ABEEBUREEYI Ennyanjula
Ennyanjula
Ebbaluwa eri Abeebureeyi yawandiikirwa abagoberezi ba Kristo Abeebureeyi oba Abayudaaya, abaali bawakanyizibwa ennyo era nga bacoccanyizibwa Bayudaaya bannaabwe, ne baba mu kabi ak'okuterebuka baddeyo mu ddiini yaabwe ey'Ekiyudaaya. Omuwandiisi abagumya baleme kusuula kukkiriza kwabwe kwe balina mu Kristo, ng'omuwandiisi oyo abalaga nti mu Kristo Yesu, Katonda mw'atweragira mu bujjuvu. Okubamatiza mu kino, omuwandiisi abakakasa ebintu bisatu.
Ekisookera ddala agamba nti Yesu Mwana wa Katonda. Yayiga okuba omuwulize eri Katonda Kitaawe mu ebyo ye Kristo bye yabonaabonamu. Era nga Yesu bw'ali Mwana wa Katonda, waakitiibwa okusinga bamalayika n'abalanzi bonna, nga ne Musa yennyini omutwaliddemu.
Ekyokubiri, Katonda yalangirira nti Yesu, Kabona ow'emirembe gyonna, era waakitiibwa okusinga bakabona bonna ab'omu Ndagaano Enkadde, ng'Endagaano Empya gy'alimu ng'omutabaganya bw'esinga obulungi (8:6).
N'ekyokusatu omuwandiisi agamba nti omuntu akkiriza Kristo, ayita mu ye okuwona ekibi, okutya era n'okufa, era Yesu nga Ssaabakabona, ye atuusa abakkiriza ku kutukuzibwa okwa nnamaddala, okwali mu kifaananyi obufaananyi mu mikolo ne mu kutambira ensolo eby'omu ddiini y'Ekiyudaaya.
Mu mutwe, oba tuguyite essomo ery'ekkumi n'erimu, omuwandiisi akubiriza b'awandiikira okusigala nga beesigwa era nga banywevu mu kukkiriza, ng'abawa ebyokulabirako eby'abantu abatutumufu mu byafaayo by'Eggwanga lya Yisirayeli. Ne mu ssomo ery'ekkumi n'abiri, abasaba okwongera okuba abeesigwa, ng'amaaso bagasimbye ku Yesu, bagumiikirize ebizibu byonna ebibajjira, omuli n'okuyigganyizibwa. Ebbaluwa ekomekkerezebwa n'ebigambo ebibuulirira n'ebirabula.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula: Kristo ye atumanyisa ebifa ku Katonda mu bujjuvu 1:1-3
Kristo asukkulumye ku bamalayika 1:4–2:18
Kristo asukkulumye ku Musa ne Yoswa 3:1–4:13
Obwakabona bwa Kristo busukkulumye ku bwakabona bwa Arooni 4:14–7:28
Endagaano Kristo gy'alimu ng'omutabaganya, esukkulumye ku ndagaano ezaasooka 8:1–9:28
Ekitambiro kya Kristo kye kisukkulumye ku birala byonna 10:1-39
Obukulu bw'okukkiriza 11:1–12:29
Okusanyusa Katonda 13:1-19
Essaala efundikira 13:20-21
Ebigambo ebisembayo 13:22-25
Currently Selected:
ABEEBUREEYI Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.