Bible App logo
Search Icon

TITO 1:7-8

TITO 1:7-8 LBWD03

kubanga omulabirizi nga bw'ali omuweereza wa Katonda, ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, nga teyeekulumbaza, nga tasunguwala mangu, nga tatamiira, nga si mukambwe, era nga talulunkanira byakufuna. Wabula ateekwa okuba ng'amanyi okwaniriza abagenyi, era ng'ayagala obulungi, nga mwegendereza, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng'amanyi okwefuga.