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, kyokka ne batayinza. 27Awo n'addira mutabani we asinga obukulu eyali ow'okumusikira ku bwakabaka, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo nga kiramba n'ayokerwa ku kisenge ekyetooloola ekibuga. Abayisirayeli ne basunguwalirwa nnyo, ne balekera awo okumulwanyisa, ne baddayo mu nsi y'ewaabwe.