Skip to content

ENGERO 26

26
1Ekitiibwa tekisaanira musiru,
ng'omuzira bwe gutasaana
kubaawo mu kyeya,
n'enkuba mu budde obw'amakungula.
2Ebikolimo by'oteegwanyizza,
tebikukwata.
Biba nga nkazaluggya n'akataayi,
ezimala gabuukabuuka.
3Ng'embalaasi bw'erina okukubibwa,
n'endogoyi okusibwa enkoba,
bw'atyo nno n'omusiru,
bw'alina okuweweenyulwa emiggo.
4Ekibuuzo ky'omusiru tokiddangamu
mu ngeri ya busiru,
naawe oleme kumufaanana busiru.
5Wabula omusiru omuddangamu
nga bw'asaanidde,
ategeere ekibuuzo kye
bwe kitabadde
kya magezi nga bw'alowooza.
6Atuma omusiru okutwala obubaka,
aba ng'eyeesalako ebigere,
era yeereetera mitawaana.
7Omusiru okukozesa
enjogera ey'amakulu,
kiri ng'omulema okukozesa
amagulu ge agaleebeeta obuleebeesi.
8Okussaamu omusiru ekitiibwa,
kuba ng'okusibira
ejjinja mu nvuumuulo.
9Omusiru okukozesa
enjogera ey'amakulu,
kiba ng'omutamiivu bw'agezaako
okwetundula eriggwa
mu kibatu kye.
10Ateekawo omusiru
okumukolera omulimu,
oba buli muyise
gw'asanze obusanzi,
aba ng'omulasi w'obusaale,
alasa buli muntu.
11Omusiru addiŋŋana eby'obusiru,
ali ng'embwa erya nate
ebisesemye byayo.#Laba ne 2 Peet 2:22
12Omusiru wandibaako
k'omusuubiramu,
okusinga omuntu eyeeyita omugezi.
13Omugayaavu agamba nti:
“Ebweru waliyo empologoma,
siyinza kuva mu nnyumba
kugenda kukola mirimu.”
14Omugayaavu yeekyusiza
ku kitanda kye,
ng'oluggi bwe lwekyusiza
ku ppata zaalwo.
15Omugayaavu akoza emmere mu kibya,
ne yeekanasa okugiteeka mu kamwa.
16Omugayaavu alowooza nti mugezi
okusinga abantu abangi,
aboogera batereeza ensonga.
17Omuntu ayitawo ne yeeyingiza
mu mpaka ezitamukwatako,
aba ng'omuntu akwata ku matu
g'embwa gy'atamanyi;
18ali ng'omulalu akasuka amanda,
agaaka omuliro, oba obusaale
n'ebissi ebirala.
19N'oyo awubisa munne,
n'agamba nti:
“Mbadde nsaaga busaazi,”
bw'atyo bw'aba.
20Ng'okumalawo enku zo
bwe kuzikiza omuliro,
n'omugeyi bw'avaawo,
okuyomba kuggwaawo.
21Omuntu ow'empaka,
akoleeza oluyombo,
ng'amanda n'enku ebyo
ebyongerwa mu kyoto,
bwe bikoleeza omuliro.
22Emboozi y'ow'olugambo ewooma
ng'emmere ekka
omuntu mu lubuto.
23Ebigambo ebiwoomerevu
ebikweka omutima omubi,
biri ng'ekintu eky'ebbumba,
ekisiigiddwako ffeeza.
24Omukuusa akweka obukyayi bwe
mu bigambo ebikwenyakwenya.
25Bw'ayogera eby'ekisa,
tobikkiriza,
kubanga omutima gwe
gukubyeko obukyayi.
26Obukyayi bwe,
ne bw'abubikkako mu bukuusa,
ebibi by'akola,
biribwoleka
abantu bonna mu lwatu.
27Oyo asima obunnya,
alibugwamu;
n'oyo ayiringisa ejjinja,
lirimuddira.
28Omulimba akyawa abo b'alimba;
era n'okuwaanawaana,
kuleeta okuzikirira.