YouVersion Logo
Search Icon

MALAKI 4

4
Olunaku lwa Mukama
1Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Olunaku lujja, abo bonna abeekulumbaza era n'aboonoonyi lwe balyokebwa ng'ebisasiro. Ku lunaku olwo balyokebwa ne baggweerawo ddala, obutasigalawo wadde akatundu. 2Naye mmwe abanzisaamu ekitiibwa, obuyinza bwange obulokola bulivaayo, ne bubaakira ng'enjuba erina amaanyi agawonya mu kwaka kwayo. Muliba ba ddembe, ne mubuukabuuka ng'ennyana eziyimbuddwa mu kisibo. 3Ku lunaku lwe ndikolerako, muliwangula ababi, ne mubalinnyirira wansi w'ebigere byammwe, kubanga baliba bafuuse vvu.
4“Mujjukire ebyo Musa omuweereza wange bye yabayigiriza: amateeka n'ebiragiro, bye namuweera ku Lusozi Horebu, abituuse ku Bayisirayeli bonna.
5“Olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnatuuka, ndibatumira Eliya omulanzi.#Laba ne Mat 11:14; 17:10-13; Mak 9:11-13; Luk 1:17; Yow 1:21 6Alitabaganya bakitaabwe b'abaana n'abaana baabwe, nneme okujja okuzikiriza ensi yammwe.”

Currently Selected:

MALAKI 4: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy