YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 25

25
Olugero lw'abawala ekkumi
1“Mu nnaku ezo, Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaanaanyirizibwa n'abawala ekkumi, abaakwata ettaala zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole.#Laba ne Luk 12:35 2Abataano ku bo baali basiru, naye abalala abataano nga bagezi. 3Abasiru baatwala ettaala zaabwe, naye ne batatwala mafuta mu ccupa. 4Abagezi ne batwala amafuta mu ccupa, awamu n'ettaala zaabwe. 5Awasa omugole bwe yalwawo okujja, bonna ne bakwatibwa otulo, ne beebaka.
6“Ekiro mu ttumbi, ne wabaawo oluyoogaano nti: ‘Awasa omugole wuuno ajja, mujje mumwanirize.’ 7Abawala ekkumi ne bagolokoka, ne bategeka ettaala zaabwe. 8Olwo abasiru ne bagamba bannaabwe abagezi nti: ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe ziggweerera’. 9Abawala abagezi ne baddamu nti: ‘Gayinza obutatumala ffe nammwe. Ekisinga obulungi, mugende gye bagatunda, mwegulireyo.’
10“Abawala abasiru nga bagenze okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka. Abaali beetegese ne bayingira wamu naye mu mbaga ey'obugole, oluggi ne luggalwawo.
11“Oluvannyuma, abawala bali abasiru ne batuuka, ne bagamba nti: ‘Ssebo, ssebo, tuggulirewo.’#Laba ne Luk 13:25 12Ye n'addamu nti: ‘Mazima sibamanyi.’
13“Kale mwerinde, kubanga olunaku n'essaawa temubimanyi.
Olugero olw'ensimbi
(Laba ne Luk 19:11-27)
14“Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananako ng'omuntu eyali agenda mu nsi ey'ewala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye okubirabirira.#Laba ne Luk 19:11-27 15Omu n'amulekera talanta ttaano, omulala bbiri, ate omulala talanta emu, ng'alabira ku kusobola kwa buli omu, n'agenda. 16Amangwago, oyo eyafuna talanta ettaano, n'agenda n'azisuubuza, n'afunamu amagoba ga talanta endala ttaano. 17N'oyo eyafuna talanta ebbiri, n'akola bw'atyo, n'afunamu amagoba ga talanta endala bbiri. 18Kyokka oyo eyafuna talanta emu, n'agenda, n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu ensimbi za mukama we.
19“Nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, mukama w'abaddu abo n'akomawo, n'ababuuza bannyonnyole ebifa ku nsimbi ze. 20Omuddu eyafuna talanta ettaano, n'ajja, n'aleeta talanta endala ttano, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta ettaano. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala ttaano.’ 21Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ 22N'oyo eyafuna talanta ebbiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta bbiri. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala bbiri.’ 23Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ 24Era n'oyo eyafuna talanta emu n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, namanya nti oli muntu mukakanyavu, ng'okungulira gy'otaasimbira, ng'okuŋŋaanyiza gy'otaasigira, 25ne ntya, kyennava ŋŋenda, ensimbi zo ne nzikweka mu ttaka. Laba, ziizino.’ 26Mukama we n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi era omugayaavu! Wamanya nti nkungulira gye saasimbira, nkuŋŋaanyiza gye saasigira. 27N'olwekyo ensimbi zange wandiziterese mu bbanka: nze nga nkomyewo, ne nzifuna n'amagoba gaazo. 28Kale ensimbi muzimuggyeeko, muziwe oyo alina talanta ekkumi. 29Kubanga buli alina aliweebwa n'aba na bingi nnyo. Ate atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.#Laba ne Mat 13:12; Mak 4:25; Luk 8:18 30Omuddu oyo atalina ky'agasa, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’#Laba ne Mat 8:12; 22:13; Luk 13:28
Okusalirwa omusango okw'enkomerero
31“Omwana w'Omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, eky'obwakabaka, bamalayika bonna nga bali wamu naye, olwo alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa.#Laba ne Mat 16:27; 19:28 32Abantu bonna balikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge, n'abaawulamu, ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi. 33Endiga aliziteeka ku ludda lwe olwa ddyo, ate embuzi ku lwa kkono.
34“Awo Kabaka aligamba abo abali ku ludda lwe olwa ddyo nti: ‘Mmwe Kitange be yawa omukisa, mujje mubeere mu Bwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ensi lwe yatondebwa. 35Kubanga nali nnumwa enjala, ne mumpa ekyokulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mumpa ekyokunywa. Nali mugenyi, ne munsuza. 36Nali sirina kya kwambala, ne munnyambaza. Nali mulwadde ne munnambula. Nali musibe mu kkomera, ne mujja okundaba.’
37“Awo abaakola ebituufu balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, ne tukuwa ekyokulya, ng'olumwa ennyonta, ne tukuwa ekyokunywa? 38Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi, ne tukusuza, oba nga tolina kya kwambala, ne tukwambaza? 39Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tukulambula?’
40“Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwakikolera omu ku baganda bange bano abato, mwakikolera nze.’
41“Awo aligamba abo abali ku ludda lwe olwa kkono nti: ‘Muve we ndi, mmwe abakolimire! Mugende mu muliro ogutazikira, ogwategekerwa Sitaani ne bamalayika be. 42Kubanga nali nnumwa enjala, ne mutampa kyakulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mutampa kyakunywa. 43Nali mugenyi, ne mutansuza. Nali sirina kya kwambala, ne mutannyambaza. Nali mulwadde, era nali mu kkomera, ne mutannambula.’
44“Awo nabo balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, oba ng'olumwa ennyonta, oba ng'oli mugenyi, oba nga tolina ky'oyambala, oba ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’ 45Awo Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwagaana okuyamba omu ku bano abasinga obuto, mwagaana kuyamba nze.’
46“Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo. Naye abaakola ebituufu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”#Laba ne Dan 12:2

Currently Selected:

MATAYO 25: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in