OKUBALA 30
30
Amateeka agafuga obweyamo
1Musa n'agamba abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli nti: “Kino Mukama ky'alagidde. 2Omusajja bw'aneeyamanga okubaako ky'awa Mukama, oba bw'anaalayiranga nti amaliridde okubaako kye yeerumyamu, taavenga ku ky'alagaanyizza, wabula anaatuukirizanga ky'ayogedde.#Laba ne Ma 23:21-23; Mat 5:33
3“Omuwala akyali mu maka ga kitaawe bw'aneeyamanga okubaako ky'awa Mukama, oba bw'anaalayiranga nti amaliridde okubaako kye yeerumyamu, 4kitaawe n'awulira obweyamo bwa muwala we, oba endagaano ye, n'atabiwakanya, olwo byonna omuwala bye yeeyamye ne by'alagaanyizza okwerumyamu, binaabanga bikakasiddwa. 5Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, tewaabengawo kikakasibwa ku bweyamo bwe, wadde ku ndagaano gy'akoze okubaako kye yeeyamyemu, era Mukama anaasonyiwanga omuwala oyo, kubanga kitaawe yamugaana.
6“Omuwala bw'anaafumbirwanga ng'alina kye yeeyama, nga ataddeyo omwoyo oba nga tataddeeyo mwoyo, oba kye yalagaanya okwerumyamu, 7bba bw'anaakiwuliranga n'atakiwakanya ku lunaku lw'akiwulirirako, omuwala oyo kye yeeyama oba kye yalagaanya okwerumyamu, kinaabanga kikakasiddwa. 8Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako, anaamenyangawo ebyo mukazi we bye yeeyama, oba bye yalagaanya nga ataddeyo oba nga tataddeeyo mwoyo. Era Mukama anaasonyiwanga omukazi oyo. 9Kyokka nnamwandu oba omukazi eyayawukana ne bba, anaatuukirizanga obweyamo bwe, oba buli kye yalagaanya okwerumyamu.
10“Era omukazi bw'anaabangako kye yeeyamira mu bufumbo, oba ky'alagaanya nga alayira, 11bba n'akiwulira, n'asirika busirisi n'atamugaana, byonna omukazi oyo bye yeeyama, na buli kye yalagaanya okwerumyamu, binaabanga bikakasiddwa. 12Naye bba bw'anaabigaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, olwo byonna omukazi oyo bye yayogera eby'obweyamo bwe, oba eby'endagaano gye yakola, tebiikakasibwenga. Bba anaabanga abimenyeewo, era Mukama anaasonyiwanga omukazi oyo. 13Buli bweyamo, na buli ndagaano omukazi gy'akola ng'alayira, ey'okubaako kye yeerumyamu, bba ayinza okugikakasa oba okugimenyawo. 14Kyokka bwe wanaayitangawo ennaku nga bba talina ky'amugamba, bba oyo anaabanga akakasizza byonna mukazi we bye yeeyama, ne bye yalagaanya, kubanga okuva ku lunaku lwe yabiwulirirako, talina kye yamugamba. 15Wabula bw'anaabimenyangawo ng'amaze ennaku ng'abiwulidde, ye anaavunaanibwanga omusango gwa mukazi we ogw'obutabituukiriza.”
16Ago ge mateeka Mukama ge yawa Musa ku bweyamo obw'omukazi alina bba, n'obw'omuwala akyali mu maka ga kitaawe, ng'omuwala oyo tannafumbirwa.
Currently Selected:
OKUBALA 30: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: