YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 32

32
Ebika bya Yisirayeli ebyasenga ebuvanjuba bwa Yorudaani
(Laba ne Ma 3:12-22)
1Ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ab'Ekika kya Gaadi, baalina ensolo nnyingi nnyo nnyini. Kale ab'ebika ebyo byombi bwe baalaba ensi y'e Yazeri n'ey'e Gileyaadi, nga nnungi okulundiramu ensolo, 2ne bajja ne bagamba Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli nti: 3“Atarooti, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimira, ne Hesubooni, ne Eleyaale, ne Sebamu, ne Nebo, ne Bewoni, 4ensi Mukama gye yawangula ng'Abayisirayeli bonna balaba, nsi nnungi okulundiramu ensolo, ate naffe abaweereza bo tuli balunzi ba nsolo.” 5Awo ne bagamba nti: “Tukusaba okkirize, ensi eno etuweebwe ffe abaweereza bo, ebe obutaka bwaffe. Totusomosa Mugga Yorudaani.”
6Musa n'agamba ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni nti: “Baganda bammwe banaagenda okutabaala nga mmwe musigadde wano? 7Lwaki mwagala okuterebula Abayisirayeli okusomoka okuyingira ensi Mukama gye yabawa? 8Ekyo bakitammwe nabo kye baakola, bwe nabatuma okuva e Kadesi - Baruneya okuketta ensi.#Laba ne Kubal 13:17-33 9Baagenda ne batuuka mu Kiwonvu eky'Ekirimba,#32:9 Kiwonvu eky'Ekirimba: Laba ne 13:24 ne balaba ensi, ne baterebula Abayisirayeli, baleme kuyingira nsi Mukama gye yabawa. 10Mukama n'asunguwala nnyo ku lunaku olwo, n'alayira ng'agamba nti:#Laba ne Kubal 14:26-35 11‘Mazima tewaliba n'omu ku basajja abaava e Misiri, awezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, aliyingira nsi gye nalayirira Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo, kubanga tebanneesiga, 12okuggyako Kalebu, mutabani wa Yefunne Omukenizi, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Abo be banneesize Nze Mukama.’ 13Mukama n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'ababungeeseza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa ab'ezzadde eryo lyonna abaakola ebibi, lwe baafa ne baggwaawo. 14Kale kaakano mmwe muzze mu kifo kya bakitammwe, olulyo lw'abakozi b'ebibi, okwongera okuleetera Mukama okusunguwalira Abayisirayeli. 15Mmwe bwe munaakyuka ne mumuvaako, ajja kuddamu okuleka abantu bano bonna mu ddungu, mubaleetere okuzikirizibwa.”
16Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni ne basemberera Musa, ne bamugamba nti: “Ka tusooke tuzimbire ensolo zaffe ebisibo, n'abaana baffe abato ebibuga. 17Olwo tunaaba beetegefu okukwata ebyokulwanyisa tukulemberemu Bayisirayeli bannaffe, okutuusa lwe tulibatuusa mu kitundu ky'ensi ekyabwe, abaana baffe basigale mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu, olw'okwerinda abantu ababeera mu nsi eno. 18Tetulikomawo mu maka gaffe, okutuusa nga buli Muyisirayeli munnaffe, amaze okufuna obutaka bwe. 19Tetuligabana wamu nabo ttaka, ku ludda luli olwa Yorudaani n'okweyongerayo, kubanga omugabo ogwaffe tugufunye ku ludda luno, olw'ebuvanjuba bwa Yorudaani.”
20Musa n'abagamba nti: “Singa ddala munaakola ekyo, ne mukwata ebyokulwanyisa, ne mugenda okutabaala nga mukulembeddemu Mukama, 21era mwenna abalina ebyokulwanyisa, bwe munaasomoka Omugga Yorudaani nga mukulembeddemu Mukama, okutuusa lw'alimala okuwangula abalabe be b'ayolekedde, 22ne yeefuga ensi eyo, olwo mulisobola okudda, ne mutabaako kye muvunaanibwa Mukama ne Bayisirayeli bannammwe. Era Mukama alikakasa ensi eno okuba obutaka bwammwe. 23Naye bwe mutaakole bwe mutyo, mbalabula nti munaaba mukoze ekibi ne munyiiza Mukama, era mumanye nga mulibonerezebwa olw'ebibi byammwe. 24Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'endiga zammwe ebisibo, era mutuukirize kye mwetemye okukola.”
25Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, ne bagamba Musa nti: “Ssebo, tunaakola nga bw'olagidde. 26Abaana baffe abato ne bakazi baffe banaasigala eno mu bibuga by'e Gileyaadi, awamu n'amagana gaffe ag'endiga n'embuzi, n'ag'ente. 27Naye ffe abaweereza bo, tujja kusomoka Omugga Yorudaani, nga buli omu ku ffe alina ebyokulwanyisa, tulwane olutalo nga tuduumirwa Mukama, nga ggwe ssebo bw'oyogedde.”
28Awo Musa ebikwata ku bo n'abiragira Eleyazaari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli.#Laba ne Yos 1:12-15 29Musa n'abagamba nti: “Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, bwe balisomoka Omugga Yorudaani nga beetegese okugenda okutabaala nga baduumirwa Mukama, ne musobola okuwangula ensi eyo, kale mulibawa ensi y'e Gileyaadi okuba obutaka bwabwe. 30Naye bwe batalisomoka nga beetegese okugenda okutabaala, olwo obutaka bwabwe balibufuna wamu nammwe mu nsi y'e Kanaani.”
31Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, ne baddamu nti: “Nga Mukama bw'atulagidde ffe abaweereza bo, bwe tutyo bwe tunaakola. 32Tunaasomoka Omugga Yorudaani nga tuduumirwa Mukama, ne tuyingira ensi y'e Kanaani, nga twetegese okutabaala, tulyoke tufune obutaka bwaffe ku ludda luno olwa Yorudaani.”
33Awo Musa n'awa ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ab'Ekika kya Manasse mutabani wa Yosefu, ensi eyo yonna obwali obwakabaka bwa Sihoni kabaka w'Abaamori, n'obwali obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, n'ebibuga byamu, n'ebitundu byonna ebibyetoolodde. 34Ab'Ekika kya Gaadi ne bazimba ebibuga Diboni, Atarooti, Aroweri, 35Atarooti-Soofaani, Yazeri, Yogubeha; 36ne Beeti-Nimira, ne Beeti-Harani, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu. Ne bazimba n'ebisibo by'endiga. 37Ab'Ekika kya Rewubeeni ne bazimba ebibuga Hesubooni, ne Eleyaale, ne Kiriyatayiimu, 38ne Nebo, ne Baali-Miyoni nga bakyusizza amannya gaabyo. Ne bazimba ne Sibuma. Ebibuga ebyo bye baazimba, ne babituuma amannya amalala.
39Ab'olulyo lwa Makiri mutabani wa Manasse, ne bagenda ne balumba ensi y'e Gileyaadi, ne bagyefuga nga bagobyemu Abaamori abaagirimu. 40Bw'atyo Musa n'awa ab'olulyo lwa Makiri, mutabani wa Manasse, ensi y'e Gileyaadi, ne babeera omwo. 41Yayiri ow'omu Kika kya Manasse n'alumba era n'awamba ebimu ku byalo by'Abaamori n'abituuma “Ebyalo bya Yayiri.” 42Nooba n'alumba era n'awamba Kenaati n'ebyalo byakyo, n'akituuma Nooba, erinnya lye.
Olugendo Abayisirayeli lwe baatambula okuva e Misiri okutuuka e Mowaabu

Currently Selected:

OKUBALA 32: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in