YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 6

6
Okugabira abaavu
1“Mwekuume obutakolanga bikolwa byammwe ebirungi mu maaso g'abantu balyoke babalabe, kubanga bwe mukola bwe mutyo, Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.#Laba ne Mat 23:5 2Kale nno bw'ogabiranga abaavu, teweeyimbiriranga ng'abakuusa bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye. 3Naye ggwe bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo kye gukola. 4Ky'ogabidde abaavu kibe kya kyama, Kitaawo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera.
Engeri y'okusinzaamu Katonda
(Laba ne Luk 11:2-4)
5“Era bwe mubanga musinza Katonda, temubanga ng'abakuusa, kubanga baagala okusinza Katonda nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, abantu balyoke babalabe. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye.#Laba ne Luk 18:10-14 6Naye ggwe bw'obanga osinza Katonda, oyingiranga mu kisenge kyo, n'oggalawo oluggi, n'olyoka osinza Katonda mu kyama, Kitaawo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera.
7“Bwe mubangako kye musaba Katonda, temumalanga googera bigambo bingi ng'abantu ab'ensi bwe bakola, abalowooza nti banaawulirwa lwa bigambo byabwe ebingi. 8Muleme nno kufaanana nga bo. Kitammwe amanyi bye mwetaaga, nga temunnaba na kumusaba.
9“Kale nno Katonda mumusabanga bwe muti:
‘Kitaffe ali mu ggulu,
erinnya lyo lyatulwe
nga bwe liri ettukuvu.
10Obwakabaka bwo bujje.
By'oyagala bikolebwe mu nsi
nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11Otuwe leero emmere gye twetaaga.
12Otusonyiwe ebibi byaffe,
nga naffe bwe tusonyiwa
abakola ebitulumya.
13Totuleka kukemebwa,
naye otuwonye omubi.’#6:13 tuwonye omubi: Oba, “Otulokole mu bibi.”
14“Bwe munaasonyiwanga abantu ensobi zaabwe, Kitammwe ali mu ggulu nammwe anaabasonyiwanga.#Laba ne Mak 11:25-26 15Kyokka bwe mutaasonyiwenga bantu, nammwe Kitammwe taabasonyiwenga nsobi zammwe.
Okusiiba
16“Bwe musiibanga, temubanga ng'abakuusa, abanakuwala ku maaso. Boonoona endabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nti basiiba. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye. 17Naye ggwe bw'osiibanga, onyirizanga omutwe gwo, n'onaaba amaaso go, 18abantu baleme kukulaba nti osiiba, wabula Kitaawo atalabika ye aba akulaba. Era Kitaawo oyo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera.
Obugagga mu ggulu
(Laba ne Luk 12:33-34)
19“Temweterekeranga bugagga ku nsi kuno kwe bwonoonerwa ennyenje n'obutalagge, n'ababbi kwe basima ne babba,#Laba ne Yak 5:2-3 20naye mweterekere obugagga mu ggulu, gye butayonoonerwa nnyenje wadde obutalagge, era ababbi gye batasima ne babba. 21Kubanga obugagga bwo gye buba, n'omutima gwo gye guba.
Ekitangaala ky'omubiri
(Laba ne Luk 11:34-36)
22“Ettaala y'omubiri lye liiso. Eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu. 23Naye eriiso lyo bwe litaba ddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekizikiza. Kale obutangaavu mu ggwe bwe buba ekizikiza, ekizikiza ekyo kiryenkana wa!
Katonda n'obugagga
(Laba ne Luk 16:13; 12:22-31)
24“Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri. Oba alikyawa omu n'ayagala omulala, oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda, ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi.
25“Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga kye munaalya ne kye munaanywa okukuuma obulamu bwammwe, newaakubadde kye munaayambaza emibiri gyammwe. Obulamu si bwa muwendo okusinga emmere? N'omubiri si gwa muwendo okusinga ebyokwambala? 26Mutunuulire ebinyonyi: tebisiga, tebikungula era tebitereka. Naye Kitammwe ali mu ggulu abiwa emmere. Mmwe temubisinga nnyo? 27Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku buwanvu bw'obulamu bwe?#6:27 ku buwanvu bw'obulamu bwe: Oba “Okwongera wadde akatono ku buwanvu bwe.”
28“Lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mutunuulire amalanga ag'omu ttale: tegakola mulimu, wadde okuluka engoye. 29Naye mbagamba nti: newaakubadde Solomooni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.#Laba ne 1 Bassek 10:4-7; 2 Byom 9:3-6 30Oba nga Katonda ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale oguliwo olwa leero, ate enkeera ne gusuulibwa ku kikoomi, talisingawo nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?
31“Kale temweraliikiriranga nga mugamba nti: ‘Tunaalya ki,’ oba nti: ‘Tunaanywa ki,’ oba nti ‘Tunaayambala ki?’ 32Ebyo byonna abantu ab'ensi bye beemalirako okunoonya. Mmwe Kitammwe amanyi nti ebyo byonna mubyetaaga. 33Naye okusingira ddala, mwemalirenga ku Bwakabaka bwe, ne ku by'ayagala mukole, ebyo byonna nabyo biribaweebwa. 34Kale temweraliikiriranga biribaawo jjo. Olunaku olwa jjo luliba n'ebyeraliikirirwa ebyalwo. Buli lunaku lubaako emitawaana egimala.

Currently Selected:

MATAYO 6: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy