YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 31

31
Olutalo ku Bamidiyaani
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Woolera eggwanga ku Bamidiyaani olw'ebyo bye baakola Abayisirayeli. Ng'omaze okukola ekyo, olyoke ofe weegatte ku bajjajjaabo.”
3Musa n'agamba abantu nti: “Mulonde abasajja mu mmwe, mubawe ebyokulwanyisa, bagende mu lutalo okulwanyisa Abamidiyaani, okubabonereza olw'ebyo bye baakola Mukama. 4Mulonde mu buli kika kya Yisirayeli abasajja lukumi, mubatume okutabaala.”
5Awo ne balonda mu nkumi n'enkumi z'Abayisirayeli, abasajja lukumi okuva mu buli kika, ne baweza abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, abalina ebyokulwanyisa. 6Musa n'atuma abantu abo olukumi okuva mu buli kika, ne bagenda okutabaala, nga bakulemberwa Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona, eyagenda n'ebintu eby'omu Kifo Ekitukuvu, n'amakondeere ag'okufuuwa. 7Ne balumba Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa, ne batta abasajja bonna.
8Mu abo abattirwa mu lutalo olwo, mwe mwali ne bakabaka bataano aba Midiyaani: Evi, ne Rekemu, ne Zuuri, ne Huuri, ne Reba. Era mwe battira ne Balamu mutabani wa Beyori.
9Abayisirayeli ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana abato ab'Abamidiyaani, n'amagana gaabwe gonna ag'ente, n'ag'endiga n'embuzi, n'ebintu byabwe byonna, ne babitwala. 10Ne bookya ebibuga byonna Abamidiyaani bye baabeerangamu, era n'ensiisira zaabwe zonna. 11Ne batwala omunyago gwonna gwe baafuna, omwali abantu n'ensolo, 12ne baguleeta eri Musa ne Eleyazaari kabona, n'eri ekibiina ky'Abayisirayeli, ekyali mu lusiisira, mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yorudaani okumpi ne Yeriko.
Eggye ly'Abayisirayeli likomawo
13Awo Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze abalala ab'ekibiina ky'Abayisirayeli, ne bagenda okusisinkana abaserikale, ebweru w'olusiisira. 14Musa n'asunguwalira abakulu mu ggye abaakulira olukumi lukumi, n'abaakulira ekikumi kikumi, abaali bavudde mu lutabaalo. 15Musa n'abagamba nti: “Abakazi bonna mubalese nga balamu? 16Mujjukire nga baali bakazi abo mu mitawaana gye Pewori, abaagoberera amagezi ga Balamu, ne basendasenda Abayisirayeli obutaba beesigwa eri Mukama, bw'atyo kawumpuli n'ajja mu bantu ba Mukama.#Laba ne Kubal 25:1-9 17Kale kaakano mutte buli mwana ow'obulenzi, era mutte buli mukazi eyali yeegasseeko n'omusajja. 18Naye abawala abato bonna abakyali embeerera, mubeesigalize. 19Era mmwe musigale ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli eyatta omuntu, na buli eyakoona ku mulambo, mmwe mwenna n'abawambe bammwe, mwetukuze ku lunaku olwokusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu. 20Era mutukuze buli kyambalo, na buli kintu eky'eddiba, n'ebintu byonna ebyakolebwa mu byoya by'embuzi, era n'ebintu byonna eby'emiti.”
21Eleyazaari kabona n'agamba abaserikale abaava mu lutalo nti: “Bino bye biragiro Mukama bye yawadde Musa: 22‘Zaabu ne ffeeza, ekikomo, ekyuma, ebbaati, n'ekyuma ekizito, 23buli kintu ekiyinza okugumira omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiryoka kiba ekirongoofu, naye era ne kitukuzibwa ne mu mazzi ag'okwetukuza. N'ebyo byonna ebitayinza kugumira muliro, munaabitukuza nga mubiyisa mu mazzi. 24Era munaayoza ebyambalo byammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, olwo ne mulyoka muyingira mu lusiisira.’ ”
Okugabanyaamu omunyago
25Mukama n'agamba Musa nti: 26“Ggwe ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze b'ekibiina ky'abantu, mubale ebintu byonna ebyanyagiddwa, wamu n'abantu, era n'ensolo. 27Omunyago mugwawulemu ebitundu bibiri ebyenkanankana: ekitundu ekimu, mukiwe abaserikale abaalwana olutalo, ekitundu ekirala, mukiwe ekibiina ky'abantu abalala bonna abasigaddewo. 28Ku mugabo gw'abaserikale abaalwana olutalo, onoosoloolezaako Mukama omusolo: omuntu omu ku buli bawambe ebikumi bitaano. Era onookola bw'otyo ne ku nte, ne ku ndogoyi, ne ku mbuzi n'endiga. 29Omusolo ogwo, oguggye ku mugabo gwabwe, oguwe Eleyazaari kabona, gube ekiweebwayo ekiwongerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo. 30Ne ku mugabo ogw'Abayisirayeli abalala bonna, onoosoloozaako omuntu omu, ku buli bawambe makumi ataano, era onookola bw'otyo ne ku nte, ne ku ndogoyi, ne ku mbuzi n'endiga, ne ku nsolo endala zonna, obiwe Abaleevi abalabirira Eweema ya Mukama.” 31Musa ne Eleyazaari kabona, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
32Ebintu ebyasigalawo ne biba omunyago abaserikale gwe baanyaga, byali endiga emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano, 33n'ente emitwalo musanvu mu enkumi bbiri, 34n'endogoyi emitwalo mukaaga mu lukumi, 35n'abawala embeerera emitwalo esatu mu enkumi bbiri.
36Ekitundu ekimu ekyokubiri ekyagabanibwa abo abaatabaala, kyali bwe kiti: endiga zaali emitwalo amakumi asatu mu esatu, mu kasanvu mu bitaano. 37Okwo ne kuggyibwako omusolo gwa Mukama, endiga lukaaga mu nsanvu mu ttaano. 38Ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga, okwaggyibwa omusolo gwa Mukama, ente nsanvu mu bbiri. 39Endogoyi zaali emitwalo esatu mu bitaano, ne kuggyibwako omusolo gwa Mukama, endogoyi nkaaga mu emu. 40N'abantu baali omutwalo gumu mu kakaaga, okwaggyibwa omusolo gwa Mukama abantu asatu mu babiri. 41Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: n'awa Eleyazaari kabona omusolo ogwo gwonna, ne guba ekiweebwayo ekiwongerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo.
42Ekitundu ekimu ekyokubiri Musa kye yayawula ku ky'abasajja abaatabaala ne kiba eky'Abayisirayeli abalala bonna, 43kyali bwe kiti: endiga zaali emitwalo asatu mu esatu mu kasanvu mu bitaano. 44Ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga, 45endogoyi emitwalo esatu mu bitaano, 46n'abantu omutwalo gumu mu kakaaga. 47Ku kitundu ekyo ekyaweebwa Abayisirayeli, Musa n'aggyako omuntu omu omu ku buli bantu makumi ataano, n'ensolo emu emu ku buli nsolo amakumi ataano, nga Mukama bwe yamulagira, n'abiwa Abaleevi abaalabiriranga Eweema ya Mukama.
Ebirabo abaserikale bye baatonera Mukama
48Awo abakulembeze mu ggye, abaakulira olukumi lukumi, n'abaakulira ekikumi kikumi, ne bajja eri Musa, 49ne bamugamba nti: “Ffe abaweereza bo, tubaze abaserikale be twakulembera, ne kutabulako n'omu. 50Kale tuleese ku by'okwewoomya ebya zaabu buli omu by'afunye: emikuufu, obunyere, empeta ez'oku ngalo n'ez'oku matu, n'ebikomo. Tubitonera Mukama, nga twesabira ekisonyiwo gy'ali.” 51Musa ne Eleyazaari kabona, ne babaggyako zaabu oyo yenna, eyali akoleddwamu eby'okwewoomya. 52Zaabu yenna gwe baggya ku bakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi mu ggye, ow'ekiweebwayo ekitonerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo, zaabu oyo yaweza kilo nga ebikumi bibiri. 53Abaserikale baali beenyagidde ebintu, buli omu ebibye. 54Musa ne Eleyazaari kabona, ne batwala zaabu gwe baggye ku bakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi mu ggye, ne bamuteeka mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, zaabu oyo abe ekijjukizo ky'Abayisirayeli mu maaso ga Mukama.

Currently Selected:

OKUBALA 31: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in