ABAROOMA 3:25-26
ABAROOMA 3:25-26 LBWD03
Yesu oyo mu kufa kwe, yateekebwawo okuba omutango gw'ebibi by'abamukkiriza. Bw'atyo Katonda n'alaga nga bw'ali omutuukirivu, kubanga mu kugumiikiriza kwe, ebibi ebyakolebwa edda yabiyisaako amaaso, alyoke akakase mu kiseera kino, nga bw'ali omutuukirivu, era nga bw'awa obutuukirivu buli muntu akkiriza Yesu.






