YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 23

23
Okwekuuma abannyonnyozi b'amateeka
(Laba ne Mak 12:38-39; Luk 11:43,46; 20:45-46)
1Awo Yesu n'ayogera n'ekibiina ky'abantu awamu n'abayigirizwa be, 2n'agamba nti: “Abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo be bali mu kifo kya Musa. 3Kale byonna bye babagamba mubikwate, era mubikole. Naye temugoberera bikolwa byabwe, kubanga bye bategeeza abantu, bo si bye bakola. 4Basiba emigugu emizito, era egiteetikkika, ne balagira abantu okugyetikka ku bibegabega, sso nga bo bennyini tebaagala wadde okuginyeenyaako n'engalo zaabwe. 5Byonna bye bakola, bagenderera kulabibwa bantu. Kyebava bagaziya obusawo obw'amaliba, omuba ebigambo by'omu byawandiikibwa, bwe beesiba mu kyenyi ne ku mikono. Era bagaziya amatanvuwa g'ebyambalo byabwe.#Laba ne Mat 6:1; Kubal 15:38; Ma 6:8 6Baagala ebifo ebyekitiibwa ku mbaga, n'ebifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro. 7Era baagala okulamusibwa mu butale, n'okuyitibwa nti: ‘Muyigiriza.’ 8Naye mmwe temuyitibwanga nti: ‘Muyigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu. Mmwe mwenna muli baaluganda. 9Ku nsi temubangako gwe muyita ‘Kitammwe,’ kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. 10Era temuyitibwanga bagunjuzi, kubanga omugunjuzi wammwe ali omu, ye Kristo. 11Asinga ekitiibwa mu mmwe, anaabanga muweereza wammwe.#Laba ne Mat 20:26-27; Mak 9:35; 10:43-44; Luk 22:26 12Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa. Era buli eyeetoowaza, aligulumizibwa.#Laba ne Luk 14:11; 18:14
Yesu avumirira obukuusa
(Laba ne Mak 12:40; Luk 11:39-42,44,52; 20:47)
13“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo! Muli ba kubonaabona! Muggalirawo abantu ababa bayingira Obwakabaka obw'omu ggulu, mmwe mwennyini ne mutayingira, era ne muziyiza n'abo abagezaako okuyingira.#23:13 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno (Laba ne Mak 12:40). [14Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona, kubanga munyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, ne musinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. N'olwekyo muliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.]
15“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga mutambula ennyanja n'olukalu okukyusa omuntu omu, abe omugoberezi wammwe. Kyokka bwe mumala okumukyusa, ne mumufuula asaanira omuliro ogutazikira, n'okusinga mmwe bwe mugusaanira.
16“Muli ba kubonaabona mmwe, abakulembeze bamuzibe! Mugamba nti: ‘Buli alayira Essinzizo, taba na musango bw'atatuukiriza ky'alayidde. Naye buli alayira zaabu ow'omu Ssinzizo, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’ 17Mmwe abasirusiru, era bamuzibe, ekisinga obukulu kiruwa: zaabu, oba Essinzizo erifuula zaabu oyo okuba ekintu ekitukuvu? 18Era mugamba nti: ‘Buli alayira alutaari, taba na musango bw'atatuukiriza ky'alayidde. Naye buli alayira ekirabo ekiri ku alutaari, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde’.
19“Mmwe bamuzibe, ekisinga obukulu kiruwa: ekirabo, oba alutaari efuula ekirabo ekyo okuba ekintu ekitukuvu? 20Kale nno oyo alayira alutaari, aba alayidde ne byonna ebigiriko. 21Era oyo alayira Essinzizo, aba alayidde ne Katonda alibeeramu. 22Oyo alayira eggulu, aba alayidde ntebe ya Katonda, ne Katonda agituulako.#Laba ne Yis 66:1; Mat 5:34
23“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muwa ekimu eky'ekkumi ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi enva, ne mulekayo okutuukiriza obwenkanya, ekisa, n'okukkiriza, ng'ate bye bisinga obukulu mu mateeka ga Katonda. Bino biteekwa okukolebwa, na biri nga tebiragajjalirwa.#Laba ne Leev 27:30 24Mmwe abakulembeze bamuzibe, muggya akabu mu mazzi ge munywa, naye ne mumiriramu eŋŋamiya!
25“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga ebikopo n'ebibya mubinyiriza kungulu, sso nga munda bijjudde ebyo bye mwafuna mu bunyazi ne mu kwefaako mwekka. 26Mufarisaayo ggwe, muzibe, sooka oyoze mu kikopo ne mu kibya, olyoke obinyirize ne kungulu.
27“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muli ng'amalaalo agaasiigibwako langi enjeru gatukula, agalabika nga mayonjo kungulu, naye nga munda gajjudde amagumba g'abafu, n'okuwunya obubi kwonna.#Laba ne Bik 23:3 28Bwe mutyo nammwe, kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, sso nga munda mujjudde obukuusa n'obumenyi bw'amateeka.
Ekibonerezo kyabwe
(Laba ne Luk 11:47-51)
29“Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muzimba amalaalo g'abalanzi, era munyiriza ebiggya by'abatuukirivu, 30ne mugamba nti: ‘Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandyetabye wamu nabo okutta abalanzi.’ 31Bwe mutyo ne mukakasa nti muli bazzukulu b'abo abatta abalanzi. 32Kale mumalirize ekyo bajjajjammwe kye baatandika. 33Mmwe emisota, abaana b'emisota egy'obusagwa! Muliwona mutya okusalirwa omusango okusuulibwa mu muliro ogutazikira?#Laba ne Mat 3:7; 12:34; Luk 3:7 34Kyenva mbatumira abalanzi n'abantu abagezi era n'abayigiriza: abamu ku bo mulibatta, abalala mulibakomerera ku misaalaba, n'abalala mulibakubira mu makuŋŋaaniro gammwe. Mulibagobaganya okubaggya mu kibuga ekimu okubazza mu kirala, 35mulyoke mubuuzibwe omusaayi gw'abatuukirivu bonna ogwayiibwa ku nsi, okuva ku musaayi gwa Abeeli omutuukirivu, okutuuka ku gwa Zakariya, omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati w'ekifo ekitukuvu ne alutaari, mu Ssinzizo.#Laba ne Nta 4:8; 2 Byom 24:20-21 36Mazima mbagamba nti: ekibonerezo olw'abo bonna kiriweebwa abantu ab'omulembe guno.
Yesu akungubagira Yerusaalemu
(Laba ne Luk 13:34-35)
37“Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi, era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abantu bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza? 38Kale ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa.#Laba ne Yer 22:5 39Kubanga mbagamba nti: temulindaba okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”#Laba ne Zab 118:26

Currently Selected:

MATAYO 23: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in