YOSWA 2
2
Yoswa atuma abakessi e Yeriko
1Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n'atuma abakessi babiri okuva mu Sittimu, n'abagamba nti: “Mugende mwetegereze ensi y'e Kanaani, naddala Ekibuga Yeriko.” Ne bagenda. Bwe baatuuka mu kibuga, ne bayingira mu nnyumba ya malaaya, erinnya lye Rahabu, ne basulayo.#Laba ne Beb 11:31; Yak 2:25 2Kabaka wa Yeriko n'awulira ng'abamu ku Bayisirayeli bazze ekiro okuketta ensi. 3N'atumira Rahabu nti: “Abantu abazze ne bayingira mu nnyumba yo, bazze kuketta nsi yaffe yonna. Baggyeeyo.”
4Kyokka omukazi n'abatwala bombi n'abakweka, n'agamba nti: “Weewaawo abantu bazze ewange. Naye nabadde simanyi gye bavudde. 5Awo obudde bwe bwabadde bukutte nga tebannaggalawo wankaaki wa kibuga, ne bagenda. Ssaategedde gye balaze. Naye singa mubawondera mangu, mujja kubakwata.” 6Naye yali abalinnyisizza mu kasolya n'abakweka mu miti gy'obugoogwa gye yali atereezezzaayo obulungi. 7Abaabawondera bwe baamala okuva mu kibuga, wankaaki waakyo n'aggalwawo. Ne bagenda nga banoonya Abayisirayeli abakessi, okutuuka awasomokerwa Yorudaani.
8Abakessi nga tebanneebaka, Rahabu n'alinnya gye bali mu kasolya. 9N'abagamba nti: “Mmanyi nga Mukama, ensi eno agibawadde. Abagirimu bonna bakwatiddwa entiisa ku lwammwe, 10kubanga twawulira Mukama nga bwe yakaliza mu maaso gammwe Ennyanja Emmyufu bwe mwava mu Misiri. Era twawulira kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abaamori, Sihoni ne Ogi, abaali emitala wa Yorudaani, be mwazikiririza ddala.#Laba ne Kuv 14:21; Kubal 21:21-35 11Bwe twakiwulira, ne tutya, era ffenna mwatumalamu dda amaanyi, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye Katonda ali waggulu mu ggulu, ne wansi ku nsi. 12Kale kaakano mundayirire Mukama oyo, ng'amaka ga kitange munaagakwatirwa ekisa nga nange bwe nkibakwatiddwa mmwe, era mumpe akabonero akanankakasa obwesigwa bwammwe. 13Munkakase nga munaawonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange n'ebyabwe byonna, ne mutatuleka kuttibwa.”
14Abasajja ne bagamba nti: “Tulikuuma obulamu bwammwe nammwe bwe munaakuuma obwaffe. Bwe mutaayogere bino bye tubadde tukola, Mukama bw'alituwa ensi eno, naffe tulikulaga ekisa n'amazima.”
15Rahabu yasulanga ku bbugwe wa kibuga, kubanga ennyumba ye kwe yazimbirwa. N'akozesa omuguwa n'abayamba okukka ng'abayisa mu ddirisa. 16N'abagamba nti: “Mulage mu nsozi, ababawondera baleme kubasanga. Mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa lwe banaakomawo. Oluvannyuma muliyinza okugenda.”
17Abasajja ne bamugamba nti: “Tetulimenya kirayiro kino ky'otulayizza. 18Olikola bw'oti: bwe tulirumba ensi yammwe eno, olisiba akaguwa kano akamyufu ku ddirisa ly'otuyisizzaamu. Era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko ne baganda bo, n'ab'omu nnyumba ya kitaawo bonna. 19Bwe walibaawo afuluma ennyumba yo n'adda mu luguudo, ye aliba yeereetedde yekka okuttibwa, si ffe tulivunaanibwa. Naye buli alibeera naawe mu nnyumba, n'atuukibwako akabi, oyo gwe tulivunaanibwa. 20Wabula bw'olibuulirako omuntu yenna ku bino bye tukola, tuliba tetukyasibibwa kirayiro kyo kino ky'otulayizza.”
21Rahabu n'akkiriza, n'abasiibula ne bagenda, n'asiba akaguwa akamyufu ku ddirisa.
22Abakessi ne bagenda ne beekweka mu nsozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabawondera lwe baakomawo mu Yeriko nga bamaze okubanoonya wonna ne batabalaba. 23Awo abakessi bombi ne bavaayo mu nsozi ne basomoka Yorudaani, ne baddayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni, ne bamubuulira byonna ebyabatuukako. 24Awo ne bamugamba nti: “Ddala Mukama ensi eno yonna agituwadde. Abantu bonna abagirimu batutidde.”
Currently Selected:
YOSWA 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.