OKUBALA 36
36
Obusika bw'abakazi abafumbo
1Awo abakulu b'ennyumba mu lulyo lw'abo abasibuka mu Gileyaadi, mutabani wa Makiri era muzzukulu wa Manasse, omu ku batabani ba Yosefu, ne bajja eri Musa n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli. 2Ne bagamba nti: “Ssebo, Mukama yakulagira okugabira Abayisirayeli ensi okuba obutaka bwabwe obw'ensikirano ng'okuba kalulu. Mukama era yakulagira, obutaka obw'ensikirano obwa muganda waffe Zelofehaadi okubuwa bawala be.#Laba ne Kubal 27:7 3Bwe balifumbirwa abasajja ab'ebika ebirala eby'Abayisirayeli, obutaka bwabwe obw'ensikirano buliggyibwa ku butaka obw'ensikirano obwaweebwa bakitaffe, ne bugattibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ebika ebirala bye balifumbirwamu, ekyo ne kikendeeza ku butaka bwaffe obw'ensikirano. 4Omwaka gw'okujaguza ogw'Abayisirayeli bwe gulituuka, kale obutaka obw'ensikirano obwa bawala ba Zelofehaadi buligattirwa ddala ku butaka obw'ensikirano obw'ekika mwe baliba bafumbiddwa, bwe butyo ne buggyibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ekika kyaffe.”
5Awo Musa n'alagira Abayisirayeli nga Mukama bwe yamugamba. N'agamba nti: “Ab'Ekika kya mutabani wa Yosefu kye bagamba kituufu. 6Kale kino Mukama ky'alagidde ku bawala ba Zelofehaadi. Agambye nti: ‘Ba ddembe okufumbirwa gwe basiimye, naye bafumbirwe ba mu kika kya kitaabwe.’ 7Tewaabenga butaka bwa nsikirano mu Bayisirayeli, obunaakyukanga okuggyibwa mu kika ekimu ne buzzibwa mu kirala. Buli Muyisirayeli anaakuumanga obutaka obw'ensikirano obw'ekika kya kitaawe. 8Buli muwala anaafunanga obutaka obw'ensikirano mu kika eky'Abayisirayeli, anaafumbirwanga musajja wa mu kika ekyo, buli Muyisirayeli alyoke asobolenga okufuna obusika obw'ensikirano obwa bajjajjaabe. 9Bwe kityo tewaabenga busika bwa nsikirano bukyuka kuggyibwa mu kika kimu, kuzzibwa mu kirala. Buli kika eky'Abayisirayeli kinaakuumanga obusika bwakyo obw'ensikirano.”
10Nga Mukama bwe yalagira Musa, era bwe batyo ne bawala ba Zelofehaadi bwe baakola. 11Mahula, Tiruza, ne Hogula, ne Milika, ne Noowa, bawala ba Zelofehaadi, ne bafumbirwa batabani ba baganda ba kitaabwe. 12Baafumbirwa ba mu Kika kya Manasse, mutabani wa Yosefu, obusika bwabwe obw'ensikirano ne busigala mu kika kya kitaabwe.
13Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa Abayisirayeli ng'ayita mu Musa, mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yorudaani, okwolekera Yeriko.
Currently Selected:
OKUBALA 36: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.