رفتن به محتوا

2 BASSEKABAKA 2

2
Eliya atwalibwa mu ggulu
1Awo ekiseera bwe kyatuuka Mukama okutwala Eliya mu ggulu, ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu, Eliya ne Elisa ne bava e Gilugaali. 2Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Nkusaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye e Beteli.”
Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, Mukama nga bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako!” Ne bagenda e Beteli.
3Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Beteli ne batuukirira Elisa ne bamubuuza nti: “Omanyi nga Mukama olwaleero ajja kukuggyako mukama wo amutwale?”
Elisa n'addamu nti: “Weewaawo mmanyi. Mmwe musirike!”
4Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Elisa, nsaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye e Yeriko.”
Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagenda e Yeriko.
5Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Yeriko ne batuukirira Elisa, ne bamubuuza nti: “Omanyi nga Mukama olwaleero ajja kukuggyako mukama wo, amutwale?”
Elisa n'addamu nti: “Weewaawo mmanyi. Mmwe musirike.”
6Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Nkusaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye ku Mugga Yorudaani.”
Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako!” Awo ne bagenda bombi, 7ne bayimirira ku Yorudaani. Abasajja amakumi ataano ab'ekibiina ky'abalanzi nabo ne bagenda, ne bayimirira walako, ne babatunuulira. 8Awo Eliya n'akwata omunagiro gwe, n'aguzinga wamu, n'agukozesa okukuba ku mazzi, amazzi ne geeyawulamu wabiri erudda n'erudda, bombi ne bayita awakalu okugenda emitala w'eri. 9Bwe baatuuka emitala w'eri, Eliya n'agamba Elisa nti: “Saba kye mba nkukolera nga sinnakuggyibwako.”#Laba ne Ma 21:17
Elisa n'addamu nti: “Nkwegayiridde kkiriza nfune emigabo ebiri#2:9 emigabo ebiri: Elisa asaba emigabo ebiri egyaweebwanga omwana omulenzi omuggulanda era omusika. egy'obuyinza bwo, nfuuke omusika wo.”
10Eliya n'agamba nti: “Ky'osabye kizibu. Naye bw'onondaba nga nkuggyibwako, ng'okifunye. Naye bw'otondabe, olwo nga tokifunye.”
11Bwe baali batambula nga banyumya, amangwago ne wajjawo eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne bibaawulamu bombi, Eliya n'atwalibwa mu ggulu ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu. 12Elisa n'akiraba, n'agamba nti: “Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Yisirayeli, ogenze!” N'ataddamu kumulaba.
Elisa n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri olw'okunakuwala#2:12 …n'abiyuzaamu olw'okunakuwala: Laba ne Nta 37:29, 2 Sam 13:19, Yob 1:20; 2:12..#Laba ne 2 Bassek 13:14 13N'alonda omunagiro gwa Eliya gw'asudde, n'addayo, n'ayimirira ku lubalama lw'Omugga Yorudaani. 14N'akozesa omunagiro gwa Eliya okukuba ku mazzi ng'agamba nti: “Mukama, Katonda wa Eliya aluwa? Yee ddala aluwa?” Bwe yakuba ku mazzi, ne geeyawulamu wabiri erudda n'erudda, Elisa n'asomoka emitala w'eri. 15Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Yeriko bwe baamulaba, ne bagamba nti: “Obuyinza bwa Eliya buli ku Elisa.” Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge, 16ne bamugamba nti: “Tulina wano abasajja amakumi ataano ab'amaanyi, abaweereza bo. Tukwegayiridde bakkirize bagende banoonye mukama wo, oboolyawo Mwoyo wa Mukama yamusitudde n'amuteeka ku lusozi oba mu kiwonvu.”
Elisa n'abaddamu nti: “Nedda. Temubatuma.” 17Ne bongera okumwegayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata n'agamba nti: “Kale mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonyeza Eliya ennaku ssatu, kyokka ne batamulaba. 18Ne bakomawo eri Elisa ng'akyalinda e Yeriko, n'abagamba nti: “Ssaabagamba nti temugenda?”
Ebyewuunyo Elisa bye yakola
19Awo abasajja abamu ab'omu kibuga Yeriko ne basemberera Elisa, ne bamugamba nti: “Ssebo, wano awali ekibuga kino walungi, naawe nga bw'olaba. Naye amazzi gaawo mabi, n'ettaka terikuza mmere.” 20Elisa n'agamba nti: “Muteeke omunnyo mu kasumbi akapya mukandeetere wano.” Ne bakaleeta w'ali. 21N'agenda awali ensulo z'amazzi, n'asuulamu omunnyo, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amazzi gano ngafudde amalamu. Mu go temukyaddamu kuvaamu lumbe wadde obutakuza mmere.’ ” 22Okuva olwo amazzi ago ne gaba amalamu, nga Elisa bwe yagamba.
23Awo Elisa n'ava e Yeriko, n'agenda e Beteli. Bwe yali ng'atambula mu kkubo, abavubuka abalalulalu ne bava mu kibuga ne bamusekerera nga bagamba nti: “Genda ggwe kawalaata, vva wano ggwe kawalaata!” 24Elisa n'akyuka n'atunula emabega n'abalaba, n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo eddubu bbiri ne ziva mu kibira, ne zitaagula abaana amakumi ana mu babiri ku bo.
25Awo Elisa n'avaayo n'alaga ku lusozi Karumeeli, oluvannyuma n'avaayo n'adda e Samariya.