MARIKO 4
4
Olugero lw'omusizi
(Laba ne Mat 13:1-9; Luk 8:4-8)
1Awo Yesu n'atandika nate okuyigiriza ng'ali ku lubalama lw'Ennyanja ey'e Galilaaya. Ekibiina ky'abantu abaamukuŋŋaanirako ne kiyitirira obunene. Kyeyava asaabala mu lyato n'atuula mu lyo, ku nnyanja. Kyo ekibiina ky'abantu ne kisigala ku lubalama.#Laba ne Luk 5:1-3 2N'abayigiriza ebintu bingi ng'akozesa engero. Era mu kuyigiriza kwe, n'abagamba nti:
3“Muwulirize. Omusizi yagenda n'asiga ensigo. 4Bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ebinyonyi ne bijja ne bizirya. 5Ensigo endala ne zigwa mu ttaka ery'oku lwazi. Amangwago ne zimera, kubanga ettaka lyabuguumirira mangu olw'obutaba ggwanvu. 6Omusana bwe gwayaka ennyo, ne ziwotookerera. Era olw'okuba ng'emirandira gyazo gyali tegisse nnyo wansi mu ttaka, ne zikala. 7Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Bwe gaamera, ne gakulira wamu nazo, ne gaziziyiza okubala. 8N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi. Ne zimera, ne zikula, ne zibala ebirimba. Ebimu ne bibaamu ensigo amakumi asatu; ebirala, ensigo nkaaga; n'ebirala, ensigo kikumi.”
9Awo Yesu n'agamba nti: “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
Ekigendererwa mu ngero
(Laba ne Mat 13:10-17; Luk 8:9-10)
10Awo abasinga obungi bwe baali nga bamaze okugenda, abayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'abalala, abaali basigadde ne Yesu, ne bamusaba abannyonnyole engero. 11Ye n'abagamba nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ekyama ekifa ku Bwakabaka bwa Katonda. Naye abantu abalala, buli kintu kibabuulirwa mu ngero:
12‘Balyoke balabe,
naye nga tebeetegereza;
bawulire,
naye nga tebategeera,
sikulwa nga beenenya
ne basonyiyibwa ebibi byabwe.’ ”#Laba ne Yis 6:9-10
Yesu annyonnyola amakulu g'olugero lw'omusizi
(Laba ne Mat 13:18-23; Luk 8:11-15)
13Awo Yesu n'ababuuza nti: “Amakulu g'olugero luno temugategedde? Kale olwo muliyinza mutya okubaako n'olugero lwonna lwe mutegeera? 14Omusizi, ye muntu asiga ekigambo kya Katonda mu bantu. 15Abantu abamu bafaanana ng'ensigo ezaagwa ku mabbali g'ekkubo. Ekigambo bwe kibasigibwamu, bakiwulira, naye amangwago Sitaani ajja n'akibaggyamu. 16Abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka ery'oku lwazi. Bwe bawulira ekigambo, amangwago bakyaniriza n'essanyu. 17Naye olw'okuba bafaanana ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka, bamalawo akaseera katono. Okubonyaabonyezebwa oba okuyigganyizibwa olw'ekigambo kya Katonda bwe kujja, amangwago nga baterebuka. 18Abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Ekigambo bakiwulira, 19naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwalimbibwa ebyobugagga, n'okululunkanira ebyokufuna ebirala, bwe bifuga emitima gyabwe, biziyiza ekigambo okubayamba okukola ebikolwa ebirungi. 20Ate abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka eddungi. Mu bamu ne byeyongera emirundi amakumi asatu; mu balala emirundi nkaaga, ate mu balala emirundi kikumi.”
Ettaala tekwekebwa mu kibbo
21Awo Yesu n'abagamba nti: “Ettaala tereetebwa kukwekebwa mu kibbo, oba kuteekebwa wansi wa kitanda, wabula kuwanikibwa ku kikondo kyayo.#Laba ne Mat 5:15; Luk 11:33 22Kale nno buli kintu ekikwekeddwa, kirikwekulwa. Era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.#Laba ne Mat 10:26; Luk 12:2 23Oba nga waliwo alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
24Era n'abagamba nti: “Mwekkaanye bye muwulira. Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe, era mulyongerwako.#Laba ne Mat 7:2; Luk 6:38 25Oyo alina ebingi alyongerwako n'ebirala. Ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.”#Laba ne Mat 13:12; 25:29; Luk 19:26
Olugero lw'ensigo nga bw'ekula
26Yesu n'ayongera okubagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n'engeri omuntu gy'asigamu ensigo mu ttaka. 27Omuntu ono ekiro yeebaka, emisana n'atunula. Zo ensigo ne zimera, ne zikula, nga ye omuntu tamanyi ngeri gye zimeramu, na gye zikulamu. 28Ettaka lye likuza ebimera ne bibala. Ebimera bino bisooka kuleeta bukoola, ne bizzaako ebirimba ebito. Ate oluvannyuma mu birimba ebyo, ne mubaamu empeke ezikuze. 29Empeke nga zengedde, olwo omuntu n'akwata akambe, kubanga amakungula gatuuse.”#Laba ne Yol 3:13
Olugero lw'akasigo ka kaladaali
(Laba ne Mat 13:31-32,34; Luk 13:18-19)
30Yesu n'agamba nate nti: “Obwakabaka bwa Katonda tuyinza kubugeraageranya na ki? Oba lugero ki lwe tuyinza okukozesa okubunnyonnyola? 31Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali. Kano ke kasigo akasingira ddala obutono mu nsigo zonna ku nsi. 32Naye bwe kasigibwa mu ttaka, kamera ne kavaamu ekimera ky'enva ekisingira ddala ebimera eby'enva ebirala byonna obunene. Ne kyawula amatabi manene, ebinyonyi ne bisobola okuzimbamu ebisu, n'okwewogoma mu kisiikirize kyago.”
33Yesu yategeezanga abantu ekigambo kya Katonda ng'akozesa engero nnyingi ezifaananako na zino, okusinziira ku kye baasobolanga okutegeera. 34Yakozesanga ngero mu byonna bye yabategeezanga. Ate bwe yasigalanga n'abayigirizwa be bokka, bo ng'abannyonnyola byonna.
Yesu akkakkanya omuyaga
(Laba ne Mat 8:23-27; Luk 8:22-25)
35Awo ku lunaku olwo lwennyini, obudde nga buwungedde, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuwunguke, tugende emitala w'ennyanja.” 36Awo abayigirizwa be ne bava mu kibiina ky'abantu, ne basaabala mu lyato Yesu mwe yali, ne bagenda naye. N'abantu abalala ne basaabala amaato, ne bagenda naye. 37Awo omuyaga ne gukunta, amayengo ne geeyiwa mu lyato, ne liba kumpi okujjula amazzi. 38Yesu yali mu kifo eky'emabega mu lyato nga yeebase, nga yeezizise omutto. Abayigirizwa be ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, ggwe tofaayo ng'ennyanja etutta?”
39Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, era n'alagira ennyanja nti: “Kkakkana, teeka!” Omuyaga ne gukoma, ennyanja n'eteekera ddala! 40Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Lwaki mutidde? Temunnaba kufuna kukkiriza?”
41Naye bo ne bakwatibwa ensisi, ne bagambagana nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Olaba n'omuyaga era n'amayengo bimuwulira!”
Currently Selected:
MARIKO 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: