Bible App logo
Search Icon

ENGERO 2

2
Ebirungi ebiva mu magezi
1Mwana wange, singa ossa omwoyo
ku bye nkuyigiriza,
n'oteerabiranga bye nkulagira okukola;
2n'owuliranga ebigambo eby'amagezi,
era n'ofubanga okubitegeera;
3n'osabanga ofune amagezi,
ne weegayiriranga
oweebwe okutegeera;
4amagezi n'oganoonyanga
ng'anoonya ffeeza,
era ng'awenja
ebyobugagga ebyakwekebwa,
5olwo olitegeera okutya Mukama,
n'ovumbula okumanya Katonda,
6kubanga Mukama ye agaba amagezi,
ye atuwa okumanya n'okutegeera.
7Amagezi amatuufu
agaterekera abalongoofu,
n'akuuma abeewala okwonoona,
8alyoke akuume obwenkanya,
alabirire abo
abakola by'ayagala.
9Bw'ossa omwoyo
ku bye nkutegeeza,
olimanya ebituufu
n'eby'amazima,
n'eby'obwenkanya.
Olimanya by'osaanidde okukola.
10Olifuuka mugezi,
okumanya ne kukusanyusa.
11Okuteesa obulungi
kunaakulabiriranga,
n'okutegeera kukukuumenga,
12kukuwonyenga
okukola ebitasaana,
era kukuwonyenga abo
aboogera ebitabula abantu.
13Kubakuwonyenga abo
abavudde ku kukolanga ebituufu,
ne badda mu kukolanga ebibi,
14abasanyuka okwonoona,
era abaaniriza ebikolwa
by'abantu aboonoonefu.
15Bo bantu abakyukakyuka,
era abatayinza kwesigika.
16Olisobola okuwona omukazi
ow'empisa embi,
agezaako okukusendasenda
n'akalimi akawoomerevu.
17Omukazi ow'engeri eyo,
aleka bba
gwe yafumbirwa mu buvubuka,
ne yeerabira Katonda
bye yalagira.
18Kale okugenda ku nnyumba ye,
kuba kugenda magombe.
Ekkubo erigenda ewuwe,
likutwala mu bafu.
19Abamukyalira tebadda,
tebakomawo mu kkubo ery'obulamu.
20Kale goberera ekyokulabirako
eky'abantu abalungi,
okwatenga empisa
z'abakola ebituufu,
21kubanga ab'omwoyo omulongoofu
be banakkaliranga mu nsi;
abataliiko kamogo, be baligisigalamu.
22Naye Katonda alimalawo ababi mu nsi,
n'aboonoonyi balisimbulibwamu.

Currently Selected:

ENGERO 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in