YAKOBO 4
4
Okukwana ensi
1Entalo n'ennyombo mu mmwe ziva ku ki? Teziva ku kwegomba kwammwe okulwanira mu mibiri gyammwe? 2Mwagala ebintu naye nga temubirina. Mutta abantu, era mwegomba ebintu, sso nga temusobola kubifuna. Muyomba, era ne mulwana. Bye mwetaaga temubifuna, kubanga temubisaba Katonda. 3Bwe musaba temufuna kubanga musaba na mutima mubi: musaba bya kwesanyusa bwesanyusa.
4Mmwe abantu abatali beesigwa, temumanyi nti okukwana ensi buba bulabe eri Katonda? Buli ayagala okuba mukwano gw'ensi, yeefuula mulabe wa Katonda. 5Oba mulowooza nti ekyawandiikibwa nti: “Katonda abubira nnyo omwoyo gwe yateeka mu ffe,” tekirina kye kitegeeza? 6Naye ekisa Katonda ky'akwatirwa abantu, kye kisinga amaanyi. Ekyawandiikibwa kigamba nti:
“Katonda alwanyisa abeekulumbaza,
kyokka abeetoowaza
abakwatirwa ekisa.”#Laba ne Nge 3:34
7Kale mube bawulize eri Katonda. Mulwanyise Sitaani, Sitaani anaabadduka. 8Musemberere Katonda, naye anaabasemberera. Munaabe engalo mmwe aboonoonyi, mutukuze emitima mmwe abakuusa. 9Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe amaziga, okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essanyu lyammwe lifuuke okunakuwala. 10Mwetoowaze mu maaso ga Mukama, ye alibagulumiza.
Obutasaliragananga musango
11Baganda bange, temwogeraganangako bubi. Ayogera obubi ku muntu munne, oba amusalira omusango, aba ayogedde bubi ku Mateeka, era ng'agasalidde omusango. Bw'osalira Amateeka omusango, oba tokwata Mateeka ago, wabula oba ogasalira musango. 12Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, era ye ayinza okulokola era n'okuzikiriza. Naye ggwe asalira munno omusango, ggwe ani?
Okulabula abeekulumbaza
13Kati nno mmwe abagamba nti: “Olwaleero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tumaleyo omwaka gumu nga tusuubula, tufune amagoba”,#Laba ne Nge 27:1 14naye nga temumanyi biribaawo jjo, mumanyi wadde obulamu bwammwe nga bwe buli? Muli ng'olufu olulabika akaseera akatono ne luggwaawo. 15Mwandigambye nti: “Mukama bw'anaayagala, tunaaba balamu, era tunaakola kino oba kiri.” 16Naye kaakano mwekulumbaza, ne mwenyumiriza. Okwenyumiriza okw'engeri eyo kwonna kubi. 17N'olwekyo amanya ekirungi kye yandikoze n'atakikola, aba akoze kibi.
Currently Selected:
YAKOBO 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.