YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 34

34
Ensalo z'ensi Mukama gye yawa Abayisirayeli
1Mukama n'agamba Musa 2alagire Abayisirayeli abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanaani, eyo y'ensi eriba obutaka bwammwe, ensalo zaayo zonna ziriba bwe ziti: 3ensalo yammwe ey'omu bukiikaddyo eriva ku ddungu ly'e Ziini, n'eyita ku nsalo ya Edomu. Ebuvanjuba, ensalo yammwe eyo ey'ebukiikaddyo, eritandikira ku nkomerero y'Ennyanja ey'Omunnyo. 4Ensalo yammwe erikyukira ebukiikaddyo okwolekera ekkubo eryambuka ku Akirabbiimu, ne yeeyongerayo n'etuuka e Ziini, n'etuukira ddala e Kadesi-Baruneya, mu bukiikaddyo. Olwo erikyukira e Hazari-Addari, ne yeeyongerayo mu Azimooni. 5Ensalo erikyuka okuva mu Azimooni, n'eyolekera Akagga k'e Misiri, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati.
6“Ensalo yammwe ey'ebugwanjuba, eriba Ennyanja Eyaawakati.
7“Mulyerambira ensalo yammwe ey'ebukiikakkono, okuva ku Nnyanja Eyaawakati okutuuka ku Lusozi Hoori. 8Okuva ku Lusozi Hoori, muliramba okutuuka awayingirirwa e Hamati, okukoma ku Zedadi. 9Awo ensalo w'eriva n'etuuka e Zefirooni, n'ekoma e Hazari-Enaani. Eyo ye eriba ensalo yammwe ey'ebukiikakkono.
10“Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba, okuva ku Hazari-Enaani, okutuuka ku Sefamu. 11Ensalo eyo eriva ku Sefamu n'ekka e Ribula, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Ayiini, n'ekkirira okutuuka ku lubalama olw'ebuvanjuba olw'ennyanja y'e Kinnereti. 12Ensalo eryeyongera okukka, n'etuuka ku Mugga Yorudaani, n'ekoma ku Nnyanja Ey'Omunnyo.
“Eyo ye eriba ensi yammwe n'ensalo zaayo ez'oku njuyi zonna.”
13Musa n'alagira Abayisirayeli ng'agamba nti: “Eyo ye nsi gye muligabana nga mukuba akalulu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekitundu,#Laba ne Kubal 26:52-56#Laba ne Yos 14:1-5 14kubanga ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'ab'Ekika kya Manasse, baamala dda okuweebwa obutaka obwabwe, nga bubaweebwa okusinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe. 15Ebika ebyo ebibiri n'ekitundu, byamala dda okuweebwa obutaka obwabyo emitala wa Yorudaani, ku ludda olw'ebuvanjuba, okwolekera Yeriko.”
Abakulembeze abaakwasibwa okugabanyizaamu Abayisirayeli ensi
16Mukama n'agamba Musa nti: 17“Gano ge mannya g'abantu abalibagabanyizaamu ensi eriba obutaka: Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 18Era mulitwala omukulembeze omu okuva mu buli kika, okugabanyaamu ensi. 19Gano ge mannya g'abantu abo: Mu Kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefunne; 20mu Kika kya Simyoni, Semweli mutabani wa Ammihudi; 21mu Kika kya Benyamiini, Elidaadi mutabani wa Kisulooni; 22mu Kika kya Daani, Bukki omufuzi, mutabani wa Yoguli; 23mu b'olulyo lwa Yosefu, mu Kika kya Manasse, Hanniyeeli mutabani wa Efodi; 24mu Kika kya Efurayimu, Kamweli omufuzi, mutabani wa Sifutaani; 25mu Kika kya Zebbulooni, Elizafani omufuzi, mutabani wa Parunaaki; 26mu Kika kya Yissakaari, Pawulutiyeeli omufuzi, mutabani wa Azzaani; 27mu Kika kya Aseri, Ahihudi omufuzi, mutabani wa Selomi. 28Mu Kika kya Nafutaali, Pedaheeli omufuzi, mutabani wa Ammihudi.”
29Abo be bantu Mukama be yalagira okugabanyizaamu Abayisirayeli obutaka mu nsi y'e Kanaani.

Currently Selected:

OKUBALA 34: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for OKUBALA 34