Bible App logo
Search Icon

FILEMOONI 1

1
1Nze Pawulo eyasibibwa olwa Kristo Yesu, era ne Timoteewo muganda waffe, tuwandiikira ggwe Filemooni omwagalwa, era mukozi munnaffe, 2ne Affiya mwannyinaffe, ne Arukipo muserikale munnaffe, n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekikuŋŋaanira mu nnyumba yo.#Laba ne Bak 4:17
3Katonda Kitaffe, ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
4Bulijjo nkusabira bwe mba nga nsinza Katonda wange, ne mmwebaza, 5kubanga bambuulira nga bw'okkiriza Mukama waffe Yesu, era nga bw'oyagala abantu ba Katonda bonna. 6Era nsaba Katonda nti okussa ekimu n'abalala mu kukkiriza kwo, kukusobozese okutegeerera ddala ebirungi byonna bye tufunira mu Kristo. 7Owooluganda, okwagala kwo kunsanyusa nnyo ne njaguza, kubanga emitima gy'abantu ba Katonda wagizzaamu amaanyi.
Okwegayirira olwa Onesimo
8Kale newaakubadde nga ku lwange nandisobodde okukulagira ky'osaanidde okukola, 9naye okwagala kumpalirizza okukwegayirira obwegayirizi, newaakubadde nga ndi Pawulo, omubaka wa Kristo era kaakano omusibe we.
10Nkwegayirira olw'omwana wange Onesimo, gwe nzaalidde mu busibe bwange.#Laba ne Bak 4:9 11Edda yali takugasa, naye kaakano ffembi, ggwe nange, atugasa. 12Mmukuweerezza, ye gwe mutima gwange. 13Nandyagadde mbeere naye wano, annyambe mu kifo kyo, mu busibe bwange olw'Amawulire Amalungi. 14Naye saagadde kukola kintu na kimu nga tokkirizza. Nandyagadde ekirungi ky'okola okikole nga towaliriziddwa, wabula nga weeyagalidde.
15Kiyinzika nti Onesimo yakwawukanako akaseera akatono, olyoke omweddize, abeerenga naawe bulijjo, 16kaakano nga takyali muddu buddu, wabula nga wa muwendo okusinga omuddu, kubanga waaluganda omwagalwa, naddala eri nze. Ate eri ggwe kisingawo, kubanga muganda wo mu mubiri, ate era muganda wo mu Mukama waffe.
17Kale oba nga ndi munno, yaniriza Onesimo nga bwe wandiyanirizza nze. 18Oba ng'aliko kye yakusobya, oba oliko ky'omubanja, ebyo bisse ku nze. 19Nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange gwennyini, nti nze ndisasula, newaakubadde nga naawe wennyini, obulamu bwo nze mbuyimirizzaawo. 20Kale owooluganda, njagala nkufunemu omugaso mu Mukama, omutima gwange oguzzeemu amaanyi mu Kristo.
21Olw'obuwulize bwo, mpandiise nga neesiga nti ojja kukola kye ŋŋamba. 22Era ekirala, ntegekera aw'okusula, kubanga nsuubira nti olw'okusaba kwammwe, ndibaddizibwa.
23Epafura, musibe munnange olwa Kristo Yesu, akulamusizza.#Laba ne Bak 1:7; 4:12 24Era Mariko ne Arisitaruuko ne Dema era ne Lukka bakozi bannange, nabo bakulamusizza.#Laba ne Bik 12:12,25; 13:13; 15:37-39; 19:29; 27:2; Bak 4:10 14; 2 Tim 4:10,11
25Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa.

Currently Selected:

FILEMOONI 1: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in