MATAYO 26
26
Olukwe olw'okutta Yesu
(Laba ne Mak 14:1-2; Luk 22:1-2; Yow 11:45-53)
1Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti: 2“Mumanyi nti wabulayo ennaku bbiri, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke. Era Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo, akomererwe ku musaalaba.”#Laba ne Kuv 12:1-27
3Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bakuŋŋaanira mu luggya lwa Ssaabakabona, ayitibwa Kayaafa. 4Ne bakola olukwe okukwata Yesu, bamutte. 5Naye ne bagamba nti: “Tuleme kumukwata mu biseera bya nnaku nkulu, sikulwa ng'abantu beegugunga.”
Yesu afukibwako omuzigo e Betaniya
(Laba ne Mak 14:3-9; Yow 12:1-8)
6Awo Yesu bwe yali e Betaniya, mu nnyumba ya Simooni omugenge, 7omukazi n'ajja, ng'alina eccupa erimu omuzigo omulungi, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agufuka ku mutwe gwa Yesu, ng'atudde alya.#Laba ne Luk 7:37-38 8Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne basunguwala, ne bagamba nti: “Lwaki omuzigo ogwo gwonooneddwa? 9Gubadde guyinza okutundibwa ensimbi nnyingi, ne zigabirwa abaavu.”
10Yesu bwe yategeera kye bagamba, n'abaddamu nti: “Lwaki omukazi mumutawaanya? Ekikolwa ky'ankoledde kirungi. 11Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.#Laba ne Ma 15:11 12Bw'afuse omuzigo guno ogw'akawoowo ku mubiri gwange, anteekeddeteekedde okuziikibwa. 13Mazima mbagamba nti: wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.”
Yuda akkiriza okulyamu Yesu olukwe
(Laba ne Mak 14:10-11; Luk 22:3-6)
14Awo omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Yuda Yisikaryoti, n'agenda eri bakabona abakulu, 15n'agamba nti: “Munampa ki, nze mmubawe?” Bo ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.#Laba ne Zek 11:12 16Okuva olwo Yuda n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu.
Yesu alya Embaga awamu n'abayigirizwa be
(Laba ne Mak 14:12-21; Luk 22:7-14,21-23; Yow 13:21-30)
17Ku lunaku olusooka, olw'Embaga eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti: “Oyagala tukutegekere wa gy'onooliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?”
18Yesu n'abagamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kinaatera okutuuka. Ewuwo gye nnaaliira awamu n'abayigirizwa bange, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.’ ”
19Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bwe yabalagira, ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
20Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne batuula okulya. 21Bwe baali balya, Yesu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti: omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”
22Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, era kinnoomu, ne babuuza Yesu nti: “Mukama wange, omuntu oyo ye nze?”
23Yesu n'addamu nti: “Oyo akoza nange mu kibya, ye anandyamu olukwe.#Laba ne Zab 41:10 24Ddala Omwana w'Omuntu agenda kuttibwa, ng'ebyawandiikibwa bwe bimwogerako. Naye omuntu oyo anaalyamu Omwana w'Omuntu olukwe, nga zimusanze! Omuntu oyo kyandimubeeredde kirungi obutazaalibwa!”
25Yuda, eyalyamu Yesu olukwe, n'agamba nti: “Muyigiriza, omuntu oyo ye nze?” Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
Ekyekiro kya Mukama waffe
(Laba ne Mak 14:22-26; Luk 22:14-20; 1 Kor 11:23-25)
26Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'aguwa abayigirizwa be, n'agamba nti: “Mutoole mulye, kino mubiri gwange.”
27Ate n'akwata ekikopo, ne yeebaza Katonda, n'agamba nti: “Munywe kuno mwenna, 28kubanga kino musaayi gwange, ogukakasa endagaano empya ekoleddwa Katonda, era oguyiibwa ku lw'abangi okusonyiyisa ebibi.#Laba ne Kuv 24:8; Yer 31:31-34 29Naye mbagamba nti okuva kati sirinywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa lwe ndigunywa wamu nammwe nga muggya, mu Bwakabaka bwa Kitange.”
30Awo bwe baamala okuyimba oluyimba olw'okutendereza Katonda, ne bafuluma, ne balaga ku Lusozi olw'emiti Emizayiti.
Yesu alanga nti Peetero anaamwegaana
(Laba ne Mak 14:27-31; Luk 22:31-34; Yow 13:36-38)
31Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira ekiro kino, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ez'omu kisibo ne zisaasaana.’#Laba ne Zek 13:7 32Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibakulemberamu okugenda e Galilaaya.”#Laba ne Mat 28:16
33Awo Peetero n'amuddamu nti: “Abalala bonna ne bwe banadduka ne bakwabulira, nze siikwabulire n'akatono.”
34Yesu n'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti: mu kiro kino kyennyini, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
35Peetero n'amuddamu nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abalala ne boogera bwe batyo.
Yesu mu Getesemaane
(Laba ne Mak 14:32-42; Luk 22:39-46)
36Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'abagamba nti: “Mutuule wano, nze ŋŋende eri neegayirire Katonda.” 37Awo n'atwalako Peetero ne batabani ba Zebedaayo bombi. N'atandika okutya n'okweraliikirira ennyo. 38N'agamba nti: “Omwoyo gwange gujjudde obuyinike obuyinza n'okunzita! Mubeere wano, mutunule wamu nange.”
39Bwe yeeyongerayo katono mu maaso, n'afukamira, ne yeegayirira Katonda nti: “Kitange, singa kiyinzika, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona! Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.”
40Awo n'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti: “Temusobodde kutunula nange wadde essaawa emu bw'eti? 41Mutunule era mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa. Kubanga omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu.”
42Era n'agenda omulundi ogwokubiri, ne yeegayirira Katonda ng'agamba nti: “Kitange, oba nga ekikopo kino eky'okubonaabona tekiyinza kunzigyibwako, wabula nga nkinywedde, kale ky'oyagala kikolebwe.”
43Awo n'ajja nate, n'asanga abayigirizwa nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gajjudde otulo. 44Yesu n'abaleka nate, n'agenda, ne yeegayirira Katonda omulundi ogwokusatu, mu ngeri y'emu nga bwe yeegayirira mu kusooka.
45Awo n'addayo eri abayigirizwa, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Essaawa etuuse Omwana w'Omuntu okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi. 46Musituke tugende. Omuntu andiddemu olukwe ali kumpi okutuuka.”
Okukwatibwa kwa Yesu
(Laba ne Mak 14:43-50; Luk 22:47-53; Yow 18:3-12)
47Awo Yesu yali akyayogera, Yuda, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina ky'abantu abaalina ebitala n'emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga. 48Oyo eyalyamu Yesu olukwe yali amaze okuwa ekibiina ky'abantu akabonero ng'agamba nti: “Omuntu gwe nnaalamusa nga mmunywegera, ye wuuyo, mumukwate.”
49Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Mirembe, Muyigiriza!” Era n'amunywegera.
50Yesu n'amugamba nti: “Munnange, kola ky'ojjiridde.” Awo ne bajja, ne bavumbagira Yesu, ne bamukwata, ne bamunyweza.
51Omu ku abo abaali ne Yesu n'aggyayo ekitala, n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu. 52Yesu n'amugamba nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga abo bonna abakwata ekitala, balifa kitala. 53Olowooza nti siyinza kusaba Kitange n'ampeereza ebibinja by'eggye lya bamalayika ebisoba mu kkumi n'ebibiri? 54Kale olwo ebyawandiikibwa ebigamba nti kiteekwa okuba bwe kiti, binaatuukirira bitya?”
55Mu kaseera ako Yesu n'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Buli lunaku natuulanga mu Ssinzizo ne njigiriza, ne mutankwata.#Laba ne Luk 19:47; 21:37 56Naye bino byonna bikoleddwa, ebyo ebyawandiikibwa abalanzi biryoke bituukirire.”
Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.
Yesu mu maaso g'olukiiko
(Laba ne Mak 14:53-65; Luk 22:54-55,63-71; Yow 18:13-14,19-24)
57Awo abo abaakwata Yesu ne bamutwala ewa Kayaafa, Ssaabakabona, abannyonnyozi b'amateeka n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, gye baali bakuŋŋaanidde.
58Peetero yagoberera Yesu okutuukira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, kyokka ng'amwesuddeko ebbanga. N'ayingira mu luggya, n'atuula n'abakuumi, alabe ebinaafaayo.
59Bakabona abakulu n'ab'olukiiko abalala bonna, ne banoonya obujulizi obw'obulimba bwe banaasinziirako okutta Yesu. 60Kyokka ne batabuzuula, newaakubadde abajulirwa ab'obulimba bangi bajja ne bamuwaayiriza. Oluvannyuma ne wajjawo babiri, 61ne bagamba nti: “Ono yagamba nti: ‘Nnyinza okumenyawo Essinzizo ate ne ndizimba mu nnaku ssatu.’ ”#Laba ne Yow 2:19
62Awo Ssaabakabona n'ayimirira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina ky'oddamu mu ebyo bye bakulumiriza?” 63Kyokka Yesu n'asirika. Ssaabakabona n'amugamba nti: “Nkulayiza Katonda Nnannyibulamu, tutegeeze oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
64Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Naye mbagamba nti okuva kati muli ba kulaba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.”#Laba ne Dan 7:13
65Awo Ssaabakabona n'ayuza ebyambalo bye, era n'agamba nti: “Avvodde Katonda! Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Kaakati muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde.#Laba ne Leev 24:16 66Mmwe mulowooza mutya?” Ne baddamu nti: “Asaanidde okuttibwa.”
67Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso, era ne bamukuba empi,#Laba ne Yis 50:6 68nga bwe bagamba nti: “Kristo, tubuulire, ani akukubye?”
Peetero yeegaana Yesu
(Laba ne Mak 14:66-72; Luk 22:56-62; Yow 18:15-18,25-27)
69Awo Peetero bwe yali ng'atudde ebweru mu luggya, omuwala omu omuweereza n'ajja w'ali, n'agamba nti: “Naawe wali ne Yesu Omugalilaaya.” 70Kyokka Peetero ne yeegaana mu maaso ga bonna, ng'agamba nti: “Ky'ogamba sikimanyi.”
71Ate bwe yali ng'ayita mu lukuubo olufuluma ebweru, omuwala omulala omuweereza n'amulaba, n'agamba abantu abaali awo nti: “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaareeti.” 72Peetero n'addamu okwegaana ng'agamba nti: “Ndayira, omuntu oyo simumanyi.”
73Nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bajja, ne bagamba Peetero nti: “Ddala naawe oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga n'enjogera yo ekuloopa.”
74Awo Peetero n'agamba nti: “Oba bye njogera si bya mazima, kale nkolimirwe.” Era n'alayira nti: “Katonda alaba nti nze simanyi musajja oyo.”
Amangwago enkoko n'ekookolima. 75Peetero n'ajjukira ebyo Yesu bye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'afuluma wabweru, n'akaaba nnyo amaziga.
Currently Selected:
MATAYO 26: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.