MARIKO 5
5
Yesu awonya omusajja aliko emyoyo emibi
(Laba ne Mat 8:28-34; Luk 8:26-39)
1Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasa. 2Yesu bwe yali yaakava mu lyato, omuntu aliko omwoyo omubi n'ava mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, n'amusisinkana. 3Omuntu oyo yasulanga mu mpuku ezo. Waali tewakyali muntu asobola kumukuuma nga musibe na kintu kyonna, wadde olujegere. 4Emirundi mingi yasibibwanga n'enjegere emikono n'amagulu, kyokka zonna n'azikutulakutula. Era tewaali muntu wa maanyi n'omu ayinza kumusobola. 5Bulijjo emisana n'ekiro, yasinziiranga mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, ne ku nsozi, n'awowoggana, era nga yeesala n'amayinja.
6Awo bwe yalengera Yesu, n'ajja gy'ali ng'adduka, n'amussaamu ekitiibwa ng'amufukaamirira. 7Era n'awowoggana nnyo nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu Omwana wa Katonda Atenkanika? Nkwegayiridde ku lw'ekisa kya Katonda, tombonyaabonya.” 8Yagamba bw'atyo, kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku muntu oyo.
9Awo Yesu n'agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne guddamu nti: “Erinnya lyange nze Ggye, kubanga tuli bangi.” 10Ne gumwegayirira nnyo nti: “Totugoba mu kitundu kya nsi kino!”
11Ku lusozi awo waaliwo eggana ly'embizzi nga zirya. 12Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu nti: “Tusindike mu mbizzi, ze tuba tuyingiramu.” 13N'agikkiriza, ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana eryali liweramu embizzi ng'enkumi bbiri ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
14Awo abaali bazirabirira ne badduka, ne bagenda bategeeza ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo. 15Ne batuuka awali Yesu, ne balaba omuntu eyabeerangako eggye ly'emyoyo emibi. Baamusanga atudde, ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya. 16Abo abaaliwo ng'emyoyo emibi giva ku muntu ono, era nga giyingira mu mbizzi, ne banyumiza abantu abazze.
17Olwo abantu ne beegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe. 18Bwe yali ng'asaabala mu lyato, omuntu eyagobwako emyoyo emibi n'amwegayirira amukkirize ayitenga naye.
19Kyokka Yesu n'agaana, era n'amugamba nti: “Ddayo ewammwe mu bantu bo, obabuulire byonna Mukama by'akukoledde, era nga bw'akukwatiddwa ekisa.”
20Awo omuntu oyo n'agenda n'atandika okubuulira ab'omu kitundu ky'e Dekapoli, byonna ebyamukolerwa Yesu. Bonna abaabiwulira ne beewuunya.
Muwala wa Yayiro n'omukazi eyakwata ku
kyambalo kya Yesu
(Laba ne Mat 9:18-26; Luk 8:40-56)
21Yesu bwe yasaabala mu lyato, n'alaga emitala w'ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abeera nabo ku lubalama. 22Awo omu ku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, ayitibwa Yayiro, n'ajja. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira kumpi n'ebigere bye, 23n'amwegayirira nnyo nti: “Kawala kange kali kumpi okufa. Jjangu ssebo, okakwateko, okawonye, kaleme kufa.”
24Awo Yesu n'agenda naye. Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, nga bagenda bamunyigiriza.
25Waaliwo omukazi eyali abonyeebonye n'obulwadde obw'ekikulukuto ky'omusaayi, okumala emyaka kkumi n'ebiri. 26Yali awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo bangi abaamujjanjaba, kyokka n'atawona, wabula ng'endwadde ye yeeyongera bweyongezi okuba embi. 27Bwe yawulira bye boogera ku Yesu, n'ajja gy'ali ng'ayita mu kibiina ky'abantu abaali bagoberera Yesu, 28nga bw'agamba mu mutima gwe nti: “Waakiri ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye, nnaawona.”
29Bwe yakikwatako, amangwago ekikulukuto ky'omusaayi ne kikalira. N'awulira mu mubiri gwe ng'awonye obulwadde bwe. 30Mu kaseera ako kennyini, Yesu n'awulira ng'obuyinza bwe obuwonya bukoze. N'akyukira ekibiina ky'abantu, n'abuuza nti: “Ani ankutte ku kyambalo?”
31Abayigirizwa be ne bamuddamu nti: “Naawe olaba abantu bakunyigiriza, ate n'obuuza nti ani ankutteko?”
32Awo Yesu ne yeebunguluza amaaso alabe amukutteko. 33Ye omukazi eyamanya ekimukoleddwa, n'ajja ng'atidde, era nga bw'akankana, n'afukamira mu maaso ga Yesu, n'amutegeeza amazima. 34Yesu n'amugamba nti: “Omuwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe, obulwadde bwo buwonere ddala.”
35Yesu yali akyayogera, ababaka abaava mu maka ga Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bajja. Ne bategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde, ate Omuyigiriza okyamuteganyiza ki?”
36Yesu bwe yawulira bano bye boogera, n'agamba Yayiro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.” 37Awo Yesu n'agaana abantu abalala okugenda naye, okuggyako Peetero n'abooluganda Yakobo ne Yowanne. 38Bwe baatuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, Yesu n'asangawo okwaziirana, ng'abantu bakaaba, era nga bakuba ebiwoobe. 39Bwe yayingira, n'abagamba nti: “Lwaki mwaziirana, lwaki mukaaba? Omwana tafudde, wabula yeebase.”
40Ne bamusekerera. Bwe yamala okugobawo abalala bonna, n'atwala abazadde b'omwana, n'abayigirizwa be abasatu, n'ayingira nabo mu kisenge omwana mw'ali. 41N'akwata omwana ku mukono, n'amugamba nti: “Talita kumi,” ekitegeeza nti: “Kawala ggwe, nkugamba, golokoka.”
42Amangwago, akawala akaali ak'emyaka ekkumi n'ebiri, ne kayimirira, ne katambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo! 43Yesu n'abakuutira nnyo, kino obutakibuulirako balala. Era n'abalagira okuwa omwana emmere alye.
Currently Selected:
MARIKO 5: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: