TITO 3
3
Okuwabula abakkiriza
1Jjukizanga abantu bo beegenderezenga abafuzi n'ab'obuyinza, babawulirenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. 2Bakuutire balemenga kwogera bubi ku muntu n'omu, era beewalenga okuyomba; babenga bakkakkamu, era bassengamu abantu bonna ekitiibwa, 3kubanga naffe ffennyini edda twali basirusiru era bajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n'amasanyu aga buli ngeri. Twali ba ttima era ab'obuggya, nga tukyayibwa, era nga tukyawagana.
4Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe, n'okwagala kwe, kw'ayagalamu abantu bwe byalabika, 5n'atulokola, si lwa bikolwa byaffe ebirungi bye twakola, wabula lwa kusaasira kwe. Yatulokola ng'atunaaza, ne tuzaalibwa omulundi ogwokubiri, ne tufuuka abaggya olwa Mwoyo Mutuukirivu, 6gwe yatubunduggulako ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. 7Ekyo yakikola tulyoke tutukuzibwe olw'ekisa kye, era tuweebwe obulamu obutaggwaawo, bwe tusuubira. 8Ekyo kya mazima.
Era ebyo njagala obikakasizenga ddala, abakkiriza Katonda balyoke beemalirenga ku kukola ebikolwa ebirungi. Ebyo birungi era bigasa abantu. 9Naye weewalenga empaka ez'obusiru, n'okukaayana ku nkalala z'amannya g'abajjajja b'abantu. Era weewalenga okuwakanira ebikwata ku Mateeka. Kubanga ebyo tebiriiko kye bigasa, era bya bwereere.
10Oyo aleetera abantu obutassa kimu, bw'omalanga okumulabula omulundi ogusooka era n'ogwokubiri, ng'omuleka, 11kubanga omanyi nti omuntu ng'oyo aba mukyamu, era mwonoonyi, era aba yeesalidde yekka omusango okumusinga.
Ebikomererayo
12Bwe ndikutumira Aritema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga eyo gye mmaliridde okubeera mu biseera eby'obutiti. 13Fuba nga bw'osobola okutegekera Zeena munnamateeka ne Apollo olugendo lwabwe, era olabe nti balina buli kimu kye beetaaga. 14Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.
15Bonna abali nange bakulamusizza. Lamusa abatwagala, bwe tulina okukkiriza okumu.
Katonda akukwatirwenga ekisa.
Currently Selected:
TITO 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.