TITO 2
2
Enjigiriza entuufu
1Naye ggwe yigirizanga ebyo ebitabagana n'enjigiriza entuufu. 2Kubirizanga abasajja abakulu babenga bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abatuukiridde mu kukkiriza, mu kwagala, ne mu kugumiikiriza. 3Abakazi abakulu nabo bakubirizenga bw'otyo, babenga n'empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira. Bateekwa okuyigirizanga ebirungi, 4balyoke bagunjule abakazi abato okwagalanga babbaabwe n'abaana baabwe. 5Era babenga beegendereza, abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe; ab'ekisa era abawulize eri babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga kuvvoolebwa.
6N'abavubuka bakubirizenga babenga beegendereza. 7Era ggwe oteekwa okuba ekyokulabirako ekirungi mu byonna by'okola, ng'oli mwesimbu era ow'amazima mu kuyigiriza kwo. 8Buli ky'oyogera kiteekwa okuba ekituufu, era nga tekiriiko kye kinenyezebwamu, oyo akiwakanya alyoke aswale, olw'obutaba na kibi ky'atwogerako.
9Kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe, era babasanyusenga mu byonna, nga tebabawakanya, 10wadde okubabbako ebyabwe. Naye balagenga obwesigwa obw'amazima mu byonna, abantu balyoke basiime enjigiriza ya Katonda Omulokozi waffe.
11Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna okulokolebwa kirabise. 12Era kituyigiriza okulekayo obutassaamu Katonda kitiibwa, n'okulekayo okwegomba kw'ensi, tulyoke tube bateefu, abeesimbu, era abassaamu Katonda ekitiibwa nga tuli ku nsi kuno, 13era tube nga tulindirira olunaku olw'omukisa lwe tusuubira, era nga tulindirira okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo. 14Kristo oyo yeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bibi byaffe byonna, atufuule abantu be abalongoofu, abanyiikirira okukola ebirungi.#Laba ne Kuv 19:5; Ma 4:20; 7:6; 14:2; Zab 130:8; 1 Peet 2:9
15Ebyo by'obanga oyogera ng'obuulirira, era ng'onenya abantu bo n'obuyinza bwonna. Tewabangawo akunyooma.
Currently Selected:
TITO 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.