OKUBALA 17
17
Omuggo gw'Arooni guloka
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Gamba Abayisirayeli bakuwe emiggo kkumi n'ebiri, gumu gumu okuva ku buli mukulu wa kika, owandiike erinnya lya buli mukulu wa kika ku muggo gwe. 3Era owandiike erinnya lya Arooni ku muggo gw'ab'Ekika kya Leevi, kubanga buli mukulu wa kika anaaba n'omuggo gumu. 4Onootwala emiggo egyo mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, n'ogiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, we nsisinkanira nammwe. 5Omuntu gwe nnaalonda, omuggo gwe gunaaloka, ndyoke mmalewo okwemulugunya kw'Abayisirayeli okujja gye ndi, nga babeemulugunyiza mmwe.”
6Musa n'ayogera n'Abayisirayeli. Abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, gumu gumu buli kika, emiggo gyonna kkumi n'ebiri. Omuggo gwa Arooni nagwo ne gubeera mu gyo. 7Musa n'ateeka emiggo egyo mu Weema, mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano.
8Ku lunaku olwaddako, Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'alaba ng'omuggo gwa Arooni ogw'ab'omu Kika kya Leevi, gulose ne guleeta omutunsi, ne gusansula, ne gubala ebibala ebyengevu.#Laba ne Beb 9:4 9Musa n'aggyayo emiggo gyonna, n'agifulumya n'agitwalira Abayisirayeli bonna, ne bagikebera, buli omu n'atwala ogugwe. 10Mukama n'agamba Musa nti: “Zzaayo omuggo gwa Arooni mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, gukuumibwenga, gube akabonero akalabula abajeemu, nti bajja kufa, bwe batakomya kunneemulugunyiza.” 11Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira.
12Abayisirayeli ne bagamba Musa nti: “Tuutuno, tufudde, tuzikiridde, ffenna tuweddewo. 13Oba nga buli asembera okumpi n'Eweema ya Mukama anaafa, olwo ffenna tetuggweewo?”
Currently Selected:
OKUBALA 17: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.